3. Mutege amatu gammwe, mujje gye ndi; muwulire, mubeere abalamu; nange naalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw'enkalakkalira.
4. Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga.
5. Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy'oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw'Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumizizza.
6. Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi:
7. omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye; era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.
8. Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n'amakubo gammwe si makubo gange, bw'ayogera Mukama.
9. Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.
10. Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli eby'okulya;
11. bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.
13. Mu kifo ky'omweramannyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky'omutovu mulimera omumwanyi; ekyo kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.”
3. So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti, “Mukama talirema kunjawula n'abantu be,” so n'omulaawe tayogeranga nti, “Laba, ndi muti mukalu.”
4. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “ Eri abalaawe abakwata Ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange.
5. Nti: Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba yange mu bisenge byamu, ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.
6. Era ne bannamawanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;
7. abo ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.
8. Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti, Oliba olyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.”
13. okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo.
14. Tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba.
15. Naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo.
16. Mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.
17. Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu,
18. nga balina ekizikiza mu magezi gaabwe, nga baabooleddwa okuva mu bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, obuleetebwa okukakanyala okw'omutima gwabwe.
19. Baafuuka bakakanyanyavu, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba.
20. Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo;
21. nsuubira nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu.