Bible in one year

1. Kale munaayagalanga Mukama Katonda wammwe, ne mwekuuma bye yabakuutira, amateeka ge n'ebiragiro bye ennaku zonna.
2. Kale mumanye leero; soogera na baana bammwe abaatamanya era abataalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, wabula nammwe abalaba obukulu bwe n'amaanyi ge, n'omukono gwe ogwagololwa;
3. n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri, n'eri Falaawo, kabaka w'e Misiri n'ensi ye yonna;
4. era bye yakola eggye ery'e Misiri, bwe yasaanyawo embalaasi n'amagaali gaabwe; mu mazzi ag'ennyanya emmyufu, n'abazikiriza bonna bwe baali nga babawondera.
5. Mumanyi byonna Mukama bye yabakolera mu ddungu, bwe mwali nga temunnatuuka mu kifo kino;
6. mujjukira byeyakola Dasani ne Abiramu abaana ba Eriyaabu, bazzukulu ba Lewubeeni; ettaka bwe lyayatika ne lyasama, ne libamira bugobo; ab'omu maka gaabwe bonna, n'eweema zaabwe na buli kintu kyonna ekiramu kye baalina nga Abaisiraeri abalala bonna balaba.
7. Era mwalabira ddala n'amaaso gammwe omulimu gwonna omukulu Mukama gwe yakola.
8. Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga guno Yoludaani muyingire mutwale ensi Mukama gy'abawa;
9. era mulyoke muwangaale mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
10. Kubanga ensi gye muyingiramu okutwala, tefaanana ng'ensi ey'e Misiri gye mwava, gye mwasigiranga ensigo ne mukola n'amaanyi, nga muzifukirira ng'ennimiro y'enva.
11. Naye ensi gye muyingiramu okutwala nga mumaze okusomoka Yoludaani, nsi ya biwonvu n'ensozi efukirirwa enkuba.
12. Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala; era amaaso ge gaba ku yo ennaku zonna, okuva ku ntandikwa y'omwaka okutuusa ku nkomerero yaagwo.
13. Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna,
14. anaatonnyesanga enkuba ku nsi yammwe mu ntuuko zaayo; enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, mukungulenga eŋŋaano, n'envinnyo n'amafuta okuva mu mizeyituuni.
15. Era n'akuzanga omuddo mu ttale olw'ebisibo byammwe era nammwe munaalyanga ne mukkuta.
16. Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okulimbibwa, ne mukyama, okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza;
17. obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba netatonnya, n'ensi netabala bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi Mukama gy'abawa.
18. Kale mutereke ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu bulamu bwammwe; era munaabisibanga ku mikono gyammwe era munaabyetimbanga mu byenyi byammwe okuba akabonero ak'okubibajjukizanga.
19. Era munaabiyigirizanga abaana bammwe, nga mubinyumyako, bwe munaatuulanga mu nnyumba zammwe ne bwe munaabanga mutambula mu ŋŋendo zammwe, bwe munaabanga mugenda okwebaka, era ne bwe munaabanga mugolokose.
20. Era munaabiwandiikanga ku myango gy'ennyumba zammwe ne ku nzigi zammwe.
21. Ennaku zammwe n'ez'abaana bammwe zibeere nnyingi mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa emirembe gyonna.
22. Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bino byonna bye mbalagira okukola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu biragiro bye byonna, n'okwegattanga naye;
23. Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mutwala ensi z'amawanga ago agabasinga obunene n'amaanyi.
24. Buli kifo kye munaalinnyangamu ebigere byammwe kinaabanga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Fulaati mu buvanjuba, okutuuka ku nnyanja Eyawakati mu bugwanjuba.
25. Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.
26. “Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa.
27. Munaabanga n'omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero.
28. Naye munaakolimirwanga, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne musinzanga bakatonda abalala be mwali temumanyi.
29. Awo olulituuka Mukama Katonda wammwe bw'alibayingiza mu nsi gye mugenda okutuulamu, mulangiriranga omukisa nga musinziira ku lusozi Gerizimu, n'ekikolimo nga musinziira ku lusozi Ebali.
30. Ensozi ezo zombi ziri mitala wa mugga Yoludaani, mu nsi y'Abakanani ababeera mu kiwonvu kya Yoludaani okwolekera Gilugaali, ku mabbali g'emivule gya Mole.
31. Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira mutwale ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, okubeeramu.
32. Era munaanyiikiranga okukwata amateeka n'ebiragiro byonna bye mbalagira mmwe leero.”
1. Gano ge mateeka n'ebiragiro bye munaakwatanga mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa okutuulamu, ennaku zonna ze mulimala nga muli balamu mu nsi.
2. Temulemanga kuzikiriza bifo byonna eby'amawanga ge mugenda okuwangula gye baweerereza bakatonda baabwe, ebiri ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
3. Munaamenyamenyanga ebyoto n'empagi zaabwe, era munaayokyanga n'ebifaananyi bya katonda waabwe Asera; munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; ne musangulira ddala amannya ga bakatonda abo, ne bataddamu ku sinzibwa mu bifo ebyo.
4. Temusinzanga Mukama Katonda wammwe ng'abamawanga abo bwe basinza bakatonda baabwe.
5. Naye mmwe munaasinzizanga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, n'akitongoza mu bika byammwe okusinzizangamu erinnya lye, eyo gye munaagendanga.
6. Eyo gye munaatwalanga ebiweebwayo: ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, obweyamo, ne bye muwaayo ku bwammwe, ebibereberye by'ente zammwe n'eby'endiga zammwe.
7. Era munaaliiranga mu kifo ekyo, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye mukoze n'emikono gyammwe, wamu n'ab'omu nnyumba zammwe, nga Mukama Katonda wammwe bw'abawadde omukisa.
8. Temukolanga ebyo byonna bye tukola wano kaakano; kubanga buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu mu maaso ge;
9. kubanga temunnatuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa gye munaabeeranga mu mirembe.
10. Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, anaabawonyanga eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga ne mutuula mirembe.
11. Awo Mukama Katonda wammwe bw'alimala okweroboza ekifo eky'okutuuzaamu erinnya lye ne mulyoka mutwala eyo eby'okuwaayo byonna bye mbalagira: ebiweebwayo ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, n'obweyamo bwammwe bwonna eri Mukama.
12. Munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna busika bwa ttaka nga mmwe.
13. Mwekuumenga muleme okuweerangayo mu buli kifo kye mulaba ebyo bye muwaayo ebyokebwa;
14. naye munaabiweerangayo mu kifo kimu kyokka Mukama ky'alyeroboza okuva mu bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira.
15. Naye munaayinzanga okutta ebisolo ne muliira ennyama yaabyo wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, nga Mukama bw'anaabanga abawadde omukisa. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaagiryangako nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
16. Kyokka temulyanga ku musaayi; munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
17. Temuliiranga mu bifo gye munaabeeranga, ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano, eby'envinnyo, eby'amafuta ag'emizeyituni, eby'ebibereberye by'ente n'endiga, eby'ebintu byonna bye mweyama, eby'ebintu byonna bye muwaayo ku bwammwe n'ebyo ebisitulibwa n'emikono.
18. Naye munaabiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abanaabeeranga mu bibuga byammwe. Munaasanyukiranga ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'abawadde mu mikono gyammwe.
19. Mwekuumenga mulemenga okusuuliriranga Abaleevi ennaku zonna ze munaabeeranga abalamu mu nsi yammwe.
20. “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yabasuubiza, ne muyoya ennyama, munaagiryanga nga bwe munaayagalanga.
21. Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, bwe kinaabanga ewala, munattanga ku nte ne ku mbuzi zammwe, Mukama z'abawadde, ne muziriira gye munaabeeranga nga bwe munaayagalanga.
22. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaaziryangako kye nkanyi, ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa.
23. Kyokka mwegendereze mulemenga okulya ku musaayi; kubanga mu musaayi mwe muli obulamu; tolyanga musaayi awamu n'ennyama.
24. Temugulyanga, wabula munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
25. Bwe munaakwatanga ekiragiro ekyo, ne mutagulyako; abaana bammwe n'abazzukulu bammwe banaalabanga ebirungi.
26. Byo ebintu ebitukuvu n'obweyamo eby'okuwangayo munaabitwalanga mu kifo ekyo Mukama ky'alyeroboza.
27. Munaaweerangayo eyo ku kyoto kya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo eby'okebwa, ennyama n'omusaayi. Omusaayi gwa ssaddaaka zammwe gunaayibwanga ku kyoto, nammwe munaalyanga ennyama.
28. Mukwatenga ebyo byonna bye mbalagira, mulyoke mulabenga ebirungi, mmwe n'abaana bammwe, n'abazzukulu bammwe, emirembe gyonna, bwemunaakolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi era eby'ensonga.”
29. “Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'agenda okubawa;
30. amawanga ago bwe galimala okuzikirizibwa mu maaso gammwe, mwekuumenga mulemenga okugwa mu bikemo eby'okusinza ba katonda ab'amawanga ago, nga mwegomba okusinzanga bo.
31. Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe, nga mukola eby'omuzizo Mukama by'akyawa ebyakolebwanga ab'amawanga ago ne batuuka n'okuwaayo batabani baabwe ne bawala baabwe okubookya omuliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
18. Mukama amanyi ennaku z'abo abatalina musango, N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.
19. Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga.
20. Naye ababi balizikirizibwa, N'abalabe ba Mukama baliggwaawo ng'ebimuli eby'omu ttale. Balibula; baliggwaawo ng'omukka.
21. Omubi yeewola, n'atasasula. Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba.
22. Abo Mukama b'awa omukisa gwe balisikira ensi. N'abo b'akolimira balizikirizibwa.
12. Omunaala gw'ababi, gumenyeka ne gugwa; Naye omusingi gw'abatuukirivu, gunywera.
13. Omuntu omubi, ebigambo bye bye bimukwata, Naye omutuukirivu awona emitawaana.
14. Omuntu alifuna empeera esaanira, Ebyo by'akola ne by'ayogera.
1. Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito abantu ab'ensi zonna okwewandiisa.
2. Okwo kwe kwewandiisa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli.
3. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga gy'asibuka.
4. Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'agenda e Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi,
5. ye wandiise ne Malyamu, gwe yali ayogereza, era ng'ali lubuto.
6. Awo olwatuuka baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka.
7. N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaafuna kifo mu kisulo ky'abagenyi.
8. Waaliwo abasumba mu nsi eyo abaasulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo.
9. Awo malayika wa Mukama n'ayimirira we baali, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasamasa, ne batya nnyo.
10. Malayika n'abagamba nti, “ Temutya; kubanga, laba, mbaleetera ebigambo ebirungi eby'essanyu eringi eririba eri abantu bonna:
11. kubanga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, ye Kristo Mukama waffe.
12. Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.”
13. Awo amangwago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti,
14. “Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.”
15. Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti, “ Kale tugende e Besirekemu tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.”
16. Ne bagenda mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.
17. Awo bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baabuulirwa ku mwana oyo.
18. Bonna abaawulira ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuulira.
19. Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna, ng'abirowooza mu mutima gwe.
20. Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, ne bye baalaba, nga bwe byabaabuulirwa.
21. Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa erinnya lye Yesu, liri eryayogerwa malayika nga tannaba kuba mu lubuto.
22. Awo ennaku ez'okulongooka kwabwe bwe zaatuuka ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne batwala Yesu ne bamwambusa e Yerusaalemi, okumwanjulira Mukama
23. nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama nti, “ Buli kisajja ekiggulanda kinaayitibwanga kitukuvu eri Mukama.”
24. n'okuwaayo ssaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.