Bible in one year

1. Ani ali ng'omuntu omugezigezi? Era ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa.
2. Nkukuutira ebigambo bino, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw'otyo olw'ekirayiro kya Katonda.
3. Toyanguyirizanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibi; kubanga akola buli ky'ayagala.
4. Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti, “Okola ki?”
5. Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'omuntu omugezigezi gumanya ekiseera n'okuteesa.
6. Kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo.
7. Kubanga tamanyi ekiribaawo, kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?
8. Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa, so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera.
9. Ebyo byonna nnabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba, wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi.
10. Era nate nnalaba ababi nga babaziika mu ntaana; so nga bagendanga emirundi mingi era bava mu kifo ekitukuvu, baatenderezebwanga mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga obubi; baziikibwa mu kitiibwa naye ne beerabirwa mu kibuga, era n'ekyo butaliimu.
11. Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu gweyongerera ddala mu bo okukola obubi.
12. Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kikumi (100) n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda, banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge;
13. naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nnyingi eziri ng'ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso Katonda.
14. Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'ababi; naye era waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'abatuukirivu. Ne njogera nti n'ekyo butaliimu.
15. Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga; kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.
16. Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi, nnazuula nti waliwo abantu abaatafuna tulo mu maaso gabwe emisana n'ekiro.
17. Awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda, omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba. Kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba.
1. Kubanga ebyo byonna n'abiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda; oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi, byonna ebiri mu maaso gaabwe butaliimu.
2. Olw'okubanga byonna byenkana ebijjira bonna, waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri atali mulungi, eri omulongoofu n'atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka. Nga omulungi bw'ali, n'alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro.
3. Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna; weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu bonna gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu.
4. Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu, oyo aba n'essuubi, kubanga era n'embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi.
5. Kubanga abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi, era tebakyalinayo mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.
6. Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'obuggya bwabwe byonna bizikiridde, so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba.
7. Genda, olyenga emmere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omutima ogujaguza; kubanga Katonda amaze okukkiriza emirimu gyo.
8. Ebyambalo byo bitukulenga ennaku zonna; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta.
9. Beeranga n'omukazi gw'oyagala n'essanyu ennaku zonna ez'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwadde wansi w'enjuba, ennaku zo zonna ezitaliimu; kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu, ne mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'enjuba.
10. Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda.
11. Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba nga ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo.
12. Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye. Nga ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde.
13. Era nnalaba amagezi wansi w'enjuba bwe ntyo, ne gafaanana nga mangi gye ndi.
14. Waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo nga si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako enkomera ennene.
15. Awo ne walabika mu kibuga omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu.
16. Kale ne njogera nti, Amagezi gasinga amaanyi obulungi, era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.
17. Ebigambo eby'abagezigezi ebyogerwa akasirise babiwulira okusinga okuleekaana kw'oyo afugira mu basirusiru.
18. Amagezi gasinga eby'okulwanyisa, naye alina ebibi omu azikiriza ebirungi bingi.
1. Ensowera enfu ziwunyisa ekivundu amafuta ag'omugavu ag'omufumbi wa kalifuwa; bwe kityo n'obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa.
2. Omutima gw'omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo; naye omutima gw'omusirusiru guba ku mukono gwe ogwa kkono.
3. Era, weewaawo, omusirusiru ne bw'aba nga atambulira mu kkubo, okutegeera kwe ne kumuggwako, n'agamba buli muntu nga bwali omusirusiru.
4. Omukulu akufuga bw'akusunguwaliranga, tovanga mu kifo kyo; kubanga okumenyeka kukkakkanya okunyiiga okungi.
5. Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, kwe kusobya okuva eri omukulu;
6. obusirusiru nga butuuzibwa awali ekitiibwa ekinene, abagagga ne batuula mu kifo ekya wansi.
7. Nnalaba abaddu nga beebagadde embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaddu ku ttaka.
8. Asima obunnya alibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimubojja.
9. Buli asimula amayinja galimusala; n'oyo ayasa enku zirimuleetera akabi.
10. Ekyuma bwe kikoŋŋontera, n'olema okuwagala omumwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera amaanyi ng'okikozesa; naye amagezi gasobozesa omuntu okuwangula.
11. Omusota bwe gumala okubojja, oyo aloga emisota ne gitabojja, aba takyagasa.
12. Ebigambo eby'akamwa k'omugezigezi bya kisa; naye emimwa gy'omusirusiru girimumira ye yennyini.
13. Okusooka kw'ebigambo eby'omu kamwa ke busirusiru, n'enkomerero y'okwogera kwe ddalu erireeta akabi.
14. Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo, naye omuntu tamanyi ebiribaawo; era ebiribaawo oluvannyuma lwe ani ayinza okubimubuulira?
15. Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesa bonna kinnoomu, kubanga tamanyi w'aba ayita okugenda mu kibuga.
16. Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana muto, ate abakulu bo ne balya enkya!
17. Olina omukisa, ggwe ensi, kabaka wo bw'aba nga ye mwana w'abakungu, abakulu bo ne baliira mu ntuuko olw'okufuna amaanyi so si lwa kutamiira!
18. Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono ennyumba etonnya.
19. Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu, naye effeeza eyanukulira byonna.
20. Tokolimiranga kabaka, newakubadde mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugagga mu nju yo mw'osula, kubanga ennyonyi ey'omu bbanga eritwala eddoboozi, n'ekirina ebiwaawaatiro kiribuulira ekigambo ekyo.
6. Mukama akola eby'obutuukirivu, Asala emisango mu mazima olw'abo bonna abajoogebwa.
7. Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.
8. Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi.
9. Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna.
10. Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11. Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
12. Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atuggyako ebyonoono byaffe, ne bitubeera wala.
13. Nga kitaawe wa baana bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
14. Kubanga amanyi omubiri gwaffe bwe gwakolebwa; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.
10. Bw'ozirikira ku lunaku lw'ofuniddeko ebizibu, Amaanyi go gaba matono.
11. Yamba abo abatwalibwa okuttibwa, Obawonye, baleme okutirimbulwa.
12. Bw'onooyogeranga nti, “Ekyo ssaakitegeerako.” Oyo apima ekiri mu mutima takulaba? Oyo akuuma emmeeme yo takumanyi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?
19. Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Ekiweebwa eri ekifaananyi kintu, oba ekifaananyi kintu?
20. Nedda. kye ntegeeza kye kino nti ab'amawanga bye bawaayo bawa eri baddayimooni so si eri Katonda, nange ssaagala mmwe okubeeranga abasseekimu ne baddayimooni.
21. Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya baddayimooni.
22. Tusaanye okunyiiza Mukama waffe? Ffe tumusinga amaanyi?
23. “Byonna birungi;” naye ebisaana si byonna. “ Byonna birungi,” naye ebizimba si byonna.
24. Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, afengayo ne ku bya munne.
25. Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo;
26. kubanga“ ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo.”
27. Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo.
28. Naye omuntu bw'abagambanga nti, “Kino kyaweereddwayo” okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo ababuulidde, n'olw'omwoyo,
29. bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala?
30. Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza?
31. Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.
32. Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda.
33. Era nga nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa bonna mu byonna, nga sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi, balyoke balokoke.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.