1. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atandika okufuga Yuda.
2. Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
3. Abiyaamu nnakola ebibi byonna nga kitaawe bye yakola. Omutima gwe ne gutanywerera ku Mukama Katonda we ng'omutima gwa jjajjaawe Dawudi nga bwe gwali.
4. Wabula ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n'amuwa omwana ow'obulenzi okumusikira ku ntebe ey'obwakabaka mu Yerusaalemi, n'okukuuma Yerusaalemi nga kiri mirembe.
5. kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe okujjako mu kigambo kya Uliya Omukiiti.
6. Mu mulembe gwa Abiyaamu gwonna, waabangawo entalo ezaatandikawo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.
7. N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omumirembe gya bassekabaka ba Yuda. Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu.
8. Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye.
9. Awo mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Asa n'atandika okufuga Yuda.
10. Asa n'afugira emyaka ana mu gumu (41) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
11. Asa n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
13. Era ne Maaka nnyina n'amugoba ku bwa nnamasole: n'atemaatema ekifaananyi kya Asera kye yakola n'akyokera ku kagga Kidulooni.
14. Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna.
15. N'ateeka mu nnyumba ya Mukama ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu ye yennyini bye yawonga, effeeza n'ezaabu, n'ebintu ebirala.
16. Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna ze bafugiramu.
17. Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'awamba ekibuga Laama naakizimbako ekigo waleme kubeerawo muntu asobola kuva mu Yuda wadde okugendayo okutuuka ku Asa, kabaka waayo.
18. Awo kabaka Asa n'ajjayo zaabu n'effeeza n'eby'obugagga ebyali bisigadde mu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa abaddu be babitwalire Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
19. Tukole endagaano ey'okukolaganira awamu, nga bakitaffe gye baakola. Laba nkuweerezza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano yo ey'enkolagana ne Baasa, kabaka wa Isiraeri alyoke aggye amagye ge mu nsi yange.
20. Awo Benikadadi n'akkiriza ebigambo bya kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'awamba ebibuga Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali.
21. Baasa n'alekerawo okuzimba ekigo ku kibuga Laama n'agenda n'abeeranga e Tiruza.
22. Awo kabaka Asa n'akuŋŋaanya aba Yuda bonna awatali kulekayo n'omu, ne baggyawo amayinja n'emiti kabaka Baasa by'eyazimbisa ekibuga Laama, Asa n'abizimbisa ebibuga Geba ekya Benyamini ne Mizupa.
23. Ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere.
24. Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25. Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atandika okufuga Isiraeri mu mwaka ogwokubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
26. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kyonoono kye kye yayonoonyesa Isiraeri.
27. Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'akolera Nadabu olukwe n'amuttira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti Nadabu n'aba Isiraeri kye baali bazingizizza.
28. Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mwe yattira Nadabu, ye n'afuga mu kifo kye.
29. Awo Baasa olw'amala okufuuka kabaka, n'atta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna, n'abazikiririza ddala obutalekaawo n'omu nga mulamu, nga Mukama bwe yayogera ng'ayita mu muddu we Akiya Omusiiro.
30. Olw'ebibi Yerobowaamu bye yakola ne bireetera Isiraeri okwonoona, era ne bisunguwaza Mukama, Katonda wa Isiraeri.
31. Ebikolwa ebirala byonna ebya Nadabu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
32. Wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zonna ze baafugiramu.
33. Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka abiri mu ena (24).
34. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kweyayonoonyesa Isiraeri.
1. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera nti
2. Nnakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n'oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe;
3. laba, ndiggirawo ddala Baasa n'ennyumba ye: era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati.
4. Ow'omu nnyumba ya Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga.
5. Ebikolwa ebirala byonna ebya Baasa ne bye yakola n'amaanyi ge byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
6. Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa e Tiruza: Era mutabani we n'afuga mu kifo kye.
7. Ekigambo kya Mukama nate ne kijjira nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Yeeku ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'olw'emirimu gy'emikono gye ng'afaanana n'ennyumba ya Yerobowaamu gye yazikiriza.
8. Mu mwaka ogw'abiri mu mukaaga (26) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n'atandika okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri.
9. Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amusalira olukwe: era yali Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali ssaabakaaki mu Tiruza:
10. Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n'afuga mu kifo kye.
11. Awo olwatuuka Zimuli bwe yatandika okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, n'atta ab'omu nnyumba ya Baasa bonna, n'atamulekerawo mwana yenna wa bulenzi ava munda ye oba owa mikwano gye.
12. Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa nga ayita mu nnabbi Yeeku,
13. olw'ebibi byonna ebya Baasa, n'ebibi bya Era mutabani we bye bayonoona era bye bayonoonyesa Isiraeri, ne basunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri.
14. Ebikolwa ebirala byonna ebya Era ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
15. Mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afuga Isiraeri e Tiruza okumala ennaku musanvu zokka. Aba Isiraeri baali basiisidde okulwanyisa ekibuga Gibbesoni eky'Abafirisuuti.
16. Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nti Zimuli asaze olukwe era asse kabaka ku lunaku olwo lwennyini nga bali mu lusiisira kye baava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri.
17. Omuli n'ava e Gibbesoni n'eggye lyonna erya Isiraeri ne bazingiza Tiruza.
18. Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, n'alukumako omuliro ne yeeyokeramu, n'afa,
19. olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri.
20. Ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
21. Awo abantu ba Isiraeri ne beetemamu ebibiina bibiri: ekibiina ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okubeera kabaka; n'ekibiina ekirala nga kiwagira Omuli.
22. Abo abaawagira Omuli ne basinga obungi abo abaawagira Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka.
23. Mu mwaka ogw'asatu mu gumu (31) ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atandika okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri (12), yafugira emyaka mukaaga e Tiruza.
25. Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'ayonoona okusinga bonna abaamusooka.
26. Yakolera ddala nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri, olw'ebibi ebibye bye yakola, era naaleetera Abaisiraeri okwonoona nga basinza ebifaananyi.
27. Ebikolwa ebirala byonna ebya Omuli bye yakola n'amaanyi ge ge yalaga byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
28. Awo Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya: Akabu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
29. Awo mu mwaka ogw'asatu mu munaana (38) ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atandika okufuga Isiraeri; Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka abiri mu ebiri (22).
30. Akabu mutabani wa Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi okusinga bonna abaamusooka.
31. Akabu eky'okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati teyakitya, naye n'agattako n'okuwasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, okwo n'ayongerako okusinza n'okuweereza Baali.
32. N'azimbira Baali essabo mu Samaliya, n'amuzimbiramu ekyoto.
33. Era Akabu n'akola ekifaananyi kya Aseeri katonda omukazi; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka.
34. Mu mulembe gwe, Kyeri ow'e Beseri n'azimba buggya ekibuga Yeriko. Bwe yali ateekawo omusingi, n'afiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yali awangamu enzigi zaakyo, n'afiirwa Segubi mutabani we omuggalanda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Yoswa mutabani wa Nuuni.
22. Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gyebali; Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego.