1. Era bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Omusajja eyagulumizibwa ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era eyayiya zabbuli za Isiraeri ezisanyusa;
2. Omwoyo gwa Mukama gwogerera mu nze, Ekigambo kye kiri ku lulimi lwange.
7. Naye omuntu agakwasaako, kyuma na lunyago lwa ffumu; ne gokerwa awo, obutasigalawo na limu.
8. Gano ge mannya g'abasajja ba Dawudi abalwanyi abaatiikirivu be yalina! asooka ye Yosebubasu-sebesi Omutakemoni, omukulu w'Abasatu. Era yali ayitibwa Adino Omwezeni, kubanga yalwana n'abasajja lunaana (800) be yatta omulundi gumu.
9. Ow'okubiri ku basatu (3) abo ab'amaanyi ye Ereazaali, mutabani wa Dodayi, Dodayi mutabani wa Akoki. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abaisiraeri bonna ne badduka.
10. Naye ye n'asituka n'atta Abafirisuuti, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo. Abaisiraeri ne bakomawo awali Ereazaali, lwa kunyaga obunyazi.
11. Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omukalali. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjude ebijanjaalo, Abaisiraeri ne badduka Abafirisuuti abo.
12. Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti; Mukama n'aleeta okuwangula okunene.
13. Awo abasatu ku bakulu asatu (30) ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adulamu, mu kiseera eky'amakungula ng'ekibinja ky'Abafirisuuti kisiisidde mu kiwonvu ky'e Lefayimu.
14. Era Dawudi yali mu mpuku mu biro ebyo n'Abafirisuuti ab'omu kigo baali mu Besirekemu.
15. Awo Dawudi n'ayagala okunywa ku mazzi, n'agamba nti, “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunya agava mu luzzi olw'e Besirekemu, oluli ku wankaaki!”
16. Abasajja abo abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwalira Dawudi; naye Dawudi n'agaana okuganywako, naye n'agayiwa ku ttaka okuba ekiweebwayo eri Mukama.
18. Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja asatu (30) ab'amaanyi. Y'agalula effumu lye okulwana n'abasajja bisatu (300) n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu asatu (30).
19. Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu (3).
20. Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri owa Mowaabu bombi; era lumu mu biseera eby'omuzira yekka mu bunnya n'atta empologoma;
21. era yatta Omumisiri, omusajja omulungi. Omumisiri yali akutte effumu mu mukono gwe; Benaya nga alina omuggo n'aserengeta eri Omumisiri, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri n'amutta.
22. Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi.
2. Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti, “Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gwabwe.”
3. Yowaabu n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe; wabula mukama wange kabaka lwaki asanyukira ekintu ekyo?”
4. Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ekya Yowaabu n'abakulu b'eggye. Awo Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isiraeri.
5. Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yezeeri;
6. ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimu-kodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni,
7. ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani; ne bamalira ku bukiikaddyo obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba.
8. Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bakomawo e Yerusaalemi nga wayise emyezi mwenda n'ennaku abiri.
9. Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be babala: mu Isiraeri mwalimu abasajja abazira abayinza okulwana obusiriivu munaana (800,000), ne mu Yuda obusiriivu butaano (500,000).
15. Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo; awo ku bantu ne kufaako abasajja emitwalo musanvu (70,000) okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba.
16. Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti, “Kinaamala.” Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
8. Ensi n'ekankana, Enkuba nefukumuka okuva mu ggulu mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri.
6. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso,
7. n'amugamba nti, “Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu” (ekitegeeza nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba.
8. Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti, “Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza?”
9. Abalala ne bagamba nti, “Ye wuuyo,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, naye afaanana naye.” Ye n'agamba nti, “Nze nzuuno.”
10. Awo ne bamugamba nti, “Kale amaaso go gaazibuka gatya?”
11. Ye n'addamu nti, “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti, Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.”
12. Ne bamugamba nti, “Ali ludda wa oyo?” N'agamba nti, “Simanyi.”
13. Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli edda eyali omuzibe w'amaaso.