Bible in one year

1. Nange, mu mwaka ogwolubereberye ogwa Daliyo Omumeedi, n'ayimirira okumunyweza n'okumuzzaamu amaanyi.
2. “Era kaakano nnaakutegeeza amazima. Walisitukawo bakabaka abalala basatu mu Buperusi, naye ow'okuna alibaddirira, alibasinga bonna obugagga: bw'alimala okufuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n'obwakabaka obw'e Buyonaani,
3. Awo walisitukawo kabaka ow'amaanyi alifuga n'obuyinza obungi, era alikola nga bw'ayagala.
4. Kyokka bw'alimala okwenyweza mu buyinza, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu ebitundu bina; naye tebuligabirwa zzadde lye, era tebulifugibwa n'obuyinza ye nga bwe yalina: kubanga obwakabaka bwe bulisalwasalwamu ne butwalibwa abalala abatali ba zzadde lye.
5. Ne kabaka w'obukiikaddyo aliba wa maanyi, era omu ku balangira be alifuuka wa maanyi okumusinga, alifuga obwakabaka obulisinga obubwe.
6. Nga wayiseewo emyaka, balyegatta wamu: omuwala wa kabaka w'obukiikaddyo alifumbirwa kabaka w'obukiikakkono okusobola okunyweza enkolagana yaabwe. Kyokka obufumbo bwabwe tebuliwangaala. Omumbejja oyo alittibwa awamu n'abaweereza be bonna abaliba bagenze naye, ne bba, era ne mutabani waabwe.
7. Naye omu ku b'oluganda b'omumbejja oyo, alifuuka kabaka. Alirumba eggye lya kabaka w'obukiikakkono n'aliwangula,
8. era ne bakatonda baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, alibinyaga n'addayo nabyo e Misiri. Era alimala emyaka nga tazzeemu kulumba kabaka w'obukiikakkono.
9. Nga wayiseewo emyaka, kabaka w'obukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka w'obukiikaddyo, naye aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye.
10. Batabani be balirwana, balikuŋŋaanya eggye eddene, eririyitirira, eriryanjaala, ne likuba abalabe ne libayitamu, ne lituukira ddala ku kigo kyabwe ekigumu.
11. Awo kabaka w'obukiikaddyo alisunguwala nnyo, alivaayo okulwanyisa kabaka w'obukiikakkono. Aliwangula eggye lya kabaka oyo eririba eddene ennyo.
12. Alyegulumiza olw'obuwanguzi, era alitta abantu bangi nnyo, wabula obuwanguzi bwe tebulirwawo.
13. Kabaka w'obukiikakkono alikuŋŋaanya eggye ddene erisinga lye yalina olubereberye: ekiseera kirituuka nga wayiseewo emyaka, alikomawo n'eggye lye eddene n'eby'okulwanyisa bingi.
14. Ne mu biro ebyo walibaawo bangi abalisituka okulwana ne kabaka w'obukiikaddyo. Era abantu abamu ab'ettima ab'omu ggwanga lyo, balijeema okutuukiriza ebyo byewayolesebwa, naye baliremwa.
15. Awo kabaka w'obukiikakkono alijja, n'azingiza ekibuga ekiriko ebigo ebigumu n'akiwamba. Amaggye g'ebukiikaddyo tegalisobola kumulwanyisa, newakubadde abasserikale be abazira tebaliba n'amaanyi kumulwanyisa.
16. Kabaka oyo alumbye, alikola nga bw'ayagala, tewaliba ayinza kumuziyiza. Era aliyimirira mu nsi ey'ekitiibwa, eribeera mu buyinza bwe, ng'ayinza n'okugizikiriza.
17. Kabaka w'ebukiikakkono, alitegeka okukozesa amaanyi gonna ag'obwakabaka bwe okujja okumulumba. Era alikola nga bwalyagala: era aliwa kabaka w'ebukiikaddyo omwana ow'obuwala okumuwasa. Naye n'ekyo tekirimuyamba n'akatono.
18. Oluvannyuma lw'ebyo alikyuka n'alumba ebizinga, era aliwangula bingi: kyokka omuduumizi w'eggye eririva awalala alikomya ejjoogo lye, era alimukolera ddala nga naye bweyakola abalala.
19. Kabaka oyo alikyuka n'addayo mu bigo ebigumu eby'omu nsi ye, era aliwangulwa n'ataddayo kulabikako nate.
20. Alisikirwa kabaka omulala, aliteekawo omusolooza w'omusolo mu bwakabaka bwe. Naye mu bbanga ttono alizikirizibwa, awatali luyombo wadde olutalo.
21. Ne mu kifo kye muliddamu omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby'emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw'okwegonza.
22. Era abo ne kabona omukulu akulira endagaano ya Mukama, balizikirizibwa.
23. Alirimbalimba ab'amawanga amalala ng'akola nabo endagaano, n'afuuka wa maanyi, newakubadde nga alina abantu batono.
24. Alirumba ebitundu ebisinga obugagga nga tebitegedde, era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabira abawagizi be omunyago ogw'abantu n'ogw'ebintu gw'anyaze mu lutalo. Alikola entegeka okulumba ebigo ebigumu, naye ekyo kirimala akaseera katono.
25. Alimalirira n'obuvumu, okulwanyisa kabaka w'obukiikaddyo nga alina eggye ddene. Ne kabaka w'obukiikaddyo, alitegeka eggye eddene okulwana olutalo, kyokka taliwangula, kubanga balimusalira olukwe.
26. Abo abaalya ku mmere ye, be balimuzikiriza. Abasserikale be bangi balittibwa, n'eggye lye lirisasaana.
27. Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balirimbagana nga batudde ku mmeeza emu. Naye bye balowooza tebirituukirira, kubanga ekiseera ekyateekebwawo okuba eky'enkomerero kiriba tekinnatuuka.
28. Kabaka w'ebukiikakkono, aliddayo mu nsi ye n'obugagga obungi. N'omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by'alyagala, n'alyoka addayo mu nsi ye.
29. Mu kiseera ekyategekebwa aliddayo, alirumba ensi y'ebukiikaddyo, naye ku mulundi guno tekiriba nga bwe kyali mu kusooka,
30. Kubanga ebyombo eby'e Kittimu birijja okumulumba n'atya, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by'alyagala, aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu.
31. Aliweereza abasserikale okwonoona awatukuvu, n'e kigo. Baliggyawo okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne bateekawo eky'omuzizo ekizikiriza.
32. Alikozesa ebigambo ebisendasenda, okukyamiza ddala abo abaleka endagaano. Naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n'amaanyi, baliguma ne beerwanako.
33. N'abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi, newakubadde nga baliba battibwa mu ntalo, oba mu kwokebwa omuliro, n'abalala nga banyagibwa ne basibibwa okumala ekiseera.
34. Awo bwe baligwa, balifuna n'okubeerwa okutono, naye bangi abalibeggattako baliba ba nkwe.
35. Abamu ku abo abalina amagezi balittibwa, naye ekirivaamu, abantu balirongoosebwa, n'okutukuzibwa, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero, Katonda kye yategeka, lwe kirituuka.
36. Kabaka ow'ebukiikakkono, alikola nga bw'ayagala, era alyegulumiza, alyekulumbaza nti asinga ba katonda bonna. Alyogera eby'ekitalo ebinyooma Katonda wa bakatonda, era aliraba omukisa okutuusa ekiseera eky'okubonerezebwa kwe lwe kirituuka, kubanga ekyo Katonda kye yategeka kijja kutuukirira.
37. Kabaka oyo talirowooza ku bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza ku katonda yenna: kubanga alirowooza nti ye y'abasinga bonna.
38. Naye mu kifo ky'okuwa bakatonda abo ekitiibwa, alikiwa katonda w'ebigo, bajjajjaabe gwe bataamanya. Alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo omungi, n'ebintu ebirala ebisanyusa.
39. Era alizimba ebigo ebigumu nga ayambibwa katonda we oyo omugenyi. Buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa, era alibawa okufuga abantu bangi, era aligabanya ensi okugibaguza.
40. Mu kiseera eky'enkomerero kabaka w'obukiikaddyo alimusindika, ne kabaka w'obukiikakkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng'alina amagaali, n'abeebagala embalaasi, n'ebyombo ebingi. Era alirumba ensi nnyingi, alyanjaala mu zo, n'aziyitamu ng'amazzi ag'omujjuzo, n'agenda.
41. Era alirumba ne nsi ey'ekitiibwa, n'ensi endala ziriwangulwa. Naye zino zo ziriwonyezebwa mu mukono gwe: Edomu, ne Mowaabu, n'ekitundu ekisinga obunene ekya Amoni.
42. Bw'alirumba ensi ezo zonna, n'ensi y'e Misiri teriwona.
43. Aliba n'obuyinza ku zaabu ne ffeeza, omutereke, ne ku bintu byonna eby'omuwendo omungi eby'omu Misiri. Abalibya n'Abaesiyopya balimugoberera.
44. Naye amawulire agaliva ebuvanjuba ne mu bukiikakkono galimutiisa, era alivaayo n'obusungu bungi okuzikiririza ddala abantu bangi.
45. Era alisimba eweema z'olubiri lwe wakati w'ennyanja n'olusozi olw'ekitiibwa olutukuvu, kyokka alituuka ku nkomerero ye, era tewaliba amuyamba.”
1. “Era mu kiseera ekyo Mikayiri, omulangira omukulu, omukuumi w'abantu abo alirabika. Walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu kiseera ekyo buli muntu aliba nga yawandiikibwa mu kitabo, aliwonyezebwa.
2. Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera.
3. N'abo abalina amagezi balyakaayakana ng'okumasamasa okw'omu bbanga: n'abo abaakyusa abangi eri obutuukirivu ng'emmunyeenye emirembe n'emirembe.
4. Naye ggwe, Danyeri, kuuma ebigambo bino nga bya kyama, ssa akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero. Bangi balidduuka nga badda eno n'eri, n'okumanya kulyeyongera.”
5. Awo nze Danyeri, ne ndyoka ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri.
6. N'omu ku bo n'abuuza omusajja eyali ayambadde olugoye lwa bafuta, nga ayimiridde waggulu w'amazzi g'omugga, nti, “Eby'ekitalo ebyo birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?”
7. Ne mpulira omusajja oyo eyali ayambadde bafuta, nga ayimiridde waggulu ku mazzi g'omugga, ng'agolola waggulu emikono gye gyombi, eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti, ekiseera n'ebiseera n'ekitundu kye kiseera. Bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.
8. Ne mpulira by'ayogedde, naye ne sibitegeera, ne ndyoka mubuuza nti, “Ayi Mukama wange, kiki ekiriva mu ebyo byonna?”
9. N'addamu nti, “Kwata amakubo go Danyeri ogende, kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero.
10. Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abalitukuzibwa; naye ababi balyeyongera okukola ebibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abo abalina amagezi balitegeera.
11. Era okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekizikiriza, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda (1,290).
12. Alina omukisa alindirira n'atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano (1,335).
13. Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo. Ojja kufa, naye olifuna omugabo gwo, mu kiseera eky'oluvannyuma.”
1. Nneebazanga n'omutima gwange gwonna; Mu maaso ga bakatonda nnaayimbanga okukutendereza.
2. Nnaasinzizanga eri Yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go; Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.
3. Ku lunaku lwe nnakukoowoolerako wampitaba, N'oŋŋumya mu mmeeme yange.
16. Ababi bwe baba mu buyinza, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.
1. Baana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu,
2. n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi yonna.
3. Era ku kino kwe tutegeerera nga tumutegedde, bwe tukwata ebiragiro bye.
4. Ayogera nti, “Mmutegedde,” n'atakwata biragiro bye, ye mulimba, n'amazima tegali mu oyo;
5. naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye;
6. ayogera ng'abeera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era nga ye bwe yatambula.
7. Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula ekiragiro eky'edda, kye mwalina okuva ku lubereberye; ekiragiro ekyo eky'edda kye kigambo kye mwawulira.
8. Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka.
9. Ayogera ng'ali mu musana n'akyawa muganda we, ng'akyali mu kizikiza ne kaakano.
10. Ayagala muganda we abeera mu musana, era tewali kimwesittaza.
11. Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso.
12. Mbawandiikira mmwe, abaana abato, kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olw'erinnya lye.
13. Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato kubanga mutegedde Kitaffe.
14. Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.
15. Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw'ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye.
16. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.
17. Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.
18. Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero.
19. Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe.
20. Nammwe Omutukuvu yabafukako amafuta, era mumanyi byonna.
21. Sibawandiikidde kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era kubanga tewali bulimba obuva mu mazima.
22. Omulimba ye ani, si oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana.
23. Buli muntu yenna agaana Omwana, ne Kitaffe nga tali naye; ayatula Omwana, ne Kitaffe ali naye.
24. Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.
25. Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza, obulamu obutaggwaawo.
26. Ebyo mbawandiikidde olw'ebigambo by'abo abakyamya.
27. Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa okuva gyali kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye okufuukibwako amafuta kwe, kwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye.
28. Ne kaakano, abaana abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu, era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe.
29. Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.