Bible in one year

1. Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti, “Ka nnonde nno abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000) ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino.
2. Nja kumutuukako ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka.
3. Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.”
4. Okuteesa okwo Abusaalomu n'akusiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna.
5. Awo Abusaalomu n'ayogera nti, “Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire naye ky'agamba.”
6. Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti, “Akisoferi atugambye bw'ati ne bw'ati. Tukole nga bw'agambye? Oba si kyo gwe ogamba otya?”
7. Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti, “Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi.”
8. Era nate Kusaayi n'amugamba nti, “Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, nga obw'eddubu ennyagiddwako abaana baayo ku ttale; era kitaawo musajja mulwanyi, tayinza kusula mu bantu.
9. Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti, ‘abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo.’
10. Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋaanga omutima gw'empologoma, aligweramu ddala amaanyi; kubanga Isiraeri yenna bamanyi nga kitaawo musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira.
11. Naye nze amagezi genkuwa, kuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, babe bangi ng'omusenyu gw'ennyanja; naawe mwene otabaale.
12. Tulimuketta ne tumuzindukiriza, netumugwako nga omusulo bwe gugwa ku ttaka; tulitta abasajja be bonna obutalekawo n'omu.
13. Bw'aliddukira mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.”
14. Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti, “Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi.” Kubanga Mukama yali asazeewo okuteesa okulungi Akisoferi kwe yaleeta kuleme kugobererwa alyoke aleete akabi ku Abusaalomu.
15. Awo Kusaayi n'abuulira Zadoki ne Abiyasaali bakabona nti, “Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri amagezi; ate bw'enti nange bwe mbawadde amagezi.
16. Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti, ‘Tosula mu kiro kino awasomokerwa mu ddungu; mu ngeri yonna asomoke, kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.’ ”
17. Awo Yonasaani ne Akimaazi ne balindiranga ku Luzzi Enerogeri, kubanga baali beewala okulabibwa mu kibuga. Omuzaana n'agendanga n'ababuulira nabo ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi.
18. Naye lwali lumu omulenzi n'abalaba n'ategeeza Abusaalomu; awo bombi ne bagenda mangu ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
19. Omukazi n'addira ekisaanikira n'asaanikira ku luzzi, n'ayanjalirako eŋŋaano ensekule; nga tewaali ayinza kubaako kyamanya.
20. Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti, “Basomose akagga bagenze.” Awo bwe banoonya ne batabalaba ne baddayo e Yerusaalemi.
21. Awo abaddu ba Abusaalomu nga bamaze okugenda, Akimaazi ne Yonasaani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi. Awo ne bagamba Dawudi nti, “Mugolokoke mangu musomoke kubanga Akisoferi abasalidde amagezi okubalwanyisa.”
22. Awo Dawudi n'asituka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka Yoludaani; emmambya okugenda okusala nga bamaze okusomoka.
23. Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tebagagoberedde, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe, n'atereeza eby'omu maka ge, ne yeetuga ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe.
24. Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu naye n'asomoka Yoludaani ng'ali n'abasajja ba Isiraeri bonna.
25. Abusaalomu n'alonda Amasa okubeera omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuisiraeri eyali awasizza Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina wa Yowaabu.
26. Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27. Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu,
28. ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike,
29. n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya; kubanga baayogera nti, “Abantu balumiddwa nnyo enjala ne nnyonta era bakoyedde nnyo mu ddungu.”
1. Awo Dawudi n'abala abantu abali naye n'abateekako abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi.
2. Dawudi n'agaba eggye nga liri mu bibinja bisatu (3) ebyenkanankana. Ekibinja ekimu ne kikulirwa Yowaabu, ekirala ne kikulirwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, era muganda wa Yowaabu, n'ekirala ne kikulirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti, “Nange kennyini nja kugenda nammwe.”
3. Naye abantu ne bagamba nti, “Tojja kugenda, kubanga ffe bwe tunadduka, abalabe tebajja kussaayo mwoyo kuffe. Wadde ku bantu baffe ne bwe kunaafaako ekimu eky'okubiri, era abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Naye ggwe wenkana abantu omutwalo mulamba (10,000), mu ffe. Kale nno ekisinga obulungi sigala, weeteeketeeke okutuddukirira nga osinzira mu kibuga.”
4. Kabaka n'abagamba nti, “Kye musiima kye nnaakola.” Kabaka n'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma n'enkumi.
5. Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti, “Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu.” Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu.
6. Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri; olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.
7. Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja emitwalo ebiri (20,000).
8. Olutalo ne lubuna ekitundu ekyo kyonna; ekibira ne kitta abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyatta.
9. Awo Abusaalomu yali yeebagadde ennyumbu ye, abaddu ba Dawudi ne bamugwikiriza nga tategedde, n'adduka; ennyumbu ye neyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gguwagamira mu matabi g'omwera ogwo, n'alengejja, ennyumbu ye n'egenda mu maaso.
10. Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti, “Laba, ndabye Abusaalomu ng'alengejjera ku mwera.”
11. Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti, “Oba nga omulabye kiki ekikulobedde okumufumita n'omutta? Nange nnandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi (10) n'olukoba.”
12. Omusajja n'agamba Yowaabu nti, “Nebwewandimpadde ebitundu bye ffeeza lukumi (1,000), era sandigolodde mukono gwange ku mwana wa kabaka; kubanga twawulira bulungi kabaka nga akulagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'agamba nti, ‘Mwegendereze tewaba akola akabi konna ku mulenzi Abusaalomu.’
13. Naye singa n'ajjemedde ekiragiro kya kabaka n'emutta, kabaka yandikitegedde, kubanga tewali kigambo nakimu ekikwekebwa kabaka, era naawe wennyini tewandimpolereza.”
14. Awo Yowaabu n'ayogera nti, “Sijja kuddawo kutootatoota naawe bwe ntyo.” Kwekuddira obusaale busatu (3) n'abukuba Abusaalomu mu mutima bwe yali ng'akyali mulamu nga alengejjera ku mwera.
15. N'abalenzi kkumi (10) abaatwalanga eby'okulwanyisa ebya Yowaabu nabo ne bajja ne bamufumita naafa.
16. Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne balekera awo okuwondera Abaisiraeri, ne bakomawo, kubanga Yowaabu yabayimiriza.
17. Ne batwala omulambo gwa Abusaalomu ne bagusuula mu bunnya obunene obwali mu kibira, ne bagutuumako entuumo y'amayinja ennene ennyo; awo Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu maka ge.
18. Abusaalomu bwe yali akyali mulamu, yesimbira empagi mu kiwonvu kya kabaka; kubanga yagamba nti, “Sirina mwana kwe balijjuukirira linnya lyange.” Empagi eyo n'agituuma erinnya lye, era eyitibwa ekijjukizo kya Abusaalomu ne leero.
19. Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'ayogera nti, “Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo mutegeeze nga Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be.”
20. Yowaabu n'amugamba nti, “Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala; kubanga omwana wa kabaka afudde.”
21. Awo Yowaabu n'agamba Omukusi nti, “Gwe oba ogenda obuulire kabaka by'olabye.” Omukusi n'akutamako mu maaso ga Yowaabu n'adduka.
22. Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'agamba Yowaabu omulundi ogwokubiri nti, “Nkwegayiridde nange ka male gadduka ngoberere Omukusi.” Yowaabu n'amugamba nti, “Mwana wange oyagalira ki okudduka nga toweebwe mpeera olw'ebigambo byo?”
23. Akimaazi n'addamu nti, “Naye ka mmale gadduka.” Yowaabu n'amugamba nti, “Dduka.” Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n'ayisa Omukusi.
24. Dawudi yali atudde wansi w'ekisasi ekiri wakati w'emiryango ebiri. Omukuumi n'alinnya waggulu ku kisenge, mu kafo awalengererwa ak'oku wankaaki, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera omusajja ajja adduka ng'ali bw'omu.
25. Omukuumi n'ayogerera waggulu n'abuulira kabaka. Kabaka n'agamba nti, “Oba ng'ali omu, aleese bigambo birungi.” Omuddusi neyeyongera okujja nga asembera.
26. Omukuumi ate n'alaba omusajja ow'okubiri ng'ajja adduka yekka; omukuumi n'akoowoola omuggazi n'amugamba nti, “Ate waliwo omusajja ow'okubiri era naye adduka yekka.” Kabaka n'ayogera nti, “Era naye aleese ebigambo.”
27. Omukuumi n'ayogera nti, “Ndaba nga omusajja akulembedde adduka nga Akimaazi mutabani wa Zadoki.” Kabaka n'ayogera nti, “Omusajja oyo mulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi.”
28. Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti, “Mirembe.” N'avuunama mu maaso ga kabaka n'agamba nti, “Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abajeemera mukama wange kabaka.”
29. Kabaka n'abuuza nti, “Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe?” Akimaazi n'addamu nti, “Yowaabu bwe yantuma nze omuddu wo, nnalaba okubugutana naye ne sitegeera ebyaliwo.”
30. Awo Kabaka n'amugamba nti, “Dda ku mabbali, oyimirire awo.” N'adda ku mabbali, n'ayimirira.
31. Awo n'Omukusi naye n'atuuka; n'ayogera nti, “Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo; kubanga leero Mukama awalanye eggwanga ku abo bonna abajeemera mukama wange kabaka.”
32. Kabaka n'agamba, Omukusi nti, “Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe?” Omukusi n'addamu nti, “Abalabe ba mukama wange kabaka n'abo bonna abaamujeemera babe ng'omulenzi oyo bw'ali.”
33. Awo kabaka n'anakuwala nnyo, n'alinnya waggulu mu kisenge ekiri waggulu ku wankaaki, n'akaaba amaziga, era n'agenda ng'akuba ebiwoobe nti, “Woowe, omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! Kale singa nze nfudde mu kifo kyo! Mwana wange Abusaalomu, mwana wange!”
16. Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda, Nange ne mbabuulira bye yakolera emmeeme yange.
17. Nnamukoowoola n'akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange.
18. Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire!
19. Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.
20. Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe.
31. Envi ez'obukadde, ngule ya kitiibwa, efunibwa oyo akola eby'obutuukirivu.
32. Alwawo okusunguwala asinga omuzira nnamige; Eyeefuga mu mutima, asinga awangula ekibuga.
28. Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu Yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti, “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe.
29. Nze mummanyi; kubanga nnava gy'ali, era ye yantuma.”
30. Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.
31. Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti, “Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?”
32. Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata.
33. Awo Yesu n'agamba nti, “Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma.
34. Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.”
35. Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti, “Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani?
36. Kigambo ki ekyo ky'agamba nti, Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.”
37. Naye ku lunaku olw'enkomerero, era olusingira ddala obukulu ku mbaga, Yesu n'ayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.
38. Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.”
39. Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40. Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti, “Mazima, ono ye nnabbi oli.”
41. Abalala ne bagamba nti, “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya?
42. Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?”
43. Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe.
44. Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono.
45. Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti, “Ekibalobedde ki okumuleeta?”
46. Abambowa ne baddamu nti, “Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo.”
47. Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti, “Era nammwe abakyamizza?
48. Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo?
49. Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.”
50. Nikoodemo omu ku bo, era edda eyagenda eri Yesu n'abagamba nti,
51. “Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze?”
52. Ne baddamu ne bamugamba nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya.”
53. Buli muntu n'addayo eka.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.