3. Mukama Katonda wammwe y'alibakulembera okusomoka; alizikiriza amawanga ago ne mugawangula nga mulaba, era Yoswa y'alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.
4. Era Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sikoni ne Ogi, bakabaka ba b'Abamoli, n'ensi zaabwe.
5. Abantu abo Mukama alibagabula gye muli, ne mubazikiririza ddala nga bwe nnabalagira.
6. Mubeere n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temubatekemukira; kubanga Mukama Katonda wammwe ye nnyini ye aligenda nammwe; taabalekenga so taabaabulirenga.
7. Awo Musa n'ayita Yoswa n'amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti, Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olikulembera abantu bano okugenda mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabwe okubawa; era ggwe olibasobozesa okugisikira.
8. Era Mukama yennyini abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga; totya so totekemuka.”
9. Awo Musa n'awandiika amateeka ago n'agakwasa bakabona abaana ba Leevi, abaasitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, wamu n'abakadde bonna aba Isiraeri.
10. Musa n'abalagira ng'ayogera nti, “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka eky'okusonyiwa n'okusumululiramu ku mbaga Ey'ensiisira;
11. Abaisiraeri bonna nga bazze mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, onoobasomeranga amateeka gano bagawulire.
12. Okuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bannamawanga abali mu bibuga byo, bagawulire era bagayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bagonderenga ebigambo bino byonna amateeka gano bye galagira;
13. era abaana baabwe abatannayiga mateeka, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda waabwe, ennaku zonna ze mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose Omugga Yoludaani.”
14. Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, ennaku zo ez'okufa zisembedde; yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire.” Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
15. Awo Mukama n'alabikira mu weema mu mpagi y'ekire: empagi y'ekire n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'eweema.
16. Mukama n'agamba Musa nti, “Onootera okufa weegatte ku bajjajjaabo. Abantu bano tebaliba beesigwa gye ndi era balimenya endagaano gye nnakola nabo. Balindekawo ne basinza bakatonda ab'omu nsi gye bagenda okubeerangamu.
17. Mu kiseera ekyo obusungu bwange ne bulyoka bubabuubuukirako, nange ndibaabulira ne mbekweeka ne bazikirira, balituukibwako ebizibu bingi n'okubonaabona kungi. Olwo lwe balitegeera nti ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga nze Mukama Katonda waabwe nnabaabulira.
18. Era ndibakisiza ddala amaaso gange olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala.
19. Kale nno kaakano, wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isiraeri, balukwate lubeerenga omujulirwa gyebali.
20. Kubanga bwe ndiba mbayingizza mu nsi gye nnalayirira bajjajjaabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe balirya ne bakkuta, ne bagejja; balikyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, era ne bamenya endagaano yange.
21. Bwe banaabanga batuukibbwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, wadde nga sinnabatwala mu nsi gye nnabalayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.”
22. Awo Musa n'awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza abaana ba Isiraeri.
23. Mukama n'alagira Yoswa omwana wa Nuuni ng'ayogera nti, “Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olituusa abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira; nange n'abeeranga wamu naawe.”
24. Awo olwatuuka, Musa bwe yamalira ddala okuwandiika ebigambo eby'amateeka gano mu kitabo,
25. Musa n'alagira Abaleevi, abaasitulanga essanduuko y'endagaano ya Mukama ng'ayogera nti,
26. “Muddire ekitabo kino eky'amateeka, mukiteeke ku mabbali g'essanduuko y'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga omujulirwa gye muli.
27. Mmanyi obujeemu n'obukakanyavu bwammwe, kubanga ne bwembadde nammwe nga nkyali mulamu mubadde mujeemera Mukama; kale temulyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa”
28. Musa n'alagira Abaleevi ng'agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abakadde n'abakulu b'ebika, n'abaami bammwe bonna ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, era nkoowoola eggulu n'ensi okuba abajulirwa gyebali.
29. Kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.”
30. Musa n'ayogera ebigambo by'oluyimba luno lwonna ng'abaana ba Isiraeri bonna bawulira.
11. Ng'empungu esaasaanya ekisu kyayo, Epaapaalira ku bwana bwayo, Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n'abatwala, N'abasitulira ku byoya bye.
12. Mukama yekka ye yabakulembera, So tewaali katonda mulala eyamuyambako.
13. Yabawa okutuula mu nsi ey'ensozi, Ne balya emmere ey'omunnimiro; Ne balya omubisi gw'enjuki okuva mu njazi, Ettaka ery'oluyinjayinja ne libaza emizeyituuni gyabwe.
15. Naye Yesuluuni bwe yagaggawala n'ajeema; Mwagejjulukuka, ne munyirira, ne munneewulirirako; Ne muva ku Katonda eyabakola, Ne munyooma Olwazi olw'obulokozi bwammwe.
16. Baamukwasanga obuggya nga baweereza bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo.
22. Kubanga obusungu bwange bukoledde ng'omuliro, Bwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era bwokya ensi n'ekyengera kyayo, Era bukoleeza ensozi we zisibuka.
23. Ndibatuumako obubi; Ndimalira obusaale bwange ku bo:
25. Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa, Ne mu nnyumba entiisa en'ebabuutikiranga; Binaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi.
26. N'ayogera nti, Nandibasaasaanyirizza wala, Nnandimazeewo okujjukirwa kwabwe mu bantu;
27. Singa saatya kuvvoola kw'abalabe, Abaabakyawa baleme okwewaana, Baleme okwogera nti Omukono gwabwe guwangudde, Era Mukama si y'akoze bino byonna.
28. Kubanga lye ggwanga eritalina magezi, So tebalina kutegeera mu bo.
36. Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango, Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe.
37. Era alyogera nti, Bakatonda baabwe bali ludda wa, Olwazi lwe beesiganga?
39. Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda mulala Nze nzita, era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya; So tewali ayinza okubalokola okubaggya mu mukono gwange.
40. Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu, Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna,
41. Ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, Mu buyinza bwange ndisala mazima Ndiwalana eggwanga ku balabe bange, Ndibonereza abo abankyawa.
43. Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n'abantu be; Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alibonereza abalabe be, Era aliwonya ensi ye, n'abantu be.
44. Musa n'ajja ne Koseya, omwana wa Nuuni. Ne boogera ebigambo by'oluyimba luno byonna ng'abantu bawulira.
45. Musa bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isiraeri,
47. Kubanga ebigambo bino si bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe, bye biribawaangaliza mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose omugga Yoludaani.”
48. Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti,
49. “Yambuka mu nsozi za Abalimu, eziri mu nsi ya Mowaabu, olinnye ku lusozi Nebo, olw'olekedde Yeriko; olengere ensi ya Kanani gyempa abaana ba Isiraeri okuba obutaka bwabwe;
50. ofiire ku lusozi lw'olinnyako, ogoberere bajjajjaabo, nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'agoberera bajjajjaabe abantu be:
51. kubanga mwansobya ne munnyiiriza wakati mu baana ba Isiraeri, ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri;
52. Olirengera bulengezi ensi gyempa abaana ba Isiraeri, naye ggwe toligiyingiramu.”
6. Ssaddaaka n'ebiweebwayo si by'oyagala. Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga. Wabula wampa amatu mpulire.
7. Ne ndyoka njogera nti, “Nzuuno, nzize.” Ebinjogerako biwandiikiddwa mu muzingo gw'ekitabo.
8. Nsanyuka okukola by'oyagala, Ayi Katonda wange, Era nkuuma amateeka go, mu mutima gwange munda.
31. Yesu n'ayongera n'agamba nti, “Kale abantu ab'emirembe gino n'abafaananya ki? Era balinga ki?
32. Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; ne bagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga.
33. Kubanga Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere so nga tanywa mwenge; ne mugamba nti Aliko dayimooni.
34. Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!
35. Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonna.”
36. Awo Omufalisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere.
37. Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya nga Yesu atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu,