Bible in one year

1. Awo oluvannyuma lw'ebyo Nakasi kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2. Dawudi n'agamba nti Nnakolera eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yankolera eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka eri Kanuni okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza.
3. Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, n'okutuma n'akutumira okukubagiza? Abaddu be tebazze kwetegereza n'okuketta ensi balyoke bagiwambe?
4. Awo Kanuni n'akwata abaddu ba Dawudi, n'abamwako ebirevu, n'asalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku butuuliro bwabwe, n'abasiibula.
5. Awo abamu ne bagenda ne babuulira Dawudi bye babakoze abasajja abo. N'atumya okubasisinkana kubanga bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'abagamba nti Mubeere e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula ne mulyoka mukomawo.
6. Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga banyiziiza Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi (1,000) okupangisa amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba.
7. Awo ne bapangisa amagaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000), ne kabaka w'e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana.
8. Awo Dawudi bwe yakiwulira n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
9. Abamoni ne bafuluma, ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu, ate bakabaka abajja, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
10. Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Isiraeri abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasuuli.
11. N'abantu abalala bonna n'abakwasa Abisaayi muganda we, ne beeteekateeka okulwanyisa abaana ba Amoni.
12. N'agamba nti Abasuuli bwe banansinga amaanyi, onojja n'onnyamba naye abaana ba Amoni bwe banaakusinga amaanyi, kale nze najja nnenkuyamba.
13. Guma omwoyo tulwane masajja ku lw'abantu baffe ne ku lw'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.
14. Awo Yowaabu n'abalwanyi be yali nabo ne basembera okulwanyisa Abasuuli, Abasuuli ne badduka okuva mu maaso gaabwe.
15. Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, nabo bwe batyo ne badduka mu maaso ga Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi.
16. Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa aba Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe.
17. Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna n'asomoka Yoludaani, n'abatuukako n'asimba ennyiriri okulwana nabo. Awo Dawudi bwe yamala okusimba ennyiriri okulwana n'Abasuuli, ne balwana naye.
18. Abasuuli ne bawangulwa aba Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja abavuzi b'amagaali kasanvu (7,000), n'abatambuza ebigere emitwalo ena (40,000), n'atta Sofaki omukulu w'eggye.
19. Awo abaddu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isiraeri, ne batabagana ne Dawudi, ne bafuuka baddu, olwo Abasuuli ne batakkiriza kuddayo kuyamba baana ba Amoni lwa kubiri.
1. Awo olwatuuka, mu kiseera ky'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'akulembera eggye ery'amaanyi, n'azinda ensi y'abaana ba Amoni, n'azingiza ekibuga Labba. Kyokka kabaka Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akizikiriza.
2. Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: ne banyaga omunyago mungi nnyo mu kibuga.
3. Abantu abaali omwo n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa: emisumeeno, ensuuluulu, n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola abantu mu bibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.
4. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri wakati w'Abaisiraeri n'Abafirisuuti: Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu liri eriwagguufu: Abafirisuuti ne bawangulwa.
5. Ne waba nate entalo n'Abafirisuuti; Erukanani mutabani wa Yayiri n'atta Lakami muganda wa Goliyaasi Omugitti, olunyago olw'effumu lye lwali lwenkana ng'omuti ogulukirwako engoye.
6. Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, nga engalo ze n'obugere bwe bwali abiri mu buna (24), buli mukono kwaliko engalo mukaaga (6), na buli kigere kwaliko obugere mukaaga (6) era naye yazaalirwa erintu eryo.
7. Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'amutta.
8. Abo bonna abaazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne battibwa Dawudi n'abaddu be.
26. N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu; Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiikaddyo.
27. Era n'abatonnyeseza ennyama ennyingi ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja.
28. N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29. Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba.
30. Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe,
31. Obusungu bwa Katonda ne bubabuubuukirako, N'abattamu abasajja abasinga amaanyi, N'azikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32. Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne beeyongera okwonoona; Newakubadde nga yabakolera eby'amagero, tebakkiriza.
33. Kyeyava afuula ennaku zaabwe obutaliimu, N'emyaka gyabwe okuba egy'entiisa.
27. Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami n'ova mu kumanya.
28. Omujulirwa ow'obulimba anyooma obwenkanya, N'abantu ababi, bawoomerwa okukola ebibi.
29. Abanyoomi tebaliremwa kusingibwa musango; N'abasiru tebaliremwa kubonerezebwa.
26. Awo malayika wa Mukama n'agamba Firipo nti, “ Golokoka, ogende obukiikaddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza.” Ekkubo eryo lya ddungu.
27. N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza,
28. yali atudde mu ggaali ye ng'addayo ewaabwe, ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya.
29. Omwoyo n'agamba Firipo nti, “Sembera, weegatte n'eggaali eyo.”
30. Firipo n'adduka n'atuuka ku ggaali, n'amuwulira Omuwesiyopya ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'agamba nti, “Otegeera by'osoma?”
31. N'amuddamu nti, “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo andagirira?” Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye.
32. Ekyawandiikibwa kye yali asoma kyali kigamba nti, Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga, Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika, Bwe kityo teyayasamya kamwa ke:
33. Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo: Ekika kye ani alikinnyonnyola? Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi.
34. Omulaawe n'abuuza Firipo nti, “ Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Yeeyogerako yekka oba ayogera ku muntu mulala?”
35. Firipo n'ayasama akamwa ke n'asookera ku kyawandiikibwa kino n'amubuulira Yesu.
36. Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti, “ Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?” [
37. Firipo n'agamba nti, Oba ng'okkirizza n'omutima gwo gwonna, kirungi. N'addamu n'agamba nti, Nzikkirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.]
38. N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi, Firipo n'amubatiza.
39. Bwe baava mu mazzi, Omwoyo wa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba nate, naye n'agenda ng'asanyuka.
40. Naye Firipo n'alabikira mu Azoto, n'agenda ng'abuulira Enjiri mu bibuga byonna okutuukira ddala e Kayisaliya.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.