24. “Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaabikomangako nga bifudde anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi,
25. era buli asitula efudde ku zo, anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26. Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era nga terina kigere kyaseemu, ate nga tezza bwenkulumu, si nnongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu.
27. Era buli nsolo ey'amagulu ana etambuza ebibatu byayo, si nnongoofu gye muli; buli anaagikomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28. Ensolo zino si nnongoofu gye muli, era n'oyo anaazisitulanga nga zifudde anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
29. “Ku ebyo ebitambulira ku ttaka, bino si birongoofu gye muli: eggunju, emmese, ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo,
30. ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu.
31. Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebitambulira ku ttaka; buli anaabikomangako nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32. Era ekimu ku ebyo ekifudde, bwe kinaagwanga ku kintu kyonna, kinaakifuulanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo oba kintu kyonna kyonna, ekikozesebwa omulimu gwonna, kinaateekebwanga mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.
33. Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo munaakyasanga.
34. Buli ekiriibwa bwe kinaayikangako amazzi agavudde mu kye bbumba ekitali kirongoofu; kinaabanga ekitali kirongoofu, era buli kya kunywa ekinanywebwanga okuva mu ky'ebbumba ekyo, kinaabanga ekitali kirongoofu.
35. Era buli kintu ekinaagwibwangako ekintu kyonna ku ebyo ebifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; oba nga kigudde ku kabiga, oba masiga, kinaamenyebwamenyebwanga; si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli.
36. Naye oluzzi oba ekidiba bwe kinaafiirangamu ekimu ku ebyo ebitali birongoofu, oluzzi olwo n'ekidiba binaasigalanga nga birongoofu, naye ekinaakomanga ku ekyo ekifiiriddemu, kinaabanga ekitali kirongoofu.
37. Era oba nga ekitali kirongoofu ekifudde, kikoma ku nsigo yonna ey'okusiga, yo eneesigalanga nga nnongoofu;
38. Naye singa ensigo eba ennyikiddwa mu mazzi, ekimu ku ebyo ekifudde ne kimala kigikomako, eneefuukanga eteri nnongoofu gye muli.
39. “Era oba ng'ensolo yonna, eriibwa efa, akoma ku yo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40. N'oyo anaagiryangako anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era n'oyo anaagiggyangawo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41. “Buli ekitambula nga kyewalula ku ttaka kya muzizo; tekiriibwanga.
42. Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo.
43. Temweyonoonesanga na kyewalula kyonna, muleme okuba abatali balongoofu.
44. Kubanga nze Mukama Katonda wammwe; kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu. Temweyonoonanga na ngeri yonna ey'ekyewalula ku nsi so.
45. Kubanga nze Mukama eyabaggya mu nsi ey'e Misiri okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
46. Eryo lye tteeka erikwata ku nsolo ne ku nnyonyi, na ku buli kitonde ekiramu ekitambulira mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalulira ku nsi,
2. “Gamba abaana ba Isiraeri nti omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye.
3. Awo ku lunaku olw'omunaana omwana omulenzi anaakomolebwanga.
4. Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu (33) okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala nga gulekedde awo. Mu kiseera ekyo taakomenga ku kintu kyonna ekitukuvu, era taayingirenga mu kifo ekitukuvu.
5. Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, anaabanga atali mulongoofu okumala Ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga (66) nga si mulongoofu okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala gulekedde awo.
6. Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga, ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
7. Kabona anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka erifuga omukazi azaala omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala.
8. Bw'ataasobolenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi; kale kabona anaamutangiriranga, naye anaabanga mulongoofu.”
8. Mukama mulungi era wa mazima, Kyava ayigiriza ekkubo abalina ebibi.
9. Abeetoowaze anaabaluŋŋamyanga Mu kusala omusango, Era abeetoowaze anaabayigirizanga ekkubo lye.
10. Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abatuukiriza endagaano ye n'ebiragiro bye.
1. Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju.
2. Ne bakuŋŋaana bangi, ne wataba na kifo we bagya newakubadde mu mulyango: n'ababuulira ekigambo.
3. Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse abasajja bana.
4. Naye bwe baalemwa okumuyingiza olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali; ne bawummulawo ekituli ne bassa ekitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.
8. Amangwago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga be buuzaganya bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti, “Lwaki mwebuuzaganya bwe mutyo mu mitima gyammwe?
10. Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi,” n'agamba eyali akoozimbye nti,
11. “Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
12. N'agolokoka, amangwago ne yeetikka ekitanda kye, n'afuluma nga bonna balaba. Awo bonna ne beewuunya ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “Tetulabangako kintu bwe kiti.”
13. Awo Yesu n'agenda nate ku lubalama lw'ennyanja; ekibiina ky'abantu ne kijja w'ali, n'abayigiriza.
14. Awo bwe yali ng'atambula ku lubalama, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde we yasoloolezanga omusolo, n'amugamba nti, “ Ngoberera.” N'agolokoka n'amugoberera.
15. Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba ya Leevi ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi baali batudde ne Yesu n'abayigirizwa be: kubanga bangi abaali bamugoberedde.
16. Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba Yesu ng'aliira wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “ Lwaki aliira wamu n'abawooza n'abalina ebibi?”
18. Awo abayigirizwa ba Yokaana n'ab'Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo basiiba, naye nga abayigirizwa bo tebasiiba?”
19. Yesu n'abagamba nti, “Abagenyi ba wasizza omugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? Bwe baba nga bakyali n'awasizza omugole, tebayinza kusiiba.
20. Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba ku lunaku olwo.
21. Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bw'akola bwatyo ekiwero ekiggya kikutula ekikadde, ekituli ne kyeyongera.
22. Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge guyiika n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.”
23. Awo lumu ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ayita mu nnimiro, abayigirizwa be ne batandika okugenda nga banoga ebirimba.
24. Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Laba, Lwaki bakola ekyo ekitakkirizibwa ku lunaku lwa ssabbiiti?”
25. Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo?
26. Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?”
27. N'abagamba nti, “Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti.
28. Bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.”