Bible in one year

1. Omanyi ebiseera embulabuzi ez'omu nsozi mwe zizaalira? Oba wali weetegerezza empeewo bw'ezaala?
2. Oyinza okubala emyezi gye zimala n'amawako? Oba omanyi ebiseera mwe zizaalira?
3. Lwe zifukamira ne zizaala abaana baazo, Ne ziryoka ziwona obulumi?
4. Abaana baazo bafuna amaanyi, ne bakulira ebweru ku ttale. Bagenda ne batakomawo we ziri.
5. Ani eyata entulege ebe ya ddembe? Oba ani eyagiyimbula etambule nga bw'eyagala?
6. Nze n'agiwa eddungu okuba amaka gaayo, N'ensi ey'omunnyo okuba ekifo w'ebeera.
7. Teyagala luyoogaano olw'omu kibuga, So tewulira kuleekaana kwa mugobi.
8. Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo, Era enoonya buli kintu ekibisi ky'erya.
9. Embogo enekkirizanga okukuweereza? Oba erisulako awali ekisibo kyo?
10. Oyinza okusiba embogo olukoba ogirimise? Oba ekusikire enkumbi ekulimire mu bisenyi?
11. Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi? N'ogirekera omulimu gw'eneekukolera?
12. Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo, N'okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey'omu gguuliro lyo?
13. Ebiwaawaatiro bya maaya ebizanyisa ng'esanyuse, Naye ebiwaawaatiro byayo n'ebyoya byayo biba n'ekisa?
14. Kubanga aleka amagi gaayo ku ttaka, N'egabugumizibwa omusenyu,
15. Ne yeerabira ng'ekigere kiyinza okugabetenta, Oba ensolo ey'omu nsiko eyinza okugalinnyirira.
16. Eyisa bubi abaana baayo nga betazaala, N'eraga nti tefaayo kuteganira bwereere.
17. Kubanga nze ssagiwa magezi, Era ssagiwa kutegeera.
18. Naye bw'etandika okudduka, Temanya mbalaasi n'oyo agyebagala.
19. Ggwe wawa embalaasi amaanyi gaayo? N'oyambaza obulago bwayo olugiŋŋirima lw'ekankanya?
20. Ggwe ogibuusa ng'enzige, N'eba n'okufugula okw'entiisa.
21. Etakulira mu kiwonvu, n'esanyukira amaanyi gaayo. Efubutuka okulumba abasajja abakutte eby'okulwanyisa.
22. Temanyi kiyitibwa kutya. So tedda mabega olw'ekitala.
23. Omufuko guwulungutira ku yo, Effumu erimasamasa n'akasaale.
24. Efukula ettaka n'efuumuka emisinde mu busungu obungi, Tetereera ng'ewulidde eŋŋombe.
25. Eŋŋombe buli lwe vuga, n'efugula nti, “Otyo!” N'ekonga olutalo ng'ekyali wala, Ng'ewulira okuleekaana kw'abaduumizi.
26. Ggwe oyigiriza magga okutumbiira, N'abamba ebiwaawaatiro bye, ayolekere obukiikaddyo?
27. Ggwe olagira empungu okulinnya, N'ekola ekisu kyayo waggulu mu nsozi?
28. Ebeeramu mpompogoma ze nsozi empanvu, N'ekola eyo amaka gaayo.
29. Erengera omuyiggo gwayo ng'esinzira eyo. Amaaso gaayo gagulengerera wala.
30. Abaana baayo banywa musaayi. Era awali ekifudde yo weebeera.
1. Mukama era n'agamba Yobu nti:
2. “Anoonya ensobi anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda anziremu.
3. Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama nti,
4. Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Kansirike busirisi.
5. Njogedde omulundi gumu, sijja kuddamu. Oba emirundi ebiri, naye sijja kwongera kwogera.
6. Awo Mukama n'addamu Yobu ng'asinziira mu mbuyaga ey'amaanyi, n'agamba nti:
7. Weesibe nno ekimyu ng'omusajja, Nange nkubuuze, onziremu.
8. Ogezaako kukyusa ensala yange? Ggwe onsalira nze omusango ggwe obeere omutuufu?
9. Wenkana nange amaanyi? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi eriri ng'eryange?
10. Kale yimirira nga weetimbye obukugu n'amalala. Yambala ekitiibwa n'obukulu.
11. Fuka obusungu bwo obusukkiridde, Otunuulire buli muntu ow'amalala omutoowaze
12. Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.
13. Bavumbike bonna wamu mu nfuufu. Basibire mu kifo ekikwekeddwa.
14. Kale nange nnakutendereza, Nti obuyinza bwo buyinza okukulokola.
15. Laba nno, envubu gye nnatonda nga bwe nnatonda ggwe, Erya omuddo ng'ente.
16. Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, Ne mu binywa eby'omu lubuto lwayo.
17. Ekakanyaza omukira ne gw'esimba ng'omuvule. Ebinywa by'amagulu gaayo by'amaanyi.
18. Amagumba gaayo galiŋŋaanga enseke ez'ekikomo, Amagulu gaayo galiŋŋaanga emitayimbwa.
19. Y'esooka mu nsolo zonna ze nnatonda. Ye yekka eyagitonda ya yinza okugisembereza n'ekitala kye.
20. Naye ensozi zigizaalira eby'okulya, Ensolo zonna ez'omu nsiko gye zizannyira.
21. Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Yeekweka mu bitoogo, mu lutobazzi.
22. Ewummulira mu bisiikirize by'obuti obw'amaggwa. Emyerebu gy'obugga gigyetooloola.
23. Omugga bwe gwanjaala, tetya. Eguma omwoyo, Yoludaani ne bwe gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24. Waliwo ayinza okugikwata bw'eba ng'etunula, Oba ayinza okugikwasa ku mutego n'ogifumita ennyindo zaayo?”
1. Nnaayimbanga ku bwesigwa n'amazima: Ggwe, Ayi Mukama, gwe nnaayimbiranga okukutendereza.
2. Nnaatambulanga n'amagezi mu kkubo ery'obutuukirivu: Woowe, olijja ddi gye ndi? Nnaatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde.
3. Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange.
4. Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi.
29. Ani alaba obuyinike? Ani alaba ennaku? Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? Ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyuse amaaso?
30. Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge ogwa buli kika.
1. Omuntu yenna mu mmwe bw'aba n'ensonga ku munne, ayaŋŋaanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu?
2. Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga entono eziri mu mmwe?
3. Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? Tulemwa tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno?
4. Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, lwaki mugitwala eri abo abanyoomebwa mu kkanisa?
5. Njogera kino kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga,
6. naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza?
7. Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
8. Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda.
9. Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga,
10. newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
11. Era abamu ku mmwe mwali ng'abo, era mwanaazibwa, era mwatukuzibwa, era mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.
12. “Ebintu byonna birungi gye ndi,” naye byonna tebingasa. “Byonna birungi gye ndi,” naye nze sigenda kufugibwanga kintu kyonna.
13. “Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya,” naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri.
14. Era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.
15. Temumanyi ng'emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo!
16. Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? Kubanga ayogera nti, “Bombi banaafuuka omubiri gumu.”
17. Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
18. Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye.
19. Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye Yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? Nammwe temuli ku bwammwe;
20. kubanga mwagulibwa na muwendo, kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.