Bible in one year

1. Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti, “Laba; mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era ntaddewo kabaka okubafuga.
2. Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe; nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe, era n'atambulira mu maaso gammwe okuva mu buto bwange ne leero.
3. Nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta, ani gwe nnanyagako ente ye? Oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Ani gwe nnali njooze? Oba ani gwennajjako enguzi okunziba amaaso? Munnumirize nange nnabasasula.”
4. Ne baddamu nti “Totulyazaamaanyangako, totujoogangako, so tolyanga nguzi ku muntu yenna.”
5. N'abagamba nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero kubanga temulabye kibi kyonna kye nali nkoze.” Ne baddamu nti, “Ye mujulirwa.”
6. Samwiri n'agamba abantu nti, “Mukama ye mujulirwa eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.
7. Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mbalumirize era mbajjukize ebikolwa byonna eby'obutuukirivu Mukama byeyabakolera mmwe ne bajjajjammwe.
8. Yakobo bwe yali mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni ne baggyayo bajjajjammwe mu Misiri, Mukama n'abatuuza mu kifo kino.
9. Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abawaayo mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo.
10. Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti, ‘Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.’
11. Awo Mukama n'atuma Yerubbaali, Bedani, Yefusa ne Samwiri, n'abalokola mu mukono gw'abalabe bammwe enjuyi zonna, ne mutuula mirembe.
12. Awo bwe mwalaba nga Nakkasi kabaka w'abaana ba Amoni ng'abatabadde, ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, naye kabaka ye alitufuga,’ so nga Mukama Katonda wammwe ye kabaka wammwe.
13. Kale nno kaakano mulabe kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba, Mukama amutaddewo okubafuga.
14. Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne mugonderanga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kye ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne kabaka wammwe abafuga; kale munaabanga ne mirembe;
15. naye bwe mutaawulirenga ddoboozi lya Mukama, naye ne mujeemera ekiragiro kye, awo omukono gwa Mukama gunaalwananga nammwe nga bwe gwalwananga ne bajjajjammwe.
16. Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mulabe ekigambo kino ekikulu Mukama ky'anaakolera mu maaso gammwe.
17. Ekiseera kino si kye ky'amakungula g'eŋŋaano? Naye nja kusaba Mukama aweereze okubwatuka era attonyese enkuba, mulyoke mulabe era mumanye nga mwakola obubi bunene okwesabira kabaka.”
18. Awo Samwiri n'asaba Mukama; Mukama n'aweereza okubwatuka n'enkuba ku lunaku olwo; abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri.
19. Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa; kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, eky'okwesabira kabaka.”
20. Samwiri n'agamba abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ekibi kino kyonna, naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna;
21. Era temukyamanga ne mugoberera ebitaliimu nsa, ebitayinza kugasa, wadde kuwonya, kubanga tebiriimu nsa.
22. Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu; kubanga yasiima mmwe okubafula eggwanga lye.
23. Naye kikafuuwe nze okusobya ku Mukama okulekayo okubasabira, n'okubayigiriza ekkubo eddungi eggolokofu.
24. Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna; kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu.
25. Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mulizikirira mmwe era ne kabaka wammwe.”
1. Sawulo yali awezezza emyaka asatu (30), bwe yatandika okufuga; n'afugira Isiraeri emyaka ebiri (2).
2. Sawulo ne yeerondera abasajja ba Isiraeri enkumi ssatu (3,000), enkumi ebbiri (2,000) ne babeeranga naye e Mikumasi ne ku lusozi e Beseri, ate olukumi (1,000) ne baabeeranga ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini; abantu abalala bonna n'abasiibula okuddayo ewaabwe.
3. Yonasaani n'akuba ekigo eky'Abafirisuuti ekyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Sawulo n'afuuwa ekkondeere okubuna ensi yonna, ng'ayogera nti, “Abaebbulaniya bawulire.”
4. Isiraeri yenna ne bawulira nga boogera nga Sawulo akubye ekigo eky'Abafirisuuti era nga Isiraeri Abafirisuuti bamutamiddwa. Abantu ne bakuŋŋaanira e Girugaali okugoberera Sawulo.
5. Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okulwana ne Isiraeri nga balina amagaali emitwalo esatu (30,000), n'abasajja abeebagala embalaasi kakaaga (6,000), n'abantu abaali abangi ng'omusenyu gw'oku ttale lye nnyanja; ne bambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Besaveni.
6. Abaisiraeri bwe baalaba nga bali mu kabi, era ng'eggye lyabwe lifumbiikiriziddwa, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka, ne mu mpampagama z'enjazi ne mu bunnya.
7. Era abamu ku Baebbulaniya baali basomose Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi, naye Sawulo yali ng'akyali e Girugaali, abantu bonna ne bamugoberera nga bakankana.
8. Sawulo nnamala ennaku musanvu e Girugaali nga alinda Samwiri nga bwe yali amugambye, naye Samwiri nnaatajja; abantu ne basaasaana nga bamuvaako.
9. Sawulo n'agamba nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.” N'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa.
10. Awo olwatuuka nga kyajje amale okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, laba Samwiri n'ajja; Sawulo n'afuluma okumusisinkana amulamuse.
11. Samwiri n'agamba nti, “Okoze ki?” Sawulo n'addamu nti, “Nnalabye ng'abantu basaasaana nga banvaako, ate nga naawe tojjidde mu nnaku ze wagamba, n'Abafirisuuti nga bakuŋŋaanidde e Mikumasi;
12. ne ŋŋamba nti, ‘Abafirisuuti bagenda kuserengeta bannumbe wano e Girugaali, ate nga sinnaba kwegayirira Mukama kunkwatirwa kisa.’ Kyennavudde nneewaliriza n'empaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”
13. Awo Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Wakoze kya busirusiru, tokutte kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira; kubanga kaakano Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo ku Isiraeri ennaku zonna.
14. Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera; Mukama yeenoonyerezza omusajja alina omutima ogulinga ogugwe, era Mukama amutaddewo okuba omukulu w'abantu be, kubanga ggwe togondedde ekyo Mukama kye yakulagira.”
15. Awo Samwiri n'agolokoka n'ava e Girugaali n'ayambuka e Gibea ekya Benyamini. Sawulo n'abala abantu abaali awamu naye, abasajja nga lukaaga (600).
16. Sawulo ne Yonasaani mutabani we n'abantu abaali awamu nabo ne batuula e Geba ekya Benyamini; naye Abafirisuuti ne basiisira e Mikumasi.
17. Abakwekwesi ne bava mu lusiisira olw'Abafirisuuti ebibinja bisatu (3), ekibinja ekimu ne kidda mu kkubo erigenda e Yofula, mu nsi ya Suwaali,
18. eky'okubiri (2) ne kidda mu kkubo erigenda e Besukolooni, n'eky'okusatu (3) ne kidda mu kkubo ery'ensalo w'oyima waggulu okutunuulira ekiwonvu Zeboyimu ku luuyi olw'eddungu.
19. Mu nsi ya Isiraeri yonna temwalimu muweesi, kubanga Abafirisuuti baagamba nti, “Abaebbulaniya baleme okweweeseza ebitala oba amafumu;”
20. Abaisiraeri bonna baagendanga mu Bafirisuuti okuwagala enkumbi zaabwe, n'ebiwabyo byabwe, n'embazzi zaabwe, n'ebifumu byabwe.
21. Ne babawoozangako ssente bbiri okuwagala enkumbi n'ebiwabyo, ate ne babaggyangako ssente emu okuwagala embazzi, n'okuddaabiriza emiwunda.
22. Kale ku lunaku olw'olutalo, tewaali muntu n'omu ku abo abaali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala, wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani.
23. Abafirisuuti abaali mu lusiisira ne bafuluma okugenda okukuuma awayingirirwa okulaga e Mikumasi.
1. Onsaasire, Ayi Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze; Bazibya obudde nga balwana, nga banjooga.
2. Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba; Kubanga bangi bannwanyisa n'amalala.
3. Buli lwe nnaatyanga, Nneesiganga ggwe.
4. Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza, Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu obuntu bayinza kunkola ki?
5. Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde; Ebirowoozo byabwe byonna bya kunkolako bulabe.
6. Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.
7. Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu bwo suula amawanga, Ayi Katonda!
8. Ggwe omanyi ennaku yange; Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko! Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?
9. Abalabe bange ne balyoka bazzibwa emabega ku lunaku lwe ndikukoowooleramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku ludda lwange
10. Mu Katonda mu kigambo kye mwe nnebaliza, Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11. Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki?
12. Ebirayiro byo biri ku nze, Ayi Katonda; Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza gyoli.
13. Kubanga wawonya emmeeme yange okufa, Owonyeezza ebigere byange okwesittala. Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda Mu musana ogw'abantu abalamu.
21. Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera atambulira mu butuukirivu.
22. Awatali kuwabulwa, okuteesa kufa; Naye awali abawabuzi abangi, ebiteesebwa birama.
23. Okuddamu ekituufu, kusanyusa omuntu. N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi!
47. Yesu yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda, omu ku abo ekkumi n'ababiri (12), ng'abakulembedde, n'asemberera Yesu okumunywegera.
48. Naye Yesu n'amugamba nti, “ Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?”
49. N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti, “ Mukama waffe, tuteme n'ebitala?”
50. N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo.
51. Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Koma ku ekyo kyokka.” N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya.
52. Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu Yeekaalu, n'abakadde, abajja okumukwata nti, “ Munjijiridde ng'omunyazi, nga mulina n'ebitala n'emiggo?
53. Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu Yeekaalu, temwangololerako mukono gyammwe, naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.”
54. Ne bamukwata ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'agoberera ng'ava walako.
55. Awo bwe baali nga bamaze okukuma omuliro mu luggya wakati, nga batudde wamu, Peetero n'atuula wakati mu bo.
56. Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti, “ N'ono yabadde naye.”
57. Naye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Omukazi, omuntu oyo simumanyi.”
58. Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti, “ Naawe oli omu ku bo.” Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, si nze.”
59. Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti, “ Mazima n'ono yabadde wamu naye, kubanga naye Mugaliraaya.”
60. Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, simanyi ky'oyogera.” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima.
61. Awo Mukama waffe n'akyuka, n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, bwe yamugambye nti, “ Leero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
62. N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.
63. Awo abasajja abaali bakutte Yesu ne bamuduulira nga bamukuba.
64. Ne bamubikka mu maaso, ne bamubuuza, nga bagamba nti, “ Lagula: ani akukubye?”
65. Ne bamwogerako n'ebirala bingi nga bamuvuma.
66. Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, ne bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne batwala Yesu mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti,
67. “Oba nga ggwe Kristo, tubuulire.” Naye n'abagamba nti, “ Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza n'akatono;
68. ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu n'akatono.
69. Naye okusooka kaakano Omwana w'omuntu agenda kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi ga Katonda.”
70. Bonna ne bagamba nti, “ Kale ggwe oli Mwana wa Katonda?” Yesu n'abagamba nti, “ Nga bwe mwogedde nze nzuuyo.”
71. Ne bagamba nti, “ Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.