Bible in one year

1. Awo mu kiseera ekyo, Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka w'e Babbulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye.
2. Keezeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'ennyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye. Tewaali kya bugagga ekyali mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
3. Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti, “Abasajja bano boogedde ki? Era baava wa okujja gy'oli?” Keezeekiya n'amuddamu nti, “Bava mu nsi ey'ewala e Babbulooni.”
4. Awo n'amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya n'addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.”
5. Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti, “Wulira ekigambo kya Mukama ow'eggye.
6. Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babbulooni, tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama.
7. N'abamu ku batabani bo, b'ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w'e Babbulooni ne balaayibwa.”
8. Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi,” kubanga yalowooza nti, “kasita emirembe n'obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”
1. “Musaasire, musaasire abantu bange,” bw'ayogera Katonda wammwe.
2. Mwogere eby'okusaasira Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze ziweddewo, n'obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw'ebibi bye byonna.
3. Eddoboozi liwulirwa waggulu Mu lukoola nti, “Mulongoose ekkubo lya Mukama, mutereeze olugendo lwa Katonda waffe mu ddungu.
4. Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n'akasozi birikkakkanyizibwa; n'obukyamu buligololwa, n'ebifo ebitali bisende biritereezebwa.
5. n'ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6. Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti, “N'ayogerera ki waggulu?” Omubiri gwonna muddo, n'obulungi bwagwo bwonna buliŋŋaanga ekimuli eky'omu nnimiro.
7. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako; mazima abantu muddo.
8. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.
9. Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n'amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, “ Katonda wammwe!”
10. Laba, Mukama Katonda alijja ng'ow'amaanyi, n'omukono gwe gulimufugira, laba empeera ye eri naye, n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
11. Aliriisa ekisibo kye ng'omusumba, alikuŋŋaanya abaana b'endiga mu mukono gwe, n'abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.
12. Ani eyali ageze amazzi mu kibatu kye, n'apima eggulu n'oluta, n'agatta enfuufu ey'oku nsi mu kigera, n'apima ensozi mu minzaani n'obusozi mu kipima?
13. Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n'amuyigiriza?
14. Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ery'amazima, n'amunnyonnyola okumanya, n'amulaga ekkubo ery'okutegeera?
15. Laba, amawanga gali ng'ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng'efuufu eri ku minzaani, laba, asitula ebizinga ng'ekintu ekitono ennyo.
16. Ne Lebanooni tamala kuba nku, so n'ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa.
17. Amawanga gonna galinga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya.
18. Kale ani gwe mulifaananya Katonda? oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19. Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n'omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n'akifumbira emikuufu egya ffeeza.
20. Ayinze obwavu n'okuyinza n'atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda; yeenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka.
21. Temunnamanya? Temunnawulira? temubuulirwanga okuva ku lubereberye? temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw'ensi?
22. Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n'abagituulamu bali ng'amayanzi; atimba eggulu ng'eggigi, era alibamba ng'eweema ey'okutuulamu:
23. afuula abalangira obutaba kintu; afuula abalamuzi b'ensi okuba ebirerya.
24. Weewaawo, tebasimbibwanga; weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mirandira mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n'embuyaga ez'akazimu ne zibatwalira ddala ng'ebisusunku.
25. Kale ani gwe mulinfaananya nze okumwenkana? Bw'ayogera Omutukuvu.
26. Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe; ani eyatonda ebyo byonna? afulumya eggye lyabyo ng'omuwendo gwabyo bwe guli; byonna abituuma amannya; olw'obukulu bw'obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.
27. Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n'ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n'omusango gwange guyise ku Katonda wange?
28. Tonnamanya? Tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w'enkomerero z'ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka.
29. Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30. Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n'abalenzi baligwira ddala;
31. naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.
21. Naye olongoose ebyange, Ayi Katonda Mukama, olw'erinnya lyo, Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye,
22. Kubanga nze ndi mwavu, nneetaaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange.
23. Ŋŋenda ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo; Nkuŋŋunta ng'enzige.
24. Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange gukozze.
25. Era nfuuse ekivume gyebali; Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.
2. Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.
1. Awo nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena (14) n'ayambuka nate e Yerusaalemi wamu ne Balunabba nga ntutte ne Tito.
2. Nnagendayo lwa kubikkulirwa; ne mbanjulira enjiri, gye mbuulira mu b'amawanga. Nnayogera n'abo abaatenderezebwa, mu kyama bategeere Enjiri gye mbuulira mu b'amawanga, si kulwa nga bwe nkola mba nga akolera obwereere.
3. Naye newakubadde Tito, gwe nnali naye, eyali Omuyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa.
4. Naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu.
5. Abo tetwabagonderako n'akatono, amazima g'Enjiri gasobole okubakuumirwa mmwe.
6. Naye abo abatwalibwa okuba ekintu eky'omuwendo, nga bwe bali, ku nze tewali njawulo, Katonda tasosola mu bantu, abo, ŋŋamba, abali baatenderezebwa tebalina kye bannyongerako;
7. naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa Enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey'abakomole
8. kubanga oyo eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole, ye yakolera ne mu nze olw'ab'amawanga;
9. era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa, nze ne Balunabba, omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu naffe, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole;
10. kyokka, baatusaba tujjukirenga abaavu; ekyo kye nnyini kye nesunga okukola.
11. Naye Keefa bwe yajja e Antiyokiya, nnamuwakanya nga tulabagana amaaso n'amaaso, kubanga yali mukyamu ddala.
12. Kubanga abantu abamu abaava ewa Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole.
13. Era n'Abayudaaya abalala bonna abaali naye, ne bamwegattako mu bukuusa, ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe.
14. Naye bwe nnalaba nga teberambise butereevu mu mazima g'Enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Oba nga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya?”
15. Ffe, Abayudaaya mu buzaaliranwa, tetuli b'amawanga aboonoonyi,
16. kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu.
17. Naye oba nga, mu kufuba kwaffe okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, ffe ffennyini twasangibwa okuba aboonoonyi, kale Kristo muweereza wa kibi? Nedda, n'akatono!
18. Kubanga bwe nzimba nate bye nnasuula, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi.
19. Kubanga olw'amateeka nnafa ku mateeka, ndyoke mbe omulamu eri Katonda.
20. Nnakomererwa wamu ne Kristo; naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze: era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.
21. Ssidibya kisa kya Katonda: kubanga obutuukirivu bwe buba mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.