2. Embaga ennonde eza Mukama okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu ze zino.
3. Ennaku omukaaga zinaakolerwangako emirimu; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti ey'okuwummula n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna. Olwo ye Ssabbiiti ya Mukama mu nnyumba zammwe zonna.
4. “Zino ze mbaga ennonde eza Mukama, okunaabeeranga okukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo.
5. Mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, ye mbaga y'Okuyitako.”
6. “Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eri Mukama; munaagiriiranga ennaku musanvu.
7. Ku lunaku olwolubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna.
8. Naye ennaku musanvu munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.”
9. Mukama n'agamba Musa nti,
10. “Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, muleetanga ekinywa eky'ebibereberye eri kabona;
11. naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, kiryoke kikkirizibwe.
12. Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema, ogutannaweza mwaka okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
14. Temulyanga ku mugaati, wadde ku ŋaano ensiike, oba ey'ebirimba ebibisi, okutuusa nga mumaze okuleeta ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe; eryo ly'etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna, mu nnyumba zammwe zonna.”
15. “Munaabalanga wiiki musanvu enzijuvu okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti gye muleteddeko ekinywa kyammwe eky'eŋŋaano okukiwaayo eri Mukama.
32. Lunaabanga gye muli Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako, nammwe muneebonerezanga nga musiiba, okuva akawungeezi ku lunaku olw'omwenda okutuusa akawungeezi ku lunaku oluddirira, munaakuumanga Ssabbiiti yammwe.”
33. Mukama n'agamba Musa nti,
34. “Gamba abaana ba Isiraeri nti ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira eri Mukama okumala ennaku musanvu.
35. Ku lunaku olwolubereberye ku zo wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna.
36. Ku buli lumu ku nnaku ezo omusanvu, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; era ne ku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. Kwe kukuŋŋaana okukulu; temulukolerangako mulimu gwonna.”
37. “Ezo ze nnaku enkulu ez'embaga eza Mukama z'abalagidde. Munaalangiriranga okukuŋŋaana okutukuvu ne muwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, buli kimu ku lunaku lwakyo.
38. Embaga ezo zeyongedde ku Ssabbiiti za Mukama eza bulijjo, era n'ebiweebwayo ebyo byeyongedde ku bya bulijjo bye muwaayo eri Mukama okutuukiriza obweyamo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde.”
39. “Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ennimiro zammwe, munaakuumanga embaga ya Mukama okumala ennaku musanvu. Ku lunnaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okw'okwewombeeka.
40. Era ku lunaku olwolubereberye munaatwalanga ebibala by'emiti egisinga obulungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti ag'ebikoola ebiziyivu, n'emiti egy'oku migga; munaasanyukiranga ennaku musanvu, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
41. Buli mwaka, mu mwezi ogw'omusanvu munaakuumanga embaga ya Mukama eno, okumala ennaku musanvu. Lino lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
42. Abaisiraeri bonna banaabeeranga mu nsiisira okumala ennaku musanvu,
43. bazzukulu bammwe bonna balyoke bamanye nti bajjajjaabwe bwe baali bava mu nsi ey'e Misiri, nnababeezanga mu nsiisira: Nze Mukama Katonda wammwe.”
44. Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga Mukama ze yalagira.
1. Mukama n'agamba Musa nti,
2. “Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi agakenenuddwa mu muzeyituuni ag'okuteekanga mu ttaala, eyakenga bulijjo obutazikira.
3. Buli kawungeezi, Alooni anaagirongoserezanga wabweru w'olutimbe oluli mu maaso g'essanduuko ey'Endagaano, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'agikoleeza n'eyaka obutazikira okutuusa enkeera ng'eri mu maaso ga Mukama.
4. Alooni anaalongoosanga ettaala eyo ng'eri ku kikondo kyayo ekya zaabu ennungi, eyakirenga mu maaso ga Mukama obutazikira.”
6. Era onoogitegekanga ku mmeeza eya zaabu ennongoose, mu maaso ga Mukama mu mbu bbiri, buli lubu nga lulimu emigaati mukaaga.
7. Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
8. Buli Ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.
9. Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu; kubanga mitukuvu nnyo gyali, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.”
10. Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe nga Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri; mutabani w'omukazi Omuisiraeri ono n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira;
11. mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya lya Mukama n'akolima; ne bamuleetera Musa. Nnyina nga ayitibwa Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani.
12. Ne bamusiba nga balinda Mukama okubategeeza eky'okumukolera.
22. Munaabanga n'etteeka limu eri munnaggwanga era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
23. Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
17. Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa awaba.
18. Oyo akweka obukyayi, aba mulimba; N'oyo awaayiriza musirusiru.
1. Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja mu nsi y'ewaabwe, ng'ali n'abayigirizwa be.
2. Awo ku ssabbiiti n'agenda mu kkuŋŋaaniro n'atandika okuyigiriza. Abantu bangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Omusajja ono bino byonna yabiyigira wa? Magezi ki ono ge yaweebwa n'eby'amagero eby'enkanidde wano by'akola?
3. Si y'ono omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? era ne bannyina tetubeera nabo kuno okwaffe?” Ne bamwesittalako.
4. Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi ye waabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.”
5. Era teyakolerayo ky'amagero kyonna, okuggyako okussa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya.
6. Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe. Awo n'agenda nga ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
7. Awo Yesu n'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atandika okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku mwoyo emibi.
8. N'abalagira obutatwala kintu kyonna gye bagenda okuggyako omuggo gwokka, si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ensimbi mu lukoba.