14. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.
15. Awo n'agenda n'akola nga Eriya bw'ayogedde: omukazi n'ab'omu nnyumba ye ne Eriya ne baliira ennaku nnyingi.
16. Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.
18. Awo omukazi n'agamba Eriya nti Nakukola kabi ki ggwe omusajja wa Katonda? Wajja wano kunnumiriza bibi byange, na kutta mwana wange!
19. Eriya n'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye.
20. N'eyegayirira Mukama, n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we?
21. Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, n'eyegayirira Mukama n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate.
22. Mukama n'awulira okusaba kwa Eriya; obulamu bw'omwana ne buddamu nate, n'alamuka.
23. Awo Eriya n'akwata omwana n'amuggya mu kisenge ekya waggulu mu kalinaabiri, n'amuserengesa, n'amuwa nnyina, n'amugamba nti Omwana wo wuuno mulamu.
24. Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano ntegeeredde ddala ng'oli musajja wa Katonda, era nga kya mazima Mukama ayogera ng'ayita mu ggwe.
1. Awo bwe wayitawo ennaku nnyingi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogwokusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi.
2. Awo Eriya n'agenda okweraga eri Akabu. Era enjala yali ennyinyikidde nnyo mu Samaliya.
5. Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda otuuke ku nzizi zonna n'obugga bwonna: oboolyawo tulizuula omuddo ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna.
6. Awo ne bagabana ensi bombi okugibuna: Akabu n'akwata ekkubo erirye, ne Obadiya n'akwata erirye.
7. Awo Obadiya bwe yali mu kkubo ng'atambula, Eriya n'amusisinkana. Obadiya n'amutegeera, n'avuunama n'abuuza nti Ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?
8. N'addamu nti Nze nzuuno: genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano.
9. Obadiya n'amugamba nti Nsobezza ki kyova oyagala okuwaayo omuddu wo mu mukono gwa Akabu okunzita?
10. Mu mazima ga Mukama Katonda wo, tewali ggwanga wadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya. Era bwe baagambanga nti Tali wano, n'alayiza ab'obwakabaka obwo oba ab'eggwanga eryo bakakase nga tebaakulabye.
11. Kale kaakano oŋŋambye nti ŋŋende mbuulire mukama wange nti Eriya ali wano.
12. Naye nnaba nnaakava w'oli, Mwoyo wa Mukama n'akutwala gye simanyi! Olwo bwe n'atuuka ne ntegeeza Akabu n'atayinza ku kulaba, ajja kunzita, sso nga nze omuweereza wo, nzisaamu Mukama ekitiibwa okuviira ddala mu buto bwange.
13. Mukama wange, teebakubuulira kyennakola, Yezeberi bwe yali nga atta bannabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi (100) ku bannabbi abo, ataano ataano mu mpuku, ne mbaliisizzanga eyo emigaati n'amazzi?
14. Kaakano oŋŋamba nti Genda otegeeze mukama wo nti Eriya ali wano: kale ajja kunzitta!
15. Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gw'empeereza, siireme kweraga gyali leero.
18. Eriya n'amuddamu nti Sinze nteganya Isiraeri; naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, gwe n'osinza Baali.
19. Kale kaakano tumira Abaisiraeri bonna, bakuŋŋaanire we ndi ku lusozi Kalumeeri, n'abalaguzi Babaali ebina mu ataano (450), n'aba Asera ebina (400), abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.
21. Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n'ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo.
22. Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi Babaali bali abasajja bina mu ataano (450).
23. Kale batuwe ente bbiri; baalondeko ente emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi: nange naalongoosa ente eyokubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi.
24. Kale bannabbi Babaali mwegayirire katonda wammwe, nange nja kwegayirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi.
26. Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne beegayirira Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ayi Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuukirabukira awali ekyoto kye baakola.
27. Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira ng'abagamba nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba agenze kwetewuluzaako, oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase nga kyetaagisa okumuzuukusa.
28. Ne boogerera waggulu ne beesala n'obwambe n'amafumu ng'engeri yaabwe bwe yali okutuusa omusaayi lwe gwakulukutira ku bo.
29. Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balekanira waggulu nga abalalu okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo.
30. Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kimenyesemenyese.
31. Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri (12) ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.
33. N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'abagamba nti mujjuze amapipa ana (4) amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku.
34. Awo n'abagamba nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokusatu.
35. Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto; negajjuza n'olusalosalo.
36. Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo.
37. Mpulira, ayi Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okugizza gyoli.
38. Awo omuliro gwa Mukama ne gugwa ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'enku n'amayinja n'enfuufu, ne gukombera ddala amazzi agaali mu lusalosalo.
39. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda.
40. Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi Babaali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo.
42. Akabu n'agenda okulya n'okunywa. Eriya n'ayambuka ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri, n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.
43. N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Ddayo nate emirundi musanvu.
44. Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.
45. Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda, embuyaga ne kkunta, enkuba nnyingi n'ettonya. Akabu n'alinnya mu ggaali n'agenda e Yezuleeri.
46. Mukama n'awa Eriya amaanyi ag'enjawulo, ne yeesiba ekimyu n'adduka ng'akulembeddemu Akabu okutuuka awayingirirwa e Yezuleeri.
29. Naye nze ndi mwavu, era ndi mu bulumi; Obulokozi bwo, Ayi Katonda, bungulumize waggulu.