Bible in one year

1. Batabani ba Isakaali baali bana (4) be bano: Tola, Puwa, Yasubu, ne Simuloni.
2. Batabani ba Tola be bano: Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu ne Semweri; abo be baali abakulu b'ennyumba zabwe abasibuka mu Tola; bali basajja abazira, ab'amaanyi mu mirembe gyabwe. Ku mulembe gwa Dawudi abamusibukamu bali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga (22,600).
3. Uzzi yazaala omwana omu ye Izulakiya: Izulakiya yazaala abaana bana be bano: Mikayiri, Obadiya, Yoweeri, Issiya; abo bali bakulu b'ennyumba zabwe.
4. Baawasa abakazi bangi era baazaala abaana bangi, abasibuka mu bo ne basobola okuvaamu egye ly'abaserikale emitwalo esatu mu kakaaga (36,000).
5. Bonna abasibuka mu Isakaali abasajja abamaanyi abazira baali emitwalo munaana mu kasanvu (87,000).
6. Batabani ba Benyamini baali basatu (3) be bano: Bera, Bekeri, ne Yediyayeri.
7. Batabani ba Bera be bano: Ezuboni, Uzzi, Wuziyeeri, Yerimoosi ne Iri bali bakulu be nnyumba mu kika kyabwe, bali basajja abamaanyi abazira. Abamusibukamu baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu asatu mu bana (22,034), abasobola okulwana mu lutalo.
8. Batabani ba Bekeri be bano: Zemira, Yowaasi, Eryeza, Eriwenayi, Omuli, Yeremoosi, Abiya, Anasosi ne Alemesi.
9. Baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nga bwe baaliraana, bali bakulu b'ennyumba zabwe mu kika kyabwe, abasajja ab'amaanyi abazira. Abamusibukamu abali basobola okulwana baali emitwalo ebiri mu bibiri (20,200).
10. Yediyayeri yazaala omwana omu ye Birukani, batabani ba Birukani be bano: Yewusi, Benyamini, Ekudi, Kenaana, Zesani, Talusiisi ne Akisakali.
11. Abo bonna abasibuka mu Yediyayeri bali bakulu mu nnyumba zabwe mu kika kyabwe, bali basajja bazira ab'amaanyi. Abamusibukamu abasajja abalwanyi bali omutwalo gumu mu kasanvu mu bibiri (17,200).
12. Batabani ba Iri bali Kuppimu ne Suppimu, ne mutabani wa Akeri yali Kusimu.
13. Batabani ba Nafutaali baali bana (4) be bano: Yaziyeri, Guni, Yazeri ne Sallumu baali bazzukulu ba Biruka.
14. Manase yalina omukazi Omusuuli, eyamuzaalira Asuliyeri, ne Makiri kitaawe wa Gireyaadi.
15. Makiri n'awasa omukazi mwannyina Kuppimu ne Suppimu, erinnya lye Maaka. Omwana ow'obulenzi ow'okubiri owa Makiri yali Zerofekadi. Zerofekadi oyo yazaala abaana ba buwala bokka.
16. Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Peresi. Ne muganda w'oyo yali Seresi. Batabani ba Peresi: Ulamu ne Lakemu.
17. Ulamu yazaala Bedani. Abo be basibuka mu Gireyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manase.
18. Gireyaadi yalina mwannyina erinnya lye Kammolekesi eyazaala Isukodi, Abiezeri ne Makula.
19. Batabani ba Semida be bano: Akyani, Sekemu, Liki ne Aniyamu.
20. Efulayimu yazaala Susera, Susera n'azaala Beredi, Beredi n'azaala Takasi, Takasi n'azaala Ereyadda, Ereyadda n'azaala Takasi, Takasi
21. n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Susera. Efulayimu era yalina batabani abalala babiri: Ezeri ne Ereyaddi abattibwa abasajja ab'e Gaasi bwe bali bagenze okunyaga ente ez'abazaliranwa be nsi eyo.
22. Efulayimu kitaabwe n'akungubagira ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza.
23. Efulayimu neyeegatta ne mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi.
24. Ne muwala we yali Seera, n'azimba ebibuga Besukolooni ekya wansi n'eky'engulu, ne Uzzenuseera.
25. Efulayimu era yalina mutabani we omulala, erinnya lye Leefa. Leefa oyo yazaala Lesefu, Lesefu n'azaala Teera, Teera n'azaala Takani,
26. Takani n'azaala Ladani, Ladani n'azaala Ammikudi, Ammikudi n'azaala Erisaama, Erisaama
27. n'azaala Nuuni, Nuuni n'azaala Yoswa.
28. Ebifo bye baweebwa era bye baatulangamu bye bino: Beseri n'ebibuga byako, n'ebuvanjuba Naalani, n'ebugwanjuba Gezeri, n'ebibuga byako; era ne Sekemu n'ebibuga byako, okutuusa ku Azza n'ebibuga byako:
29. n'awali ensalo ez'abaana ba Manase, Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga.
30. Batabani ba Aseri be bano: Imuna, Isuva, Isuvi, Beriya; ne Seera mwannyinaabwe.
31. Batabani ba Beriya be bano: Keberi ne Malukiyeeri, Malukiyeeri ye kitaawe wa Biruzayisi.
32. Keberi n'azaala Yafuleti, Somera, Kosamu ne Suwa, mwannyinaabwe.
33. Batabani ba Yafuleti be bano: Pasaki, Bimukali ne Asuvasi.
34. Batabani ba Semeri be bano: Aki, Loga, Yekubba, ne Alamu.
35. Batabani ba Keremu muganda we be bano: Zofa, Imuna, Seresi ne Amali.
36. Batabani ba Zofa be bano: Suwa, Kaluneferi, Swali, Beeri ne Imula;
37. Bezeri, Kodi, Samma, Sirusa, Isulani ne Beera.
38. Batabani ba Yeseri be bano: Yefune, Pisupa ne Ala.
39. Batabani ba Ulla be bano: Ala, Kanyeri ne Liziya.
40. Abo bonna be basibuka mu Aseri, baali bakulu ba nnyumba zabwe mu kika kyabwe, abasajja abazira, abalonde ab'amaanyi nga bakulembeze batutumufu. Baalimu abasajja abasobola okulwana mu lutalo emitwalo ebiri mu kakaaga (26,000).
1. Batabani ba Benyamini be yazaala abataano nga bwebaddiŋŋanako be bano: Bera, Asuberi, Akala;
2. Noka ne Lafa.
3. Batabani ba Bera be bano: Addali, Gera, Abikudi;
4. Abisuwa, Naamani, Akowa;
5. Gera, Sefufani ne Kulamu.
6. Batabani ba Ekudi be baali abakulu b'ennyumba z'abantu abali e Geba be batwala e Manakasi nga basibe.
7. Ne Naamani ne Akiya ne Gera n'abatwala nga basibe; n'azaala Uzza ne Akikudi.
8. Sakalayimu yazaala abaana ab'obulenzi bwe yamala okugoba abakazi be Kusimu ne Baala.
9. N'awasa Kodesi ne bazaala Yobabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu;
10. ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma. Abo be baali abakulu b'ennyumba zabwe mu kika kyabwe.
11. Kusimu yali azaalidde Sakalayi mu abaana Abitubu ne Erupaali.
12. Batabani ba Erupaali bali basatu be bano: Eberi, Misamu ne Semedi. Semedi ye yazimba ebibuga Ono ne Loodi n'obubuga obubyetoolodde.
13. Beriya ne Sema be baali abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abantu b'e Ayalooni. Abo baagenda e Gaasi ne bagobayo abatuuze baayo.
14. Mu basibuka mu Beriya, mwe mwali Akiyo, Sasaki, ne Yeremoosi,
15. ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi,
16. ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka.
17. Batabani ba Erupaali: Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi.
18. ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, batabani ba Erupaali;
19. Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi,
20. ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri,
21. ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi baali batabani ba Simeeyi.
22. Isupani, ne Eberi, ne Eryeri,
23. ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani,
24. ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya,
25. ne Ifudeya, ne Penueri, batabani ba Sasaki.
26. Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya,
27. ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, bonna basibuka mu Yerokamu.
28. Abo be baali abakulu b'ennyumba zabwe mu kika kyabwe, ng'emirembe bwe gy'agenda giddiriŋŋana era baabeeranga mu Yerusaalemi.
29. Kitaawe wa Gibyoni yabeeranga Gibyoni, era mukazi we yali ayitibwa Maaka.
30. Batabani be baali Abudoni omubereberye, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Nadabu,
31. ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri,
32. ne Mikuloosi kitaawe wa Simeeya. Abo nabo baabeeranga mu Yerusaalemi wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala.
33. Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu, ne Esubaali.
34. Era Meribubaali ye yali mutabani wa Yonasaani; Meribubaali n'azaala Mikka.
35. Ne batabani ba Mikka bali; Pisoni, Mereki, Taleya ne Akazi.
36. Akazi n'azaala Yekoyaada; Yekoyaada n'azaala Alemesi, Azumavesi ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza:
37. ne Moza n'azaala Bineya; Bineya n'azaala Lafa, Lafa n'azaala Ereyasa, Ereyasa n'azaala Azeri:
38. Azeri n'azaala abaana mukaaga be bano; Azulikamu, Bokeru, Isimaeri, Seyaliya, Obadiya ne Kanani.
39. Batabani ba Eseki muganda wa Aseri be bano nga bwe baddiriŋŋana; Ulamu, Yewusi ne Erifereti.
40. Ne batabani ba Ulamu ne baba basajja ab'amaanyi abazira, abalasi, era baalina batabani baabwe bangi, n'abazzukulu, kikumi mu ataano (150). Abo bonna baali ba Benyamini.
4. Oziyiza maaso gange okuzibirira; Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
5. Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda.
6. Njijukira oluyimba lwange ekiro, Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
7. Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate?
8. Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?
9. Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu?
13. Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi ye nkuba etonnya olutata.
14. Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
22. Naye abaami abaagenda tebaabasanga mu kkomera, ne bakomawo, ne boogera
23. nga bagamba nti, “ Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.”
24. Bwe baawulira ebigambo ebyo omukulu wa Yeekaalu ne bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kijja okubuna.
25. Omuntu n'ajja n'ababuulira nti, “ Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu Yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu.”
26. Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja.
27. Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuuza
28. ng'agamba nti, “Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo.”
29. Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti, “ Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.
30. Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe bwe mwamuwanika ku muti.
31. Oyo Katonda yamulinnyisa ku mukono gwe ogwa ddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okuggyibwako ebibi:
32. naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera.”
33. Naye bo bwe baawulira ne balumwa nnyo, ne baagala okubatta.
34. Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, Omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera:
35. n'abagamba nti, “ Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby'abantu bano, kye mugenda okubakolako.
36. Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti, ‘ ye muntu omukulu.’ Abantu nga bikumi bina (400) ne beegatta naye, n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma.
37. Oluvannyuma lwe ne wasituka wo Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana.
38. Ne kaakano mbagamba nti, ‘ Mwebalame abantu bano, mubaleke,’ kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira;
39. naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda.”
40. Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne babalagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata.
41. Awo ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw'Erinnya.
42. Buli lunaku mu Yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.