11. N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuuni nga bayimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala.
13. ne weerabira Mukama omutonzi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi?
14. Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa kukka mu bunnya, so n'emmere ye teribula.
15. Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma; Mukama ow'eggye lye linnya lye.
16. Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne ŋŋamba Sayuuni nti, “muli bantu bange.”
17. Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obusungu bwe; wanywa n'omaliramu ddala ekikompe eky'okutagatta.
18. Ku baana bonna be yazaala tekuli wa kumukulembera; so tekuli amukwata ku mukono ku baana bonna be yalera.
19. Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? Okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; ani anaakusanyusa?
20. Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; babuutikiddwa obusungu bwa Mukama, n'okunenya kwa Katonda wo.
21. Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, atamidde naye si na mwenge,
22. bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nzigye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kikompe eky'obusungu bwange; tolikinywako nate;
23. era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaabagamba nti, “ Mugwe wansi tubatambulireko,” naawe n'oteekawo omugongo gwo okuba ng'ettaka era okuba ng'oluguudo eri abo abayitako.
1. Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe,
2. bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukola kaakano mu baana abajeemu.
3. Naffe fenna abo be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala.
9. tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
10. Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.
11. Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono;
12. nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannamawanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi.
13. Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo.
14. Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula,
15. bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, obwali ku bipande eby'ebiragiro n'amateeka; alyoke atonde omuntu omuggya mu kifo kyebyo byombi, okuleeta emirembe.
16. Era alyoke atabaganye byombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo.