1. Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali bituli bisigaddemu; newakubadde nga mu biro ebyo nali nga sinnassa nzigi mu miryango
2. Awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti, “Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono.” Naye nga baalowooza okunkola obubi.
3. Ne mbatumira ababaka nga njogera nti, “Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kujja gye muli, omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nzijja eyo gye muli?”
4. Ne bantumira bwe batyo emirundi ena; ne mbaddamu bwe ntyo.
5. Awo Sanubalaati n'antumira omuddu we bw'atyo omulundi ogw'okutaano ng'alina mu mukono gwe ebbaluwa eteri nsibe;
6. omwawandiikibwa nti, “Mu mawanga mulimu ebigambo era ne Gasimu atutegeezeza nga ggwe n'Abayudaaya mwagala okujeema; kyova ozimba bbugwe, era oyagala okuba kabaka waabwe, ebigambo ebyo bwe byogera bwe bityo.
7. Era otaddewo ne bannabbi abanaabuulira abantu ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Kale nno kabaka taaleme kubuulirwa bigambo ebyo, kale nno jjangu tuteese ffembi.”
8. Awo ne mmutumira nga njogera nti, “Tewakolebwanga bigambo nga bw'oyogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe.”
9. Kubanga bonna baali baagala kututiisa nga bagamba nti, “Emikono gyabwe girifuuka minafu bave ku mulimu guleme okukolebwa.” Naye kaakano, ayi Katonda, nyweza ggwe emikono gyange.
10. Awo ne nnyingira mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya muzzukulu wa Meketaberi eyasibibwa; n'ayogera nti, “Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda mu Yeekaalu, era tuggalewo enzigi za Yeekaalu; kubanga bagenda kujja okukutta; weewaawo, mu kiro mwe banajjira okukutta.”
11. Ne njogera nti, “Omusajja eyenkana awo nga nze yandidduse? Era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu Yeekaalu okuwonya obulamu bwe? Sijja kuyingiramu.”
12. Ne ntegeera, era, laba, nga Katonda teyamutuma, naye ye yandagulako obunnabbi buno, era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde.
14. Ayi Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalaati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe byali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abandintiisizza.
15. Bwe kityo bbugwe n'aggwa okukola ku lunaku olw'abiri mu ttaano olw'omwezi Eruli, era omulimu ogwo gwakolebwa mu nnaku ataano mu bbiri.
16. Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannamawanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweeramu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo, kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe.
17. Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya ebbaluwa nnyingi, era ne Tobiya ng'abaddamu.
18. Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; era ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya.
19. Era ne boogera ku bikolwa bye ebirungi mu maaso gange, ne bamubuuliranga ne bye njogedde. Tobiya n'aweereza ebbaluwa okuntiisa.
1. Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, era ng'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi balondeddwa,
2. awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi, kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi.
3. Ne mbagamba nti, “Enzigi za Yerusaalemi teziggulwangawo ng'omusana tegunnakaalaama; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba, era mussengawo abakuumi okuva mu batuuze b'omu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, ng'ayolekera ennyumba ye.”
4. Era ekibuga kyali kigazi era kinene, naye abantu abaali omwo baali batono, nga n'ennyumba tennazimbibwa.
5. Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne nzuula ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okuva mu buwaŋŋanguse nga bawandiikiddwamu bwe bati:
6. Bano be bantu ab'essaza abaakomawo okuva mu bunyage bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, era ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
8. abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri (2,172).
9. Abaana ba Sefatiya, bisatu mu nsanvu mu babiri (372).
10. Abaana ba Ala, lukaaga mu ataano mu babiri (652).
11. Abaana ba Pakasumowaabu, ow'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na munaana (2,818).
12. Abaana ba Eramu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254).
13. Abaana ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano (845).
14. Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga (760).
15. Abaana ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana (648)
16. Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana (628).
17. Abaana ba Azugaadi, enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322).
18. Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667).
19. Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067).
20. Abaana ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano (655).
21. Abaana ba Ateri, owa Keezeekiya, kyenda mu munaana (98).
22. Abaana ba Kasumu, bisatu mu abiri mu munaana (328).
23. Abaana ba Bezayi, bisatu mu abiri mu bana (324).
24. Abaana ba Kalifu, kikumi mu kkumi na babiri (112).
25. Abaana ba Gibyoni, kyenda mu bataano (95).
26. Abasajja ab'e Besirekemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana (188).
27. Abasajja ab'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana (128).
28. Abasajja ab'e Besuwazumavesi, ana mu babiri (42).
29. Abasajja ab'e Kiriyasuyalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu (743).
30. Abasajja ab'e Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu (621).
31. Abasajja ab'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri (122).
32. Abasajja ab'e Beseri ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu (123).
33. Abasajja ab'e Nebo eky'okubiri, ataano mu babiri (52).
34. Abaana ba Eramu ow'okubiri, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254).
35. Abaana ba Kalimu, bisatu mu abiri (320).
36. Abaana ba Yeriko, bisatu mu ana mu bataano (345).
37. Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu (721).
38. Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).
39. Bakabona: abaana ba Yedaya, ow'oku nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu (973).
40. Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri (1,052).
41. Abaana ba Pasukuli, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247).
42. Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi na musanvu (1,017).
43. Abaleevi: abaana ba Yesuva ow'e Kadumyeri, ow'oku baana ba Kodeva, nsanvu mu bana (74).
44. Abayimbi: abaana ba Asafu, kikumi mu ana mu munaana (148).
45. Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana (138).
46. Abaweereza b'omu Yeekaalu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi;
47. abaana ba Keriso, abaana ba Siya, abaana ba Padoni;
48. abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi;
49. abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gekali;
50. abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda;
51. abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya;
52. abaana ba Besayi, abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefusesimu;
53. abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli;
54. abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa;
55. abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema;
56. abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.
57. Abaana b'abaddu ba Sulemaani; abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida;
58. abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi;
59. abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Amoni.
60. Abaweereza b'omu Yeekaalu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali bisatu mu kyenda mu babiri (392).
61. Era bano be baava mu bibuga: Terumeera, Terukalusa, Kerubu, Yaddoni, ne Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
62. abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri (642).
63. Ne ku bakabona waaliwo bano: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa erinnya lyabwe.
64. Abo ne banoonya we baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale bwabwe, naye ne watalabika, kye baava bababoola ne babagoba mu bwakabona.
65. Omufuzi n'abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw'aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu.
66. Ekibiina kyonna wamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360),
67. nga tobaliddeeko baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe bonna baali kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337) era baalina abasajja n'abakazi abayimbi bibiri mu ana mu bataano (245).
68. Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n'ennyumbu zaabwe bibiri mu ana mu ttaano (245),
69. eŋŋamira zaabwe zaali bina mu asatu mu ttaano (435), n'endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
70. Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eby'okukola omulimu. Omufuzi n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi (1,000), ebibya ataano (50), ebyambalo bya bakabona bitaano mu asatu (530).
71. Era abamu ku bakulu b'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu emitwalo ebiri (20,000), ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bibiri (2,200).
73. Awo bakabona, n'Abaleevi, n'abaggazi, n'abayimbi, n'abamu ku bantu aba bulijjo, n'Abaweereza b'omu Yeekaalu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu bibuga byabwe. Awo omwezi ogw'omusanvu okutuuka, nga abaana ba Isiraeri bali mu bibuga byabwe.
5. N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, Ayi Mukama; Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.
6. Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama? Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama,
7. Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu, Agwana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola?
8. Ayi Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, Ayi Mukama, Ojjudde wenna obwesigwa.
1. Awo bwe kyasalibwawo ffe tusaabale ku nnyanja okugenda e Italiya, Pawulo n'abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu, ow'ekitongole kya Augusito, erinnya lye Yuliyo.
2. Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, nga ne Alisutaluuko Omukedoni ow'e Ssessaloniika ali naffe.
3. Ku lunaku olwokubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira.
4. Ne tuvaayo ne tusaabala nga tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuli bubi.
5. Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky'e Lukiya.
6. Eyo omukulu w'ekitongole n'alabayo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kigenda Italiya, n'atusaabaza mu ekyo.
7. Twasaabala mpola olw'omuyaga omungi okumala ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone;
8. ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya.
9. Bwe waayitawo ebbanga ddene, nga n'obudde bweyongera kwonoonekera ddala, nga okusaabala ku nnyanja kyakabi, nga ne nnaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula
10. ng'abagamba nti, “Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe.”
11. Naye omukulu w'ekitongole n'agendera ku magezi g'omugoba w'ekyombo ne nnannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera.
12. Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abasinga obungi kyebaava basemba eky'okweyongerayo, oba nga kisoboka tutuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba.
13. Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete.
15. ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga.
16. Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato:
17. bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga.
18. Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olwokubiri ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo.
19. Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja.
20. Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba newakubadde emmunyeenye, gwo omuyaga nga gweyongera maanyi, era essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu.
21. Bwe baamala ekiseera ekiwanvu nga tebalidde, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti, “ Kyabagwanira, abasajja, okumpuliriza obutava mu Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n'okulumizibwa!
22. Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo.
23. Kubanga mu kiro, malayika wa Katonda wange gw'empeereza, yayimiridde we ndi,
24. ng'agamba nti, ‘Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira mu maaso ga Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe.’
25. Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye.