3. Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo.
4. Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go galinga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu. Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko.
5. Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka asikirizibwa emivumbo gyazo ne gimusiba.
7. Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu.
8. N'ayogera nti N'alinnya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo; Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa;
9. Ebigambo by'omu kamwa ko biri ng'omwenge ogusinga okuwooma, Ogwo gwe mwenge ogusanidde okunywebwa muganzi wange, Nga guyita mu mimwa gye n'amannyo ge biryoke byenuguune.
10. Nze ndi wa muganzi wange, Naye yeegomba nze.
11. Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo.
12. Tugende mu nsuku z'emizabbibu ku makya; Tulabe omuzabbibu oba nga gumulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange.
1. Singa nno obadde mwannyinaze, Eyayonka amabeere ga mmange! Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde; Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye.
2. Nnandikuleese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, N'onjigiririza eyo okwagala; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, ne ku mubisi omusogole mu makkomamawanga.
5. Kale njagala mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala mutegeeze eby'obunnabbi, kubanga ategeeza eby'obunnabbi ye asinga obukulu ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, ekkanisa eryoke ezimbibwe.
6. Naye kaakano, ab'oluganda, bwe ndijja gye muli ne njogera mu nnimi, ndibagasa ntya? Okuggyako nga mbaleetera ebyo ebimbikuliddwa, bye mmanyi, oba bunnabbi, oba kuyigiriza.
7. Era n'ebivuga ebitalina bulamu, nga endere, oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi agategeerekeka, omuntu ategeera atya oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa?
8. Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani alyeteekeraateekera okulwana?
9. Bwe kityo ne ku mmwe bwe kiri, singa omuntu ayogera mu nnimi ebitategeerekeka, oli aliyinza atya okutegeera ekyogeddwa? Aba ayogeredde mu bbanga.
10. Weewaawo waliwo mu nsi ennimi nnyingi, era tewali lutalina makulu.
11. Naye bwe ssimanya makulu ga lulimi mba mugwira eri ayogera, naye bwatyo gye ndi.