Bible in one year

1. Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali naye, n'amugulumiza nnyo.
2. Sulemaani n'ayogera na ba Isiraeri bonna: abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abalamuzi na buli mukulembeze mu Isiraeri yenna, na bakulu be nnyumba za bajjajjaabwe.
3. Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna ekyo ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakolera mu ddungu.
4. Naye essanduuko ya Katonda yali mu Yerusaalemi ng'eteekedwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya e Kiriyasuyalimu kubanga yali agisimbidde eweema e Yerusaalemi.
5. Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleeri, mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama, n'ekibiina kyonna n'ekigendanga gye kiri.
6. Sulemaani n'agenda eri ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga weema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7. Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, mu kirooto n'amugamba nti, “Saba kye mba nkuwa.”
8. Sulemaani n'agamba Katonda nti, “Olazze Dawudi kitange ekisa kingi, bwonfudde kabaka mu kifo kye.
9. Kale, ayi Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abali ng'enfuufu ey'oku nsi obungi.
10. N'olwekyo mpa nno amagezi n'okumanya, nsobole okukulemberanga abantu bano bonna: kubanga ani ayinza okufuga abantu bo bano abenkanidde awo obungi?”
11. Katonda n'agamba Sulemaani nti, “Ekyo kyosabye kirungi, so towesaabidde bugagga oba ebintu, wadde ekitiibwa, newakubadde okuzikiriza abo abakukyawa, so towesabidde kuwangaala, naye weesabidde amagezi n'okumanya, osobolenga okufuga abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe,
12. amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa ebitabanga n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba n'oluvannyuma lwo mulala aliba nabyo.”
13. Awo Sulemaani n'ava e Gibyoni, awali Weema ey'okusisinkanirangamu, n'akomawo mu Yerusaalemi, n'afugira eyo Isiraeri.
14. Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi, n'aba n'amagaali lukumi mu bina (1,400) n'abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), n'abateeka mu bibuga eby'amagaali ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.
15. Mu biseera bye ffeeza ne zaabu byayala mu Yerusaalemi ne biba bingi ng'amayinja obungi. N'emivule ne giba mingi ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi.
16. Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri ne Kulikiya. Abasuubuzi bakabaka baazigulanga Kulikiya ng'ebbeeyi yaazo bwe yabanga.
17. Amagaali baagaggyanga mu Misiri nga buli kigaali kigula sekeri lukaaga (600) eza ffeeza, ate embalaasi ng'egula sekeri kikumi mu ataano (150) eza ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga ne baziguza bakabaka b'Abakiiti n'Abasuuli.
1. Awo Sulemaani n'ateekateeka okuzimbira Mukama ennyumba, ate naye okwezimbira olubiri.
2. Sulemaani n'alonda abasajja emitwalo musanvu (70,000) ab'okwetikkanga eby'okuzimbisa, n'abasajja emitwalo munaana (80,000) ab'okwasanga amayinja ku nsozi, n'abasajja enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) okulabiriranga omulimu.
3. Sulemaani n'aweereza Kulamu kabaka w'e Ttuulo obubaka buno nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange n'omuweereza emivule okwezimbira ennyumba okubeera omwo, bw'otyo bw'oba okola nange.
4. Kaakano nteekateeka okuzimbira Mukama Katonda wange ennyumba, era n'okugiwonga eri ye, olw'okwoterezayo obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'okuweerayo emigaati egya buli kiseera, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ne ku Ssabbiiti ne ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi ne ku mbaga endala ezaateekebwawo Mukama Katonda waffe, nga bwe yalagira Isiraeri okukolanga emirembe gyonna.
5. N'ennyumba gye nteekateeka okuzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna.
6. Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga n'eggulu lyennyini erya waggulu taligyamu? Nze nno nze ani okumuzimbira ennyumba ey'okwoterezamu obubaane mu maaso ge?
7. Kale nno, mpeereza omusajja omumanyirivu asobola okuweesa ebya zaabu, ne bya ffeeza n'eby'ekikomo n'eby'ekyuma, ate era asobola okuluka engoye ez'effulungu, n'entwakaavu, ne za kaniki, ate amanyi okusala amayinja ag'enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
8. Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abasajja bange banaakolera wamu n'ababo,
9. okunteekerateekera emiti emingi: kubanga ennyumba gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba nnene ddala.
10. Nja kuwa basajja bo abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule emitwalo ebiri (20,000) n'ebigero ebya sayiri emitwalo ebiri (20,000), n'ebita eby'omwenge gw'emizabbibu emitwalo ebiri (20,000) n'ebita eby'amafuta ag'Omuzeyituuni emitwalo ebiri (20,000).”
11. Awo Kulamu kabaka w'e Ttuulo n'awandiikira Sulemaani ebbaluwa emuddamu ng'egamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.
12. Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, alina amagezi n'okumanya, ateeseteese okuzimbira Mukama ennyumba, n'okwezimbira olubiri.
13. Kale Kaakano nno nkuweereza omusajja omumanyirivu ayitibwa Kulamu.
14. Nnyina y'omu ku bazzukulu ba Ddaani, ne kitaawe yali mutuuze w'e Ttuulo. Mumanyirivu mu kukola omulimu ogwa zaabu, ogwa ffeeza, ogw'ebikomo, ogw'ebyuma, ogw'amayinja, ogw'emiti, ogw'engoye ez'effulungu, eza kaniki, eza bafuta ennungi ne z'engoye entwakaavu. Era mumanyirivu mu kwola enjola ez'engeri zonna, era asobola okuyiiya engeri yonna ku kintu kyonna ekimuweereddwa okukola. Mukuweereza akolere wamu n'abasajja bo ab'amagezi era n'abo aba mukama wange, Dawudi kitaawo.
15. Kale nno, tuweereze eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye wasuubiza.
16. Naffe tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunagiseeyeereza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe eyo gyoligiggya okugitwala e Yerusaalemi.”
17. Awo Sulemaani n'abala bannamawanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri, nga ne Dawudi kitaawe bwe yababala: omuwendo gwabwe bonna baali emitwalo kkumi n'etaano mu enkumi ssatu mu lukaaga (153,600).
18. N'alonda kubo abantu emitwalo musanvu (70,000) okuba abeetissi be by'okuzimbisa, n'abalala emitwalo munaana (80,000) okwasanga amayinja ku nsozi, ate enkumi ssatu mu lukaaga (3,600) n'abateekawo okulabiriranga abaakolanga emirimu.
1. Ayi Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye Yeekaalu yo entukuvu; Yerusaalemi bakirese matongo.
2. Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi.
3. Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi; Ne wataba muntu wa kubaziika.
4. Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde.
8. Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Apima n'azuula ekirungi n'ekibi.
9. Ani ayinza okwogera nti, “Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu, sirina kibi kyonna?”
1. Abatume n'ab'oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira nga ab'amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda.
2. Awo Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemi, bali abakomole ne bawakana naye
3. nga bagamba nti, “Lwaki wagenda mu bantu abatali bakomole n'olya nabo?”
4. Awo Peetero n'atandika okubannyonnyola kinnakimu ng'agamba nti,
5. “Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku nsonda nnya okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira:
6. bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'ebyewalula n'ennyonyi ez'omu bbanga.
7. Era ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘ Peetero, yimirira osale olye.’
8. Naye ne ŋŋamba nti, ‘ Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekitali kirongoofu tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.’
9. Naye eddoboozi ne linziramu omulundi ogwokubiri nga liva mu ggulu nti, ‘ Katonda kyalongooseza tokifuulanga ggwe kya muzizo.’
10. Ne kiba bwe kityo emirundi esatu; byonna ne birinnyisibwa nate mu ggulu.
11. Kale, laba, amangwago abantu basatu baali nga bayimiridde mu maaso g'ennyumba mwe twali, abaatumibwa gye ndi okuva e Kayisaliya.
12. Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli;
13. n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti, ‘ Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye eryokubiri Peetero;
14. alikubuulira ebigambo ebirikulokola ggwe n'ennyumba yo yonna.’
15. Bwe nnali kye njije ntandike okwogera, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako era nga bwe yasookera ku ffe.
16. Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti, ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu.’
17. Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?”
18. Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “ Kale Katonda awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.”
19. N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka.
20. Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu.
21. N'omukono gwa Mukama waffe gwali nabo: ekibiina kinene eky'abakkiriza ne bakyukira Mukama waffe.
22. Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekkanisa eyali mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya:
23. naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti, “ Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe.”
24. Kubanga yali muntu mulungi, n'ajjula Omwoyo Omutukuvu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waffe.
25. N'avaayo okugenda e Taluso okunoonya Sawulo,
26. bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.
27. Mu nnaku ezo bannabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyokiya.
28. N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo.
29. Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yalina ebintu, ne bateesa okuweereza ab'oluganda abaali batuula e Buyudaaya:
30. n'okukola ne bakola bwe batyo ne baweereza abakadde mu mukono gwa Balunabba ne Sawulo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.