1. Eyalaayibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2. Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ddala ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu be abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
3. Omwamoni n'Omumowaabu tebayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:
4. kubanga baagaana okubawa emmere n'amazzi bwe mwali muli mu lugendo nga muva e Misiri era kubanga bagulirira Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya okubakolimira, tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya,
23. Ekyo kye muneeyamanga n'emimwa gyammwe nga mweyagalidde mukikuumanga ne mukituukiriza.
24. Bw'oyingira mu lusuku lwa munno, olw'emizabbibu, si kibi okulya ezabbibu n'okkuta nga bw'oyagala; naye togitwalirangako mu kintu kyonna.
25. Bw'onoogendanga mu nnimiro ya munno ey'eŋŋaano etennakungulwa, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo n'olya; naye tosalanga n'ekiwabyo eŋŋaano ya munno etennakungulwa.
1. “Omusajja bw'awasanga omukazi, n'ataganja mu maaso ge, kubanga alabye ekitali kirungi ku ye, bba anaamuwandiikiranga ebbaluwa, n'agimukwasa.
17. “Tosalirizanga, mu nnaggwanga oba mulekwa, era tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu.
18. Jjukira nga wali muddu mu misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo; kyenva nkulagira okukolanga bw'otyo.”
19. “Bw'okungulanga ebikungulwa mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, ne weerabirayo ekinywa, toddangayo kukikima; kinaabanga kya munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu. Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola.”
20. “Bw'okubanga ebibala by'emizeyituni gwo, toddangayo lwakubiri kukuba ebisigaddeko. Ebyo, binaabanga bya mu nnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu
21. Bw'okungulanga ezabbibu mu lusuku lwo toddangamu mulundi gwa kubiri; ezisigaddemu zinaabanga za mu nnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu.
22. Jjukira nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, kye nva nkulagira okukolanga bw'otyo.”
1. Nnagamba nti, “Nneekuumanga amakubo gange, Nnemenga okusobya mu bye njogera. Nnaasirikanga, Ababi nga bali nange.”
2. Nnasiruwala ne nsirika n'ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera.
3. Ne nneeraliikirira, Bwe nnalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira. Ne ndyoka ŋŋamba nti:
17. Awo olwatuuka ku lunaku olumu ku ezo, Yesu yali ng'ayigiriza; Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya.
18. Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge.
19. Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu.
21. Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okuwakana bokka n'abokka, nga bagamba nti, “ Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka?”
22. Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti, “ Muwakana ki mu mitima gyammwe?
23. Ekyangu kiruwa, okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako; oba okugamba nti Golokoka, otambule?
24. Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi.” N'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “ Nkugamba yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
33. Nabo ne bamugamba nti, “ Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo bwe bakola; naye ababo balya, era banywa.”
34. Yesu n'abagamba nti, “ Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo?
35. Naye ennaku zirijja; awo awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba mu nnaku ezo.”
36. Era n'abagerera olugero nti, “ Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola bwatyo, ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku lugoye oluggya tekifaanana na lugoye lukadde.
37. So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana.
38. Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo ez'amaliba empya.
39. So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti, ‘ Omukulu gwe mulungi.’ ”