Bible in one year

1. “Mukama Katonda wammwe bw'alizikiriza amawanga agali mu nsi gy'abawa okuba obutaka, ne mutuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe.
2. Mulyerondera ebibuga bisatu mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okutuulamu.
3. Ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka muligigabanyamu ebitundu bisatu, buli kimu nga kirimu ekibuga eby'obuddukiro, era mulyerimira enguudo ezituuka mu bibuga ebyo. Buli atta omuntu nga tagenderedde addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo.
4. Oyo anattanga omuntu nga tagenderedde, so nga gw'asse tabadde mulabe we, annaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe.
5. Ekyokulabirako, singa omuntu agenda ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe.
6. Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandibadde luwanvu nnyo okukituuka mu, oyo awooleera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandittiddwa kubanga gwe yatta teyali mulabe we.
7. Kyenva mbalagira mwerondere ebibuga bisatu.
8. Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yalayirira bajjajjammwe, n'abawa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjammwe;
9. bwemuneekuumanga ebiragiro bino byonna okubikola, bye mbalagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu.
10. Mulikola bwe mutyo, abantu abataliiko musango baleme kuttirwa mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, nammwe ne mubaako omusango.
11. Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amufumita, n'amutta; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo;
12. kale abakadde b'ekibuga kye, banaamutumyanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo eri oyo awooleera eggwanga, n'attibwa.
13. Temumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo, mulyoke mulabenga ebirungi.”
14. “Bwe mulituuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temujjululanga bulambe obwa nsalo za baliraanwa bammwe, ab'edda ze baatekawo.”
15. “Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu.
16. Omujulirwa ow'obulimba bw'anaawayirizanga munne okumusingisa omusango,
17. abantu bombi abatakkaanya banaagendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne balamulwa bakabona n'abalamuzi abanaabeerangawo mu kiseera ekyo,
18. kale abalamuzi banaakemerezanga nnyo: era, bwe banaazuulanga ng'omujulizi mulimba, ng'awaayirizza munne;
19. banaamuwanga ekibonerezo ky'abadde ayagaliza munne. Bwe mutyo bwe munneggyangako ekibi ekyo.
20. Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya ne batakola kibi ng'ekyo mu mmwe. N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo.
21. So temukwatibwanga kisa; obulamu busasulwenga obulamu, eriiso lisasulwenga eriiso, erinnyo lisasulwenga erinnyo, omukono gusasulwenga omukono, n'ekigere kisasulwenga ekigere.”
1. “Bwemunatabaalanga okulwana n'abalabe bammwe, ne mulaba embalaasi n'amagaali n'eggye erisinga eryammwe obunene temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey'e Misiri ali wamu nammwe.
2. Bwe munaabanga mugenda mu lutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu,
3. n'abagamba nti, Wulira ggwe Isiraeri, leero mugenda mu lutalo okulwana n'abalabe bammwe; muleme kuddirira wadde okutya, temukankana so temubatekemukira;
4. kubanga Mukama Katonda wammwe ye agenda nammwe, okubalwanirira n'okubalokola eri abalabe bammwe.
5. Abakulu mu ggye banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti, ‘ Wano waliwo omuntu eyazimba ennyumba empya naye nga tannagiwonga eri Mukama?’ Omuntu oyo addeyo eka agiwonge, si kulwa ng'afiira mu lutalo omuntu omulala n'agiwonga.
6. Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? Addeyo eka alye ku bibala, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'abirya.
7. Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? Addeyo eka amuwase, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa.
8. Abakulu baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti, Muntu ki wano atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwamu omutima nga ye.
9. Kale abakulu mu ggye bwe banaamalanga okwogera n'abalwanyi, banassangawo abaduumizi mu ggye okukulembera abalwanyi.”
10. “Bwe munaasembereranga ekibuga okukirwanyisa, munaasokanga ne muwa abakirimu omukisa okujeemulukuka.
11. Awo abali mu kibuga ekyo bwe banaajeemulukukanga, ne beewaayo gye muli, ne babaggulirawo, banaabanga baddu bammwe era banaabaweerezanga.
12. Naye bwe batakkirizenga kwewaayo mu mirembe ne basalawo okulwana, ekibuga ekyo munaakirwanyisanga.
13. Era Mukama Katonda wammwe bw'anaakigabulanga gye muli, munattanga buli musajja akirimu n'obwogi bw'ekitala.
14. Naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, binaabanga munyago gwammwe, munaabyetwaliranga ne mubikozesa, kubanga Mukama Katonda wammwe abibawadde.
15. Bwe mutyo bwe munaakolanga ebibuga byonna ebibali ewala ennyo, ebitali bya mu nsi gye mugenda okutuulamu.
16. Naye ku bibuga by'abantu ebiri mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka; temuwonyangawo kintu kyonna ekissa omukka.
17. Naye munaazikiririzanga ddala; Abakiiti, Abamoli, Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, ne Abayebusi; nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira;
18. balemenga okubayigiriza okukola emizizo gyabwe gyonna gye baakoleranga bakatonda baabwe; bwe mutyo muleme okunyiiza Mukama Katonda wammwe.
19. Bwe munaazingizanga ekibuga okumala ennaku ennyingi nga mulwana nakyo okukinyaga, temutemanga miti gya bibala, kubanga muyinza okugiryako, gyo si be balabe bammwe.
20. Emiti egyo gyokka egitaliibwako bibala, gye munaatemanga olw'okuzimbisa bye mwetaaga okulwanyisa ekibuga, okutuusa lwe munaakiwambanga.”
1. Ayi Mukama, tonnenya mu busungu bwo, Tombonereza ng'okambuwadde.
2. Onfumise n'obusaale bwo, Onkubye ne ngwa wansi.
3. Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; Omubiri gwange gwonna gulwadde olw'ebibi byange.
4. Nzitoowereddwa ebibi byange, Biri ng'omugugu omuzito ennyo.
5. Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange.
6. Nfunyiddwa ne ngalamizibwa wansi, Nkaaba obudde okuziba.
7. Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange.
8. Nnyongobedde, mmenyesemenyese, Nsinda olw'obuyinike obuli mu mutima gwange.
23. Omuntu omutegeevu akisa bya manyi; Naye omusiru, alangirira obutamanya bwe.
24. Okunyiikira okukola, kukufuula wa buyinza; Naye omugayaavu akozesebwa omulimu ogw'obuddu.
25. Ennaku y'oku mutima, ereeta okwennyamira; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.
31. Awo Yesu n'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti:
32. ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe, kubanga ekigambo kye kyalina obuyinza.
33. Awo mu kkuŋŋaaniro mwalimu omuntu eyaliko dayimooni; n'akaaba n'eddoboozi ddene nti,
34. “Woowe, Otuvunaana ki ggwe, Yesu Omunazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nkumanyi ggwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda.”
35. Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “ Sirika, muveeko.” Dayimooni bwe yamusuula wakati waabwe n'amuvaako nga tamukoze kabi.
36. Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Kigambo ki kino? Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bava ku bantu!”
37. Ettutumu lye ne libuna mu buli kifo eky'ensi eriraanyeewo.
38. Awo Yesu n'asituka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe amuwonye.
39. Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako: amangwago n'agolokoka n'abaweereza.
40. Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, Yesu n'akwata ku buli mulwadde, n'abawonya.
41. Ne badayimooni ne bava ku bantu bangi, ne bakaaba nga bagamba nti, “ Ggwe oli Mwana wa Katonda.” N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga ye Kristo.
42. Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo eteri bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, era ne baagala okumuziyiza aleme okubavaako.
43. Naye n'abagamba nti, “ Kiŋŋwanidde okubuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga ekyo kye kyantumya.”
44. Awo n'abuuliranga mu makuŋŋaaniro g'e Ggaliraaya.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.