Bible in one year

1. Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
2. “Mugambe abaana ba Isiraeri nti omusajja yenna bw'anaabanga n'enziku, nga si mulongoofu olw'enziku ye.
3. Obutali bulongoofu bwe bunaabanga ng'atonnya oba ng'azibikidde olw'enziku ye.
4. Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako era na buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
5. Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
6. N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
7. N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8. Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; awandiddwako amalusu anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9. N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu.
10. Na buli anaakomanga ku kintu omuziku ky'abadde atuddeko anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
11. Na buli muziku gw'anaakomagako nga tanaabye ngalo, oyo akomeddwako anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
12. Ekintu eky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga; na buli kintu ky'omuti ky'anaakomangako kinaayozebwanga mu mazzi.”
13. “Era omuziku yenna bw'anaawonanga, aneebaliranga ennaku musanvu okwetukuza; anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta n'alyoka aba omulongoofu.
14. Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, n'ajja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona.
15. Kabona anaagawangayo; erimu olw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'enziku ye.
16. “Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
17. Na buli kyambalo oba ddiba erinatonyebwangako amazzi ago kinaayozebwanga ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi.
18. Era omusajja n'omukazi bwe banaamalanga okwegatta bananaabanga n'amazzi ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi.
19. “Omukazi bw'anaabeeranga mu biseera eby'empisa ey'abakazi anaamalanga ennaku musanvu nga yeeyawudde, na buli anaamukomangako anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20. Na buli kintu ky'anaasulangako ne ky'anaatuulangako mu biro by'okweyawula kwe, binaabanga ebitali birongoofu.
21. Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22. Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
23. Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu kyonna ekirala ky'atuddeko, oyo akikomyeko anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24. Omusajja yenna bw'aneegattanga naye anaabeeranga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako nakyo kinaabeeranga ekitali kirongoofu.
25. “Omukazi bw'anaavangamu omusaayi ennaku ennyingi nga tali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, oba ng'ayisizza mu biseera bye ebya bulijjo, anaasigalanga nga si mulongoofu ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi nga bw'aba mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.
26. Buli kitanda ky'anaasulangako oba buli ky'anaatuulangako mu nnaku ezo binaabanga ebitali birongoofu.
27. Na buli anaakomanga ku ebyo, anaabanga atali mulongoofu, anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28. Omukazi bw'anavaanga mu biro eby'okweyawula kwe okw'embeera y'abakazi, aneebaliranga ennaku musanvu n'alyoka aba omulongoofu.
29. Awo ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
30. Kabona anaawangayo, erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'obutali bulongoofu bwe.
31. “Bwe mutyo bwe munaalabulanga abaana ba Isiraeri ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu n'okwonoonyesa Eweema yange eri wakati mu bo.”
32. Eryo ly'etteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amazzi g'obusajja, agamufuula atali mulongoofu;
33. era ery'omukazi ali mu kweyawula okw'empisa y'abakazi, era n'eryoyo asula n'omukazi atali mulongoofu.
1. Mukama n'ayogera ne Musa, nga babiri ku batabani ba Alooni bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa.
2. N'amugamba nti, “Gamba Alooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde mu watukuvu, munda w'eggigi, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku ssanduuko aleme kufa; kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.
3. Alooni anaajjanga na bino mu watukuvu: ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
4. Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkuffiira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala
5. Ekibiina ky'abaana ba Isiraeri kinaaleetanga embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ne Alooni anaaleetanga ente ennume eyiye ku bubwe, ey'ekiweebwayo olw'ekibi, okwetangirira ye n'ennyumba ye.”
6. “Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.
7. Awo anaaddiranga embuzi zombi n'azireeta mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
8. Anaazikubiranga obululu. Akalulu akamu ka Mukama n'ak'okubiri ka Azazeri.
9. Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
10. N'embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneeretebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu okumutangirira era eneesindiikirizibwanga eri Azazeri mu ddungu.”
11. “Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, n'agitta ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.
12. Awo anaaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa obulungi ennyo n'abireeta munda w'eggigi.
13. Anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka gwabwo gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa aleme okufa.
14. Awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ku ludda olw'ebuvanjuba; era n'agumansira n'engalo ye mu maaso g'entebe ey'okusaasira emirundi musanvu.
15. Awo anaattanga embuzi ey'abantu ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi n'akola nga bwakoze ku musaayi gw'ente ennume, ng'agumansira ku ntebe ey'okusaasira ne mu maaso gaayo,
16. era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna; era bw'atyo bw'anaakolanga n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu bo olw'obutali bulongoofu bwabwe.
17. So temubenga muntu mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Alooni ayingidde mu watukuvu okutangirira, okutuusa lw'anaafulumanga ng'amaze okwetangirira ye, n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri.
18. Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira; n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna.
19. N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.
20. Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu;
21. awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agikwasa omuntu ateekeddwateekeddwa, n'agisindiikiriza mu ddungu.
22. Embuzi eyo eneettikkanga obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu; kale embuzi anaagiteeranga eyo mu ddungu.”
23. “Awo Alooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambulamu ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo;
24. awo anaanaabanga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu.
25. N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26. Omuntu oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
27. Ente ennume n'embuzi ezagiddwako omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo.
28. N'omuntu oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.”
29. “Era lino linaabanga etteeka gye muli emirembe gyonna. Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi, mu mwezi ogw'omusanvu, muneebonerezanga, so temukolanga mulimu gwonna; enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe;
30. kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga ebibi byammwe byonna okuba abalongoofu mu maaso ga Mukama.
31. Olunaku olwo ye Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako gye muli, era muneebonerezanga; eryo lye tteeka ery'emirembe gyonna.
32. Era kabona, anaafukibwangako amafuta, era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga ng'ayambadde ebyambalo ebitukuvu ebya bafuta;
33. era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga Eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina.
34. Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka.” Musa n'akola byonna, nga Mukama bwe yamulagira.
6. Nnanaaba mu ngalo zange okulaga bwe sirina musango, Nendyoka nnetooloola ekyoto kyo, ayi Mukama,
7. Nga nnyimba oluyimba olw'okwebaza. Nnaayongeranga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo.
8. Ayi Mukama, njagala okubeera mu nnyumba yo, N'ekifo omubeera ekitiibwa kyo.
9. Tonzikiriza wamu n'abalina ebibi, Era wamu n'abantu abatemu.
10. Bo bakozi ba bibi, Era bali ba nguzi.
11. Naye nze nnaatambuliranga mu butuukirivu bwange. Nsaasira, onnunule.
12. Nnyimiridde mu kifo ekitereevu, Nneebazanga Mukama mu kibiina ky'abantu.
8. Omuntu omutegeevu, akwata amateeka; Naye omubuyabuya alizikirira.
1. Ate n'atandika okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, kyeyava alinnya mu lyato, n'atuula mu lyo ku nnyanja, kyo ekibiina ne kibeera ku lubalama lwe nnyanja.
2. N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti,
3. “Muwulire; omusizi yafuluma okusiga:
4. awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya.
5. N'endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi; amangwago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu:
6. enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala.
7. Endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala.
8. Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi.”
9. N'agamba nti, “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
10. Awo bwe yali yekka, abo abaali bamwetoolodde n'ekkumi n'ababiri ne bamubuuza ku ngero ezo.
11. N'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda, naye bali ab'ebweru byonna bibabeerera mu ngero:
12. Babe nga balaba naye nga tebeteegereza, babe nga bawulira naye nga tebategeera; sikulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
13. N'abagamba nti, “Temutegeera lugero luno? Kale mulitegeera mutya engero zonna?
14. Omusizi asiga kigambo.
15. Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangwago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo.
16. Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali olwazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangwago bakikkiriza n'essanyu;
17. ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangwago nga bagwa.
18. N'abalala be bali abasigibwa mu amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo,
19. awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala.
20. N'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala asatu (30), n'enkaaga (60), n'ekikumi (100).”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.