Bible in one year

1. Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Berusazza kabaka w'e Babbulooni, Danyeri n'aloota ekirooto era n'ayolesebwa ng'agalamidde ku kitanda kye: n'awandiika ekirooto kye.
2. Danyeri n'agamba nti, “Mukwolesebwa kwange ekiro, nnalaba, empewo nga zikunta okuva ku njuyi zonna ennya, ne zisikuula ennyanja ennene.
3. N'ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja, buli emu nga tefaanana ginnaayo.
4. Eyasooka yali efaanana ng'empologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro eby'empungu; bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byayo ne bigimaanyibwako, n'eyimusibwa okuva ku ttaka, n'eyimirira ku magulu abiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima ogw'omuntu.
5. Ate ne wavaayo ensolo endala, eyokubiri, eno yaliŋŋanga ddubu, era yali egalamidde ku luuyi lumu ng'esitusemu katono ku magulu gaayo ag'emabega, nga n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti, ‘Situka, olye ennyama ennyingi.’
6. Oluvannyuma lw'ebyo nnendaba ensolo endala, nga eringa engo, yalina ebiwaawaatiro ebina eby'ekinnyonyi ku mabega gaayo. Era ensolo eyo yalina emitwe ena: n'eweebwa n'obuyinza okufuga.
7. Oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo ey'okuna, ey'entiisa era ey'obuyinza, era ey'amaanyi amangi ennyo: yalina amannyo manene ag'ekyuma: n'erya n'ebetenta, n'erinnyirira ebyasigalawo. Yali ya njawulo ku nsolo ziri azagisooka: yalina amayembe kkumi (10).
8. Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ate laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne likuuliramu ddala amayembe asatu ku gali agalisookawo. Lyalina amaaso nga ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwegulumiza.
9. Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ez'oku mutwe gwe nga njeru ng'ebyoya by'endiga ebirungi. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga zaayo muliro ogwaka.
10. Omugga gw'omuliro ne gukulukuta nga guva w'ali. Abantu enkumi n'enkumi baali awo okumuweereza, n'emitwalo n'emitwalo nga bayimirira mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kugulwawo, ebitabo ne bibikkulwa.
11. Bwe nali nga nkyatunula, ne mpulira ebigambo eby'okwegulumiza ejjembe bye lyayogera, okutuusa ensolo bwe yattibwa, n'esuulibwa mu muliro, n'ezikirizibwa.
12. Ensolo endala zo zagibwako obuyinza bwazo, kyokka obulamu bwazo ne bwongerwayo ekiseera ekigere.
13. Mu kwolesebwa kwe nnafuna ekiro, nnalaba eyafaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ajja n'ebire eby'omu ggulu, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, nayanjulibwa mu maaso ge.
14. N'aweebwa obuyinza, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu bonna, n'ab'amawanga gonna n'ab'ennimi zonna, bamuweerezenga: okufuga kwe kwa mirembe gyonna okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.”
15. “Nange Danyeri, omwoyo gwange ne gunakuwala n'enneeraliikirira olw'ebyo bye nnayolesebwa.
16. Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde okumpi, ne mmubuuza amakulu g'ebyo byonna. Awo n'antegeeza amakulu gaabyo.
17. Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi.
18. Naye abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.
19. Awo ne njagala okumanya amazima agafa ku nsolo ey'okuna, etaafaanana ziri zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo nga ga kyuma, n'enjala zaayo nga za kikomo, era eyalya, n'emenyaamenya, n'erinnyirira ebyasigalawo n'ebigere byayo.
20. Era ne njagala okumanya ku by'amayembe ekkumi (10) agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu (3), lyalina amaaso, n'akamwa akayogera eby'okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga gali gonna.
21. Awo bwe nnali nga nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n'abatukuvu ba Katonda, ne libawangula,
22. okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala musango, abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu ne baweebwa obwakabaka.
23. Awo nantegeeza nti, Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi, obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obufuga ensi zonna, era bulizisambirira, n'ebuzimenyamenya;
24. ate amayembe ago ekkumi, be bakabaka ekkumi (10) abaliva mu bwa kabaka obwo, naye walisitukawo omulala alibaddirira, aliba wa njawulo, era aliggyawo ba kabaka basatu.
25. Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo ali waggulu ennyo, era aliyigganya abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Era aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera ne biseera n'ekitundu kye kiseera bwe biriggwaawo.
26. Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n'obuyinza bwe bulimuggyibwako ne busaanyizibwawo ddala.
27. Olwo obwakabaka n'okufuga n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Obwakabaka bw'Oyo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza era galimugondera.
28. Ebigambo ebyo we bikoma wano. Era nze Danyeri, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ntunula, naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.”
1. Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwa kabaka Berusazza, nze Danyeri, ne nfuna kwolesebwa okwaddirira kuli okwasooka.
2. Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu, Susani, ekiri mu ssaza Eramu. Nnali nnyimiridde ku mabbali g'omugga Ulaayi.
3. Bwe n'ayimusa amaaso gange, ne ndaba endiga ennume, eyalina amayembe abiri amawanvu, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Naye erimu ku mayembe ago nga lisingako linnaalyo obuwanvu, ate nga lye lyamera oluvannyuma.
4. Ne ndaba endiga eyo ennume ng'etomera ebugwanjuba, n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, mpaawo nsolo eyayinza okugirwanyisa, era mpaawo eyayinza okuwona amaanyi gaayo. N'ekola nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza.
5. Awo bwe nnali nkyafumiitiriza ku ekyo, amangwago embuzi ennume, eyalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo, n'esala okuva ku luuyi olumu olw'ensi okulaga ku lulala nga terinyeko ku ttaka.
6. N'erumba n'obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga.
7. Ne ngiraba ng'esemberera endiga ennume, mu busungu obungi n'egitomera era n'emenya amayembe gaayo abiri; n'endiga ennume teyalina maanyi kwetaasa, naye embuzi n'egimegga wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga eyo.
8. Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, ne mu kifo kyalyo ne wamerawo amayembe ana agatutunuseeyo, nga gatunuulira enjuyi ennya ez'ensi.
9. Ne mu limu mu ago ne muva ejjembe ettono, eryafuuka ery'amaanyi ennyo, ne likakaatika obuyinza bwalyo obukiikaddyo, n'ebuvanjuba, ne ku Nsi ey'Ekitiibwa.
10. Ne lyeyongera amaanyi, ne lituuka n'okulumba eggye ery'omu ggulu. N'ebyo mu ggye eryo ebimu n'emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libirinnyirira,
11. ne lyegulumiza okwenkanankana n'Omukulu w'eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne lyonoona n'Ekifo Ekitukuvu.
12. Olw'obujeemu eggye awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne lituukiriza buli kye lyayagala okukola.
13. Awo ne mpulira omutukuvu omu ng'ayogera, n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti, “byo ebyoleseddwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, biribaawo kutuusa ddi? Okwonoona okungi, kulibeerawo kutuusa ddi? Okuwaayo awatukuvu era n'eggye biririnnyirirwa kutuusa ddi?”
14. N'amuddamu nti, “Birimala akawungeezi n'enkya, enkumi bbiri mu bisatu (2,300), awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.”
15. Awo, nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne njagala ntegeere amakulu gaabyo. Mba nkyali awo, ngenda okulaba nga wayimiridde mu maaso gange ekyandabikira ng'omuntu.
16. Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu nga liva wakati w'omugga Ulaayi, nga likoowoola nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g'ebyo byayoleseddwa.”
17. Awo n'asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise, naye n'aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w'omuntu, ebikwoleseddwa bya kiseera kya nkomerero.”
18. Awo, bwe yali ayogera nange, ne nkwatibwa otulo tungi, ne ngwa nga nneevuunise, ye n'ankwatako n'angolokosa.
19. N'agamba nti, “Kale nnaakutegeeza ebiribaawo mu kiseera eky'enkomerero ng'obusungu bwa Katonda bugenda okuggwaako. Ebyo ebyakwolesebwa bya kiseera kya nkomerero ekyateekebwawo.
20. Endiga ennume gy'olabye ebadde n'amayembe abiri, bwe bwakabaka bwa b'Abameedi n'Abaperusi.
21. N'embuzi ennume ey'ekikuzzi bwe bwakabaka bwa Buyonaani; ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo ye kabaka ow'olubereberye.
22. N'eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne musibukamu ana, bwe bwakabaka buna obuliva mu ggwanga eryo, naye bwo tebuliba n'amaanyi nga bwo.
23. Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era nga n'abantu bayitirizza okwonoona, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe era omukujjukujju mu byonna byakola.
24. Aliba n'obuyinza bungi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu abatukuvu.
25. Era olw'obukujjukujju bwe, aliba mulimba okusobola okukola by'ayagala. Alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa n'Omukulu w'abalangira, naye alizikirizibwa si n'amaanyi g'abantu.
26. Okwolesebwa kwewafuna ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe ebikwoleseddwa bikuume nga bya kyama, kubanga bya nnaku eziri ewala.”
27. Nange Danyeri ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nzira ku mirimu gya kabaka. Kyokka ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye ne sibitegeera.
1. Okumpi n'emigga egy'e Babbulooni, Twatuulawo wansi, ne tukaaba amaziga, Bwe twajjukira Sayuuni.
2. Ku miti egyali awo Ne tuwanikako ennanga zaffe.
3. Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagira okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti, “Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.”
4. Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe?
5. Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gukalambale!
6. Olulimi lwange lukwatire ku kibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange lyonna.
14. Kabaka asalira abaavu emisango mu bwenkanya, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.
1. Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa eyokubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza n'okubajjukiza amagezi gammwe gabeere agataliimu bukuusa;
2. okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi.
3. Okusookera ddala, musaana okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo
4. ne boogera nti, “Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.”
5. Kubanga bagenderera okwerabira kino nga olw'ekigambo kya Katonda, eggulu lyaliwo dda, era n'ensi n'etondebwa okuva mu mazzi era n'ebeera wakati mu mazzi.
6. Amazzi gano, ensi eyo ey'edda ge gagisaanyaawo n'ezikirira.
7. Naye olw'ekigambo ekyo kye kimu eggulu n'ensi ebiriwo kaakano biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.
8. Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi (1,000), n'emyaka olukumi (1,000) giri ng'olunaku olumu.
9. Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke ku kwenenya.
10. Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka.
11. Ebyo byonna oba bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya? Musaana okubeera mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,
12. nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu ebiririko ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi!
13. Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.
14. Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.
15. Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira.
16. Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mulimu ebintu ebimu mu zo; ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga bwe bakola n'ebyawandiikibwa ebirala, ekireeta okuzikirira kwabwe bo.
17. Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumenga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.
18. Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.