14. Tokolimiranga muggavu wa matu, so toteerangawo muzibe w'amaaso nkonge okugyesittalako, naye onootyanga Katonda wo: Nze Mukama.
15. Musalenga emisango mu mazima n'obwenkanya, tosalirizanga mwavu olw'omugagga ali naawe, ne muliraanwawo onoomusaliranga omusango mu mazima.
16. Tobanga wa lugambo mu bantu bo, so tewekobanaanga kukola kabi ku muliraanwa wo: Nze Mukama.”
17. “Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo, tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.
18. Towalananga ggwanga, so tobanga na kiruyi eri mulirwanaawo, naye onoomwagalanga nga bwe weeyagala wekka: Nze Mukama.”
19. “Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo nga si za ngeri emu. Tosiganga mu nnimiro yo nsigo ezitali za ngeri emu. Toyambalanga kyambalo kya ngeri bbiri ezitafaanagana.”
20. “Buli anaasulanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, era nga tanunulwanga, so nga taweebwanga ddembe, bombi banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana yali tanunulwanga.
21. Awo omusajja oyo anaaleetanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, endiga ennume, okuba ekiweebwayo eri Mukama olw'omusango.
22. Awo kabona anaamutangirizanga endiga eyo ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; era anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.”
23. “Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egy'ebibala ebiriibwa, ebibala ebyo temubiryangako okumala emyaka esatu kubanga biriba si birongoofu gye muli.
24. Naye mu mwaka ogwokuna ebibala ebyo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama.
25. Naye mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala ebyo. Bwe mulituukiriza ebyo byonna mulifuna ekyengera: Nze Mukama Katonda wammwe.”
26. “Temulyanga nnyama yonna ng'ekyalimu omusaayi, so temuloganga era temulagulanga.
27. Temumwanga nkiiya, so temukomolanga birevu byammwe.
32. “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: Nze Mukama.”
33. “Era munnaggwanga bw'anaatuulanga nammwe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi.
34. Munnaggwanga anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era munaamwagalanga nga bwe mweeyagala mwekka, kubanga nammwe mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.”
35. “Temusalirizanga so temukumpanyanga nga mukozesa ebipimo ebitali bituufu mu kupima obuwanvu, obuzito n'obungi bw'ebintu.
36. Munaabanga ne minzaani entuufu, n'ebigera ebituufu, efa entuufu, ne ini entuufu: Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
37. Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna mubituukirizenga: Nze Mukama.”
1. Mukama n'agamba Musa nti,
2. “Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna mu Baisiraeri, oba mu bannamawanga abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, anattibwanga abantu bonna nga bamukuba amayinja.
3. Era nange naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu bange; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, naayonoonyesa awatukuvu wange, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu.
4. Naye abantu ab'omu nsi bwe bataafengayo ku kibi ky'omuntu oyo awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki ne batamutta,
5. Nze, nze nnyini naamusunguwaliranga, ye n'ab'omu nnyumba ye, ne bonna abamwegattako okusinza Moleki ne mbaboola okuva mu bantu bange.”
6. “Omuntu yenna bw'anaanvangako n'agenda eri abasamize n'abalogo, naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu be.
7. Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
8. Era mwekuumenga amateeka gange, mugakwatenga; Nze Mukama abatukuza.
10. Omusajja bw'anaayendanga ku muk'omusajja, abenzi bombi, omusajja n'omukazi, banattibwanga.
11. Omusajja yenna aneegattanga ne muka kitaawe, anaabanga akoze ekivve, era abantu abo bombi banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.
12. Omusajja bw'aneegattanga ne muka mwana we, nga bakoze ekivve, bombi banattibwa; be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.
13. Omusajja bw'aneegattanga ne musajja munne, nga bwe yandyegasse n'omukazi, nga bakoze eky'omuzizo; banattibwanga, be banaabanga beereetedde bokka okuttibwa.
14. Omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kivve; bonsatule banaayokebwanga omuliro; temukkirizanga kibi ng'ekyo kubeera mu mmwe.
17. Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba wa nnyina, banaabanga bakoze eky'obuwemu; banaabolebwanga okuva mu bantu baabwe, era omusajja oyo eyeegatta ne mwannyina anaavunaanibwanga olw'ekibi ekyo.
18. Omusajja bw'aneegattanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaabolebwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu.
19. Teweegattanga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe.
20. Omusajja bw'aneegattanga ne muka kitaawe omuto oba muka kojjaawe, nga bakoze ekivve, era ye n'omukazi oyo banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe, era balifa nga bagumba.
21. Omusajja bw'aneegattanga ne muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we, era baliba bagumba.”
22. “Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna ne mubituukirizanga; ensi gye mbatwala okubeeramu ereme okubagaana.
23. Temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe; kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyennava mbakyawa.
24. Naye mmwe n'abagamba nti, ‘Mulisikira ensi yaabwe, ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga.
25. Kale munaayawulanga ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi ennongoofu n'eteri nnongoofu. Temufuukanga batali balongoofu nga mulya ensolo, oba ennyonyi, oba ekintu kyonna ekyewalula ku nsi, bye nnabagaana.
26. Munaabanga batukuvu gye ndi; kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nnabaawula mu mawanga mubeere abange.”
27. “Omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, banaakubibwanga amayinja ne bafa, be banaabanga bereeseeko bokka okuttibwa.”
4. Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okumwebuuzangako mu Yeekaalu ye.
5. Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye. Ali nkweka mu weema ye aweekusifu, Waggulu ku lwazi.
6. Bwentyo bwe n'awangula abalabe bange abanneetooloodde. Era n'awaayo mu weema ye ssaddaaka nga nsanyuka, Ne nnyimba ne ntendereza Mukama.
12. Obukyayi buleeta ennyombo; Naye okwagala kubikka ku byonoono byonna.
1. Ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasene.
2. Bwe yava mu lyato, amangwago omuntu eyaliko omwoyo omubi naava mu malaalo najja n'amusisinkana.
3. Omusajja ono yasulanga mu malaalo, nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegere,
4. kubanga emirundi mingi baagezangako okumussa mu masamba, n'okumusiba mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya. Ne wataba muntu wa maanyi asobola okumunyweza.
5. Naye bulijjo, ekiro n'emisana, yakaabiranga mu malaalo ne ku nsozi, era nga bwe yeesalaasala n'amayinja.
6. Awo bwe yalengera Yesu ng'akyali wala ko n'adduka n'atuuka awali Yesu n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene
7. ng'agamba nti, “Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waggulu ennyo? Nkulayiza Katonda, tombonereza.”
8. Kubanga Yesu yali amaze okugamba nti, “Va ku muntu ono, ggwe omwoyo omubi.”
9. Awo Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'addamu nti, “Erinnya lyange nze Liigyoni; kubanga tuli bangi.”
10. N'amwegayirira nnyo aleme okubagoba mu nsi eyo.
11. Awo ku lusozi waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nnyo nga zirya.
12. N'amwegayirira, ng'amugamba nti, “tusindike mu mbizzi tuziyingiremu.”
13. Yesu n'akkiriza. Awo emyoyo emibi ne giva mu musajja ne giyingira mu mbizzi. Awo eggana ly'embizzi lyonna ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga ne lyeyiwa mu nnyanja. Embizzi zonna ezaali nga enkumi bbiri (2,000), ne zifiira mu nnyanja.
14. Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri.
15. Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko baddayimooni abangi ng'atudde, ng'ayambadde era ng'ategeera bulungi, ne batya nnyo.
16. Abo abaalaba ebyaliwo ne babannyonnyola ebyali bituuse ku musajja oyo eyaliko dayimooni, era ne ku mbizzi.
17. Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe.