Bible in one year

1. Awo Sulemaani n'atandika okuzimba ennyumba ya Mukama e Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe. Dawudi yali akiteeseteese olw'ennyumba ya Mukama. Ekifo ekyo kyali gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
2. Sulemaani yatandika okuzimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe.
3. Ennyumba ya Mukama Sulemaani gye yapima yali ya mikono nkaaga (60) obuwanvu ne mikono abiri (20) obugazi.
4. Ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, ekipimo kyakyo kyali kya bugazi bwa mikono abiri (20) ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali, n'obugulumivu bwakyo emikono kikumi mu abiri (120). Ekisenge kyakyo munda y'akibikkako zaabu omulongoose.
5. Ekisenge ekinene y'akibikkako embaawo ez'emiberosi, ze yabikkako zaabu omulongoose, n'akolako ebifaananyi eby'enkindu n'emikuufu.
6. Nayooyoota ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi ne zaabu yaggyibwa e Paluvayimu.
7. Ebisenge by'ennyumba, emirabba gyayo, n'emiryango n'abibikkako zaabu. Ku bisenge n'akolako bakerubi.
8. N'azimba ekifo eky'omunda Ekitukuvu Ennyo, ng'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'ennyumba: emikono abiri (20). N'akibikkako zaabu omulongoose aweza talanta lukaaga (600).
9. Obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu ataano (50). Ekisenge ekya waggulu nakyo n'akibikkako zaabu.
10. Mu kifo Ekitukuvu Ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'ekyuma ne bababikkako zaabu.
11. Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi obuwanvu bwabyo bwali emikono abiri (20), ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro kye eky'okubiri nakyo bwe kityo nga kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
12. Ekiwawaatiro kya kerubi omulala nakyo kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka nakyo ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro kye ekirala nakyo nga kiweza emikono etaano, era nga nakyo kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
13. Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa byali biweza emikono abiri (20). Baali bayimiridde ku bigere byabwe, nga batunuulidde wakati mu ennyumba.
14. N'akola eggigi mu lugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olutwakaavu ne mu bafuta ennungi, n'alikolerako bakerubi.
15. Mu maaso g'ennyumba n'assaawo empagi bbiri, obugulumivu bwazo, emikono asatu mu etaano (35), era nga buli emu eriko omutwe gwa buwanvu bwa mikono etaano.
16. Ku ntiko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi by'emikuufu ne by'amakomamawanga ag'ekikomo kikumi (100) n'agateeka ku mikuufu.
17. N'asimba empagi ezo mu maaso ga Yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'ey'oku mukono gwa kkono n'agituuma Bowaazi.
1. Kabaka Sulemaani n'akola ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono abiri (20), n'obugazi bwakyo emikono abiri (20), n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi (10).
2. Era n'akola ne Tanka ennene enneekulungirivu ey'ekikomo ng'eweza emikono kkumi (10) okuva ku mugo okutuuka ku mugo, n'obugulumivu bwayo emikono etaano; obwetooloovu bwo mugo gwayo nga buweza emikono asatu (30).
3. Okwetooloola omugo ebweru wagwo gwaliko embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, nga byaweesebwa wamu nagwo.
4. Etanka eyo yatuuzibwa ku bifaananyi by'ente eby'ekikomo kkumi na bbiri (12), ebisatu nga bitunuudde obukiikakkono, ebisatu ebirala nga bitunuudde ebugwanjuba, ebisatu ebirala nga bitunuudde obukiikaddyo, n'ebisatu ebirala nga bitunuulidde ebuvanjuba. Etanka yatuula ku zo waggulu, nga emikira gyabyo gyonna gitunuudde munda.
5. Omubiri gwa Tanka gwali guweza oluta lumu. Omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, era nga gweyanjuluza ng'ekimuli kyamalanga. Etanka nga egendamu ensuwa za mazzi enkumi ssatu (3,000).
6. Era n'akola ebbenseni kkumi (10) ez'okwolezaangamu: etaano n'aziteeka ku mukono ogwa ddyo ogwa Yeekaalu, n'etaano ku gwa kkono, ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye amazzi g'omu Tanka gaali ga bakabona ag'okunaaba.
7. N'akola ebikondo by'ettaala kkumi bya zaabu, nga bwe byali biteekwa okukolebwa n'abiteeka mu Yeekaalu: ebitaano ku mukono ogwa ddyo n'ebitaano ebirala ku gwa kkono.
8. Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Yeekaalu: etaano n'aziteeka ku luuyi olwa ddyo n'etaano endala ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kikumi (100) bya zaabu.
9. Era n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, enzigi zaazo n'azibikkako ekikomo.
10. N'ateeka etanka ennene ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo olw'ebuvanjuba.
11. Kulamu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. Awo Kulamu n'amaliriza okukola omulimu gw'ennyumba ya Katonda ogw'amuweebwa kabaka Sulemaani:
12. empagi bbiri, n'emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi; n'ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli empagi;
13. amakomamawanga bina (400) ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu bbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi.
14. N'akola ebituuti kkumi (10), n'ebbenseni ku bituuti ebyo,
15. etanka ennene, n'ente kkumi na bbiri (12) kweyatuuzibwa;
16. entamu, n'ebijiiko, n'amakato ge bakwasisa ennyama. Kulamu n'akolera Sulemaani ebintu byonna ebyo mu kikomo ekizigule eby'okukozesanga mu nnyumba ya Mukama.
17. Ebintu ebyo byonna kabaka yabikolera mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda.
18. Sulemaani n'akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo, n'obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa tebwategeerekeka.
19. Sulemaani n'akola ebintu byonna eby'okukozesanga mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwateekebwanga emigaati egy'okulaga;
20. n'ebikondo n'ettaala zaabyo, mu zaabu omulongoose, zaakirenga mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu ng'ekiragiro bwe kyali;
21. n'ebitimbibwa ebikoleddwa ng'ebimuli, ne ttaala, ne makansi, nga bya zaabu omulungi ennyo;
22. n'ebisalako ebisiriiza, n'ebibya, n'ebijiiko, n'essowaani nga bya zaabu omulongoose. Enzigi z'ennyumba ez'ebweru, n'enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo Ekitukuvu Ennyo nazo zaali za zaabu.
5. Ayi Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro?
6. Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7. Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye.
8. Tojjukira gyetuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe; Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga, Kubanga tujeezebwa nnyo.
9. Otuyambe, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo, Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo.
10. Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika Limanyibwe mu b'amawanga mu maaso gaffe.
10. Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama.
11. Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.
12. Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Byombi Mukama ye yabikola.
1. Mu biro ebyo kabaka Kerode n'atandika okuyigganya abamu ab'omu kkanisa.
2. N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yokaana.
3. Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero mu nnaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa.
4. Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga (16) okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde.
5. Awo Peetero n'akuumirwa mu kkomera: naye ab'ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda.
6. Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera.
7. Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti, “ Yimuka mangu.” Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa.
8. Malayika n'amugamba nti, “ Weesibe, oyambale engatto zo.” N'akola bw'atyo. N'amugamba nti, “ Yambala ekyambalo kyo, ongoberere.”
9. N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa.
10. Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n'abokubiri ne batuuka ku luggi olw'ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangwago malayika n'amuleka.
11. Peetero bwe yeddamu n'agamba nti, “ Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anzigya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.”
12. Bwe yalowooza n'ajja mu nnyumba ya Malyamu eyali nnyina Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko, mwe baali bakuŋŋaanidde abangi nga basaba.
13. Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'omu mulyango omuzaana n'ajja okuyitaba, erinnya lye Looda.
14. Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'addayo mangu n'agamba nti, “ Peetero ayimiridde ebweru ku luggi.”
15. Ne bamugamba nti, “ Olaluse.” Naye n'akaliriza nti Weewaawo. Ne bagamba nti Ye malayika we.
16. Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baggulawo ne bamulaba ne basamaalirira.
17. Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti, “ Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda.” N'avaayo n'agenda mu kifo awalala.
18. Awo bwe bwakya enkya, basserikale ne beegugumula nnyo nti, “ Peetero nno abadde ki?”
19. Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo.
20. N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka.
21. Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo.
22. Abantu bonna ne boogerera waggulu nti, “ Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.”
23. Amangwago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa.
24. Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga.
25. Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye eryokubiri Makko.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.