Bible in one year

1. Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza;
2. awo abakulembeze ba Isiraeri, abakulu be nnyumba za bakitaabwe, be baali abakulu b'ebika, era abaafuganga abo abaabalibwa, ne bawaayo:
3. ne baleeta ekiweebwayo kyabwe mu maaso ga Mukama. Amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri (12); nga buli bakulembeze babiri baleese eggaali limu ate nga buli mukulembeze aleese ente emu.
4. Mukama n'agamba Musa nti,
5. “bibaggyeeko bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.”
6. Musa n'abaggyako amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi.
7. Amagaali abiri n'ente nnya n'abiwa ab'olulyo lwa Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali;
8. n'amagaali ana n'ente munaana n'abiwa ab'olulyo lwa Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali; wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
9. Naye ab'olulyo lwa ba Kokasi bo tebaaweebwa; kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okusitula, babisituliranga ku bibegabega byabwe.
10. Awo abakulembeze ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta; bawaayo ekiweebwayo kyabwe mu maaso g'ekyoto.
11. Mukama n'agamba Musa nti, “Buli mukulembeze anaawangayo ekiweebwayo kye ku lunaku lwe olw'okutukuza ekyoto.”
12. N'oyo eyawaayo ekiweebwayo kye ku lunaku olwolubereberye yali Nakusoni, mutabani wa Amminadaabu, ow'omu kika kya Yuda:
13. n'ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
14. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
15. ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
16. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
17. era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
18. Ku lunaku olwokubiri Nesaneeri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo.
19. Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
20. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
21. ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
22. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
23. era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nesaneeri mutabani wa Zuwaali.
24. Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo.
25. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
26. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
27. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
28. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
29. era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30. Ku lunaku olwokuna, Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo.
31. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
32. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
33. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
34. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
35. era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
36. Ku lunaku olw'okutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni, n'awaayo.
37. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
38. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
39. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
40. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
41. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42. Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo.
43. Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
44. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
45. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
46. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
47. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48. Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo.
49. Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
50. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
51. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
52. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
53. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54. Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo.
55. Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
56. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
57. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
58. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
59. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli.
60. Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo.
61. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
62. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
63. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza mwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
64. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
65. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
66. Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani n'awaayo,
67. ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
68. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
69. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
70. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
71. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72. Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo.
73. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
74. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
75. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
76. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
77. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
78. Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo.
79. Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta;
80. ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
81. ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
82. embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
83. n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akira mutabani wa Enani.
84. Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukibwako amafuta mu mikono gy'abakulembeze ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri (12) ebya zaabu;
85. buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu (130), na buli kibya sekeri nsanvu (70); effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina (2,400), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri;
86. ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri (12), ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi (10), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri (120).
87. Ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa, kkumi na bbiri endiga ennume kkumi na bbiri (12), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka, kkumi na babiri (12), n'obutta bwabyo obuweebwayo; n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri (12).
88. Ente zonna okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe abiri mu nnya (24), endiga ennume nkaaga (60), embuzi ennume nkaaga (60), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka nkaaga (60). Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta.
89. Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu okwogera ne Mukama, n'alyoka awulira Eddoboozi nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku ssanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi. Mukama n'ayogera naye.
1. Mukama n'ayogera ne Musa nti,
2. Yogera ne Alooni omugambe nti, “Bw'onoobanga oteeka ettaala omusanvu ku kikondo kyazo, onooziterezanga ne zimulisa mu maaso g'ekikondo.”
3. Alooni n'akola bw'atyo; n'ateeka ettaala ku kikondo ne zimulisa mu maaso g'ekikondo nga Mukama bwe yalagira Musa.
4. Ekikondo kino kyaweesebwa kyonna mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo; ng'ekifaananyi kyakyo bwe kyali Mukama kye yalagira Musa. Naye bw'atyo bwe yakikola.
5. Mukama n'agamba Musa nti,
6. “Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obatukuze.
7. Era bw'oti bw'onoobakola okubatukuza: nga omansira ku bo amazzi ag'okubatangirira, era beemwe omubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beetukuze.
8. Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyakwo eky'obutta, obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka eyokubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
9. Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri;
10. n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama. Abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi.
11. Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku lw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okuweereza Mukama.
12. Abaleevi banaateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe onoowaayo emu ku zo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okubatangirira.
13. “Onooteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama.
14. Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange.
15. Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobatukuza, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa.
16. Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi okuva mu baana ba Isiraeri; mbeetwalidde mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.
17. Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba muntu oba nsolo; ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri n'abeetukuliza.
18. Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.
19. Era mpaddeyo Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni ne batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okuweerezanga ku lw'abaana ba Isiraeri mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga; walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, bwe banaasembera mu watukuvu.”
20. Bw'atyo Musa, Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe baakola Abaleevi nga Mukama bwe yabalagira.
21. Abaleevi ne beetukuza okuva mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubatukuza.
22. Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be; nga Mukama bwe yalagira Musa ebikwata ku Baleevi, nabo bwe batyo bwe baabakola.
23. Mukama n'agamba Musa nti,
24. “Bino bye bikwata ku Baleevi: abawezezza emyaka abiri mu etaano (25) n'okusingawo banaayingiranga okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu.
25. Era bwe banaawezanga emyaka ataano (50), banaalekeranga awo okuweereza mu Weema
26. naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa. Bw'otyo bw'onooteekateeka Abaleevi okutuukirizanga emirimu gyabwe.”
1. Ayi Mukama, ggwe buddukiro bwange, tondeka kuswala n'akatono, Ondokole mu butuukirivu bwo.
2. Ontegere okutu kwo, yanguya okundokola. Beera gye ndi olwazi olw'amaanyi, ekigo ekya maanyi ondokole.
3. Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
4. Nzigya mu kyambika ekikwekeddwa kye banteze; Kubanga ggwe oli kiddukiro kyange.
5. Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ayi Mukama, ggwe Katonda omwesigwa.
4. Obugagga tebugasa, Katonda nga asunguwadde. Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
5. Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye.
6. Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Naye ab'enkwe, balisibibwa okwegomba kwabwe bo.
1. Awo Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti, Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.”
2. Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.
3. Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo.
4. Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu.
5. Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti, “Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya.”
6. Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali battidde nnyo.
7. Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.”
8. Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tebalaba muntu mulala wabula Yesu yekka nabo.
9. Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako omuntu bye balabye, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu.
10. Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti, “Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?”
11. Ne bamubuuza nga bagamba nti, “Abawandiisi boogera nti, kigwana Eriya okusooka okujja.”
12. N'abagamba nti, “ Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa?
13. Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.”
14. Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka.
15. Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne beewuunya nnyo, ne badduka ne bajja gy'ali ne bamulamusa.
16. N'ababuuza nti, “Mubasokaasoka lwaki?”
17. Omu mu kibiina n'amuddamu nti, “Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera;
18. buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.”
19. N'abaddamu, n'agamba nti, “ Mmwe ab'emirembe egitakkiriza, ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere.”
20. Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangwago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu.
21. N'abuuza kitaawe nti, “ Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki?” N'agamba nti, “ Okuviira ddala mu buto.
22. Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.”
23. Yesu n'amugamba nti, “Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza.”
24. Amangwago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “ Nzikirizza saasira obutakkiriza bwange.”
25. Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kijja kidduka, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti, “ Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono.”
26. Awo n'akaaba, n'amutaagula nnyo, n'amuvaako; n'afaanana ng'afudde; n'okugamba abalala bangi ne bagamba nti, “ Afudde.”
27. Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa; n'ayimirira.
28. Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti, “ Lwaki ffe tetwayinzizza kumugoba?”
29. N'abagamba nti, “Engeri eno teyinzika kugenda nakirala awatali kusaba na kusiiba.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.