1. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Laba, ndisikuula omwoyo gw'omuzikiriza ku Babbulooni, ne ku batuula mu Bakaludaaya.
2. Era ndisindika e Babbulooni bannamawanga ne bakizikiriza, n'ensi ye baligikaliza, bwe baligirumba okuva ku njuyi zonna, ku lunaku olw'okulabiramu ennaku.
4. Era baligwira mu nsi ey'Abakaludaaya nga battiddwa, era nga bafumitiddwa mu nguudo zaakyo.
5. Kubanga Isiraeri ne Yuda talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, naye ensi y'Abakaludaaya ejjudde omusango gwe bazza eri Omutukuvu wa Isiraeri.
6. Mudduke muve mu Babbulooni wakati, buli muntu awonye obulamu bwe! Muleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo, alikisasula empeera ekigwanira.
7. Babbulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiizanga ensi zonna; amawanga gaanywa ku mwenge gwakyo; bwe gatyo amawanga ago ne galaluka.
8. Babbulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde; Mukikungubagire! Mukifunire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa.
9. Twandiwonyezza Babbulooni, naye tekiwonye. Mukireke tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bire.
13. Ayi ggwe atuula ku mazzi amangi, alina eby'obugagga ebingi ennyo nnyini, enkomerero yo etuuse, akawuzi k'obulamu bwo kakutuddwa.
14. Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti, Mazima ndikujjuza abasajja bangi nga bulusejjera, era balikukuba olwogoolo, nga bawangudde.”
15. “Mukama yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe.
16. Bwafulumya eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; aleeta okumyansa mu nkuba ng'etonya, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
17. Buli muntu musiru era talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ebifaananyi bye ebyole byaweesa bimukwasa ensonyi; kubanga ebifaananyi ebyo bulimba, so mu byo temuli mukka.
20. “Ggwe nnyondo yange era eky'okulwanyisa eky'olutalo; era ggwe ndimenyesamenyesa amawanga; era ggwe ndizikirizisa obwakabaka;
21. era ggwe ndimenyesamenyesa embalaasi n'oyo agyebagadde; era ggwe ndimenyesamenyesa ekigaali n'oyo akitambuliramu;
22. era ggwe ndimenyesamenyesa omusajja n'omukazi; era ggwe ndimenyesamenyesa omukadde n'omuvubuka; era ggwe ndimenyesamenyesa omulenzi n'omuwala;
23. era ggwe ndimenyesamenyesa omusumba n'ekisibo kye; era ggwe ndimenyesamenyesa omulimi ne bakola nabo; era ggwe ndimenyesamenyesa abafuzi n'abaduumizi b'eggye.
24. Era ndisasula Babbulooni n'abo bonna abali mu Bakaludaaya olw'obubi bwabwe bwonna bwe baakakola mu Sayuuni mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama.”
25. “Laba, ndi mulabe wo, ayi olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna; era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya.
29. Ensi ekankana era yeetoloolera mu bulumi, kubanga ebyo Mukama bye yamalirira okukola Babbulooni, ajja kubituukiriza, okufuula ensi y'e Babbulooni amatongo, nga tewali agibeeramu.
32. awasomokerwa wawambiddwa, era ebigo ebigumu babikumyeko omuliro, n'abalwanyi bali mukutya.”
33. “Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Abantu be Babbulooni baliŋŋaanga egguuliro, mu biseera mwe balisambiriramu, so nga mu kiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu bituuke.
41. “Babbulooni nga kimenyeddwa! Ettendo ery'ensi zonna liwambiddwa! Babbulooni nga kifuuse ekitiisa mu mawanga!
42. Ennyanja ekulumulukukidde ku Babbulooni, amayengo gaayo ag'amaanyi, gakibisseeko.
43. Ebibuga byakyo bifuuse ebitiisa, ensi ey'ekyeya n'eddungu, ensi omutali muntu agibeeramu, era omutali muntu agiyitamu.
44. Era ndibonereza Beeri, katonda we Babbulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira. Amawanga galiba tegakyaddamu kumusinza; bbugwe w'e Babbulooni agudde.”
45. “Muve wakati mu kyo, mmwe abantu bange! Buli muntu awonye obulamu bwe okuva mu busungu obukambwe obwa Mukama!
46. Omutima gwammwe guleme okuzirika, era muleme okutya olw'ebyo ebiwulirwa mu nsi, bwe munabiwulira mu mwaka ogumu, oluvannyuma mulibiwulira mu mwaka omulala, era obukambwe buli mu nsi, nga omufuzi omu alwana n'omulala.
47. Kale, laba, ennaku zijja, lwe ndibonereza ebifaananyi eby'e Babbulooni, ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwa wakati mu kyo.
48. Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babbulooni; kubanga abazikiriza balijja okubalumba nga bava mu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama.
59. Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya, Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda ne Zeddekiya kabaka wa Yuda e Babbulooni, mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu.
60. Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okutuuka ku Babbulooni, ebigambo bino byonna biwandiikiddwa nga bikwata ku Babbulooni.
61. Awo Yeremiya n'agamba Seraya nti, Bw'olituuka mu Babbulooni, olabanga ng'osoma mu lwatu ebigambo bino byonna,
62. oyogere nti, Ayi Mukama, wayogera ebikwata ku kifo kino nti olikizikiriza, obutabaamu akibeeramu, omuntu newakubadde ensolo, naye kibeere matongo ennaku zonna.
64. era olyogera nti, Babbulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako. Okutuuka wano by'ebigambo bya Yeremiya.
1. Zeddekiya yalina emyaka abiri mu gumu (21) bwe yatandika okufuga obwakabaka bwa Yuda; n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
2. Zeddekiya nnakola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yali akoze.
3. Mazima olw'obusungu bwa Mukama, ebigambo n'ebituukirira ku Yerusaalemi ne Yuda, bw'atyo n'abagoba mu maaso ge, era ne Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babbulooni.
4. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda ogw'okufuga kwe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okutabaala Yerusaalemi n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.
5. Awo ekibuga n'ekizingizibwa okutuuka ku mwaka ogw'ekkumi n'ogumu (11) ogwa kabaka Zeddekiya.
6. Mu mwezi ogwokuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi, enjala n'eba nnyingi mu kibuga, ne watabaawo mmere, eri abantu ab'omu nsi.
7. Awo ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati w'ebisenge ebibiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; bo Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga enjuyi zonna. Abalwanyi ba kabaka Zeddekiya ne badduka nga bayita mu kkubo erya Alaba.
8. Naye eggye ery'Abakaludaaya ne liwondera Kabaka, Zeddekiya ne limuyisiriza mu nsenyi ez'e Yeriko; eggye lye lyonna ne lisaasaana okumuvaako.
9. Awo ne bawamba kabaka, ne bamutwala eri kabaka w'e Babbulooni e Libula mu kitundu ky'e Kamasi; n'amusalira omusango.
10. Awo kabaka w'e Babbulooni, n'atta batabani ba Zeddekiya, nga Zeddekiya yennyini alaba, era n'attira awo e Libula abakungu bonna aba Yuda.
11. Kabaka w'e Babbulooni, n'atungulamu Zeddekiya amaaso; n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni, n'amuteeka mu kkomera okutuusiza ddala ku lunaku lwe yafiirako.
12. Awo mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda nga Nebukadduneeza ye kabaka w'e Babbulooni, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, eyaweerezanga kabaka w'e Babbulooni, n'ayingira mu Yerusaalemi;
13. n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba yonna ennene yagyokya omuliro.
15. Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, n'atwala e Babbulooni nga basibe abamu ku bantu abasinga obwavu, n'abo abaali basenguse ne baasenga kabaka w'e Babbulooni, n'ekitundu ekyali kisigaddewo eky'abakozi b'emirimu egy'emikono.
16. Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, n'aleka abamu ku abo abasinga obwavu mu nsi okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga.
17. N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe, n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama, Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala ebikomo byonna e Babbulooni.
18. Era ne batwala n'entamu n'ebitiiyo ebiyoola evvu, n'ebijiiko, n'ebibya omwanyookerezebwanga obubaane, n'ebintu byonna eby'ebikomo, ebyakozesebwanga okuweerezanga, mu nnyumba ya Mukama nabyo ne babitwala.
19. Ne batwala ne bikompe n'emmumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obubya; ebyali ebya zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyali ebya ffeeza, mu ffeeza, bwatyo omukulu w'abambowa bwe yabitwala.
25. era n'aggya mu kibuga omukungu eyali aduumira abasajja abalwanyi; n'abasajja musanvu ku abo abaawanga kabaka amagezi, abaali bakyali mu kibuga; n'omuwandiisi ow'omukulu w'eggye, eyawandiikanga abantu mu ggye; n'abasajja nkaaga (60) ab'oku bantu ab'omu nsi abaasangibwa wakati mu kibuga.
26. Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwala bonna eri kabaka w'e Babbulooni e Libula.
27. Kabaka w'e Babbulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu kitundu kye Kamasi. Awo Yuda, n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
28. Guno gwe muwendo gw'abantu Nebukadduneeza be yatwala mu busibe, mu mwaka gwe ogw'omusanvu nga ye kabaka, yatwala Abayudaaya enkumi ssatu mu abiri mu basatu (3,023).
29. Mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'ekkumi n'omunaana, nga ye kabaka, n'atwala abantu lunaana mu asatu mu babiri (832) nga basibe okubaggya e Yerusaalemi;
30. mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'abiri mu esatu (23), Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala ku Bayudaaya, abantu lusanvu mu ana mu bataano (745), nga basibe; abantu bonna abatwalibwa baali enkumi nnya mu lukaaga (4,600).
31. Awo olwatuuka mu mwaka ogw'asatu mu omusanvu (37) ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini, kabaka wa Yuda, mu mwezi ogwe kkumi n'ebiri (12) ku lunaku olw'abiri mu etaano (25); Evirumerodaaki kabaka w'e Babbulooni, mu mwaka ogwo gwe yafuukiramu kabaka, nnaakwatirwa Yekoyakini kabaka wa Yuda ekisa, n'amuggya mu kkomera.
32. Evirumerodaaki n'alaga Yekoyakini ekisa, era n'amuwa ekifo eky'ekitiibwa okusinga ekya bakabaka abalala abaali awamu naye nga basibe mu Babbulooni.
5. era babeerenga bategeevu, nga si benzi, abakola emirimu mu maka gaabwe, ab'ekisa, era abagondera babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa.
6. N'abasajja abavubuka baakubirizenga okubeera abasobola okwefuga mu byonna.
7. Mu bigambo byonna ggwe beera ekyokulabirako ekirungi mu bikolwa, ne mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, obumalirivu,
8. nga buli ky'oyogera tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako.
9. Kubirizanga abaddu okugonderanga bakama baabwe, nga basiimibwanga mu byonna; tebateekwa kuba bajeemu,
10. nga tebabba, naye nga beesigwa ddala mu byonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna.