Bible in one year

1. Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu yenna ku bo, eyeeyonoona ng'akoma ku w'oluganda lwe afudde;
2. Okuggyako abo abamuli okumpi mu luganda: nnyina ne kitaawe, mutabani we ne muwala we, ne muganda we,
3. oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye.
4. Teyeeyonoonanga olw'abo abafudde ku buko.
5. Tebeesalanga kiwalaata, wadde okukomola ekirevu, n'okwesala emisale ku mibiri gyabwe.
6. Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe; kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe; kyebanaavanga babeera abatukuvu.
7. Kabona tawasanga mukazi mwezi, oba eyagwagwawazibwa, oba eyagobebwa bba; kubanga kabona mutukuvu eri Katonda we.
8. Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo; anaabanga mutukuvu gy'oli; kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.
9. Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe; anaayokebwanga omuliro.”
10. “N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu, eyafukibwako amafuta, n'ayawulibwa okwambala ebyambalo by'obwa kabona, tasumululenga nviiri ze, so taayuzenga byambalo bye olw'okukungubaga.
11. Taasembererenga mulambo gwonna, wadde ogwa kitaawe oba ogwa nnyina,
12. so talekanga mirimu gy'awatukuvu olw'abafu, kubanga yafukibwako amafuta amatukuvu aga Katonda.
13. Era anaawasanga omukazi atannamanya musajja.
14. Tawasanga nnamwandu, oba eyagobebwa bba, oba eyagwagwawazibwa, oba omwenzi, wabula awasanga omuwala ow'omu bantu be, atannamanya musajja.
15. So tavumisanga zzadde lye mu bantu be; kubanga nze ndi Mukama amutukuza.”
16. Mukama n'agamba Musa nti,
17. Gamba Alooni nti, “Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda we.
18. Omuntu yenna anaabangako obulema: omuzibe w'amaaso, awenyera, eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekikyamu ku mubiri gwe,
19. eyamenyeka okugulu, eyamenyeka omukono,
20. ow'ebbango, omutuutuuli, aliko obulema ku liiso, alina obuwere, omubootongo, oba eyayatika enjagi;
21. tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro n'ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda.
22. Ow'engeri eyo, anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu.
23. Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.”
24. Awo Musa n'agamba Alooni ne batabani be, ne Isiraeri yenna ebigambo ebyo.
1. Mukama n'agamba Musa nti,
2. “Gamba Alooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu abaana ba Isiraeri bye bawaayo gyendi; balemenga okuvumaganyisa erinnya lyange ettukuvu: Nze Mukama.
3. Bagambe nti, Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nga si mulongoofu, anaaboolebwanga mu maaso gange: Nze Mukama.
4. Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni alwadde ebigenge oba enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa ng'alongooseddwa. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu bw'anaakomanga ku kintu ekifudde, oba ku musajja avuddemu amaanyi ag'ekisajja;
5. oba bw'anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba bw'anaakomanga ku muntu yenna atali mulongoofu;
6. kabona oyo anaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mutukuvu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri gwe n'amazzi.
7. Awo enjuba ng'egudde, anaabanga mulongoofu; oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga ebyo y'emmere ye.
8. Ennyama y'ensolo efudde yokka oba etaaguddwataaguddwa ensolo ey'omu nsiko, tagiryangako okufuuka atali mulongoofu: Nze Mukama.
9. Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga okwonoona, ne bafa olw'okubinyoomoola: Nze Mukama abatukuza.”
10. “Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu, wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako.
11. Naye omuddu kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abazaaliddwa mu nnyumba ye, bo banaalyanga ku mmere ye.
12. Era muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omusajja atali mu lulyo lwa bakabona, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu.
13. Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe; naye atali mu lulyo lwa bakabona taagiryengako.
14. Era omuntu atali mu lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, kale anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'agattako n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.
15. Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama;
16. nga bakkiriza abatali mu lulyo lwa bakabona okubiryako, ne babaleetera omusango n'ekibonerezo: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.”
17. Mukama n'agamba Musa nti,
18. “Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti buli mu Isiraeri yenna, oba munnaggwanga ali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone kye eky'obweyamo oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama;
19. anaawangayo, ente ennume, oba endiga, oba embuzi eteriiko mulema, alyoke akkirizibwe.
20. Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo; kubanga tekikkirizibwenga.
21. Buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde: ente oba embuzi, eneebanga eteriiko bulema eryoke ekkirizibwe.
22. Enzibe y'amaaso, emmenyefu, ennema, eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ku kyoto.
23. Ente oba endiga ento eriko ekintu kyonna ekikyamu ku bitundu byayo, eyo oyinza okugiwaayo ng'ekiweebwayo kye weeyagalidde, so ssi kugiwaayo ng'obweyamo.
24. Eyabetentebwa, eyanyigibwa, eyayatika, oba eyasalibwako enjagi zaayo, eyo temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe.
25. Ensolo ze muggye mu bannamawanga temuziwangayo eri Katonda wammwe ng'ekiweebwayo eky'okulya. Ezo zibalibwa ng'eziriko obulema era tezikkirizibwenga.”
26. Mukama n'agamba Musa nti,
27. “Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo eneekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
28. Temuttanga ente oba endiga, n'omwana gwayo, byombi ku lunaku olumu.
29. Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo nga mugoberera amateeka, mulyoke mukkirizibwe.
30. Eneeriibwanga ku lunaku olwo; temugirekangawo okutuusa enkya: Nze Mukama.”
31. “Muneekuumanga ebiragiro byange, ne mubituukiriza: Nze Mukama.
32. So temuvumaganyanga linnya lyange ettukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri bonna: Nze Mukama abatukuza,
33. eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuba Katonda wammwe: Nze Mukama.”
11. Onjigirizenga ekkubo lyo, ayi Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu kakubo akaterevu, Kubanga nnina abalabe bangi.
12. Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala, Bannumba nga bampaayiriza, nga bajjudde obukambwe.
13. Nzikiriza nti ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu.
14. Lindirira Mukama, Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama.
13. Mu bigambo by'omutegeevu, mulimu amagezi; Naye omugongo gw'omusirusiru gusaanira kukubwa miggo.
14. Ab'amagezi batereka okumanya: Naye omusirusiru by'ayogera, bimuleetera okuzikirira.
15. Ebintu eby'omugagga kye kibuga kye eky'amaanyi: Abaavu okuzikirira kwabwe bwavu bwabwe.
16. Omulimu ogw'omutuukirivu guleeta bulamu; Ekyengera eky'omubi kireeta kwonoona.
21. Awo Yesu bwe yawunguka nate mu lyato n'atuuka emitala, ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali ku lubalama lw'ennyanja.
22. Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, erinnya lye Yayiro, bwe yalaba Yesu n'ajja n'avuunama ku bigere bye,
23. n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti, “ Muwala wange omuto abulako katono okufa, nkwegayirira jjangu omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke.”
24. Awo Yesu n'agenda naye; ekibiina ekinene ne kimugoberera nga kigenda kimunyigiriza.
25. Awo mu kibiina ekyo mwalimu omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12).
26. Yali yeewubye ennyo mu basawo bangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala.
27. Bwe yawulira ebigambo bya Yesu, bw'atyo n'ajja nga yeenyigiriza mu kibiina n'atuuka emabega wa Yesu n'akoma ku kyambalo kye.
28. Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Bwe nkomako obukomi ku byambalo bye, nnaawona.”
29. Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi n'ekikalira, n'awulira mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa obulwadde bwe.
30. Amangwago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'abuuza nti, “Ani akomye ku byambalo byange?”
31. Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankomyeko?’ ”
32. Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso okulaba oyo amukutteko.
33. Naye omukazi bwe yamanya ekimutuseeko, n'ajja eri Yesu ng'atidde nnyo era ng'akankana, n'agwa mu maaso ge, n'amubuulira amazima gonna.
34. Yesu n'amugamba nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe, owonere ddala obulwadde bwo.”
35. Awo bwe yali akyayogera, abaava mu maka ga Yayiro ne bajja, ne bagamba Yayiro nti, “Omuwala wo afudde. Oteganyiza ki nate Omuyigiriza?”
36. Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku bigambo ebyogeddwa wabula n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, kkiriza bukkiriza.”
37. Awo Yesu n'agaana abalala bonna okugenda naye okuggyako Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo.
38. Ne batuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'alaba okwaziirana, n'abakaaba, n'abakuba ebiwoobe ebingi.
39. Awo bwe yayingira n'abagamba nti, “Kiki ekibaaziiranya n'ekibakaabya? Omuwala tafudde, naye yeebase bwe basi!”
40. Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n'abagamba bonna bafulume mu nju. N'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abayigirizwa abaali naye, n'ayingira nabo mu kisenge omuwala mwe yali.
41. Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti, “Talisa kkumi;” ekitegeeza nti, “Omuwala, nkugamba nti Golokoka.”
42. Amangwago omuwala n'agolokoka, n'atambula. Omuwala oyo yali aweza emyaka kkumi n'ebiri (12). Amangwago abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.
43. Yesu n'abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n'alagira okuwa omuwala eky'okulya.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.