Bible in one year

1. Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna ogw'okuzimba ennyumba ya Mukama. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga: effeeza ne zaabu, n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.
2. Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abaana ba Isiraeri, bagende e Yerusaalemi, ba ggyeyo essanduuko ey'endagaano ya Mukama okuva mu kibuga kya Dawudi Sayuuni.
3. Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira ewa kabaka, ku mbaga ey'Ensiisira mu mwezi ogw'omusanvu.
4. Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko.
5. Ne bagireeta, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu bakabona n'Abaleevi ne babisitula.
6. Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna enkya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne babeera mu maaso g'essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez'endiga n'ente, nnyingi nnyo ezitaabalibwa muwendo.
7. Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, munda mu nnyumba, mu kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
8. Ebiwaawaatiro bya bakerubi ebyayanjala ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo.
9. Emisituliro gyayo gyali miwanvu ng'omuntu ayimiridde munda mu Yeekaalu mu maaso g'ekifo Ekitukuvu Ennyo asobola okulaba emisa gyazo, naye ng'ali ebweru tagiraba. Ekyali eyo ne leero.
10. Mu Ssanduuko temwali kintu kirala wabula ebipande ebibiri, Musa bye yateeka omwo bwe yali ku lusozi Kolebu, Mukama gye yalagaanira endagaano n'abaana ba Isiraeri, nga bavudde mu Misiri.
11. Bakabona bonna, awatali kufa ku mpalo zaabwe, baali beetukuzizza, ne bava mu kifo Ekitukuvu.
12. Abaleevi bonna abayimbi: Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, nga bali ne bakabona kikumi mu abiri (120) nga bafuuwa amakkondeere.
13. Awo olwatuuka ab'ebivuga n'abayimbi ne bakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza, nga beebaza Mukama. Ne basaakaanyiza wamu amaloboozi gaabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga bagamba nti, “Mukama mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo ennyumba ya Mukama n'ejjula ekire,
14. bakabona ne batasobola kusigalamu okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda.
1. Awo Sulemaani n'asaba ng'agamba nti, “Mukama wasalawo okutuulanga mu kizikiza ekikutte.
2. Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna.”
3. Awo kabaka n'akyuka n'atunuulira ekibiina kyonna ekya Isiraeri, ekyali kiyimiridde awo n'abasabira omukisa.
4. N'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isiraeri, atuukiriza ekyo kye yasuubiza Dawudi kitange, bwe yamugamba nti,
5. ‘kasookedde nzigya bantu bange mu nsi y'e Misiri, sirondanga kibuga na kimu kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri, okuzimbira omwo ennyumba, nange mbeerenga omwo, so sirondanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.
6. naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu erinnya lyange; era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri.’
7. Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
8. Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti, ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira ennyumba.
9. Naye si gwe ojja okunzimbira ennyumba, wabula mutabani wo ggwe wennyini gw'ozaala y'alizimbira ennyumba.’
10. Era Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nze nsikidde kitange Dawudi, era ntudde ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
11. Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yakola n'abaana ba Isiraeri.”
12. Awo Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kiri awo, n'agolola emikono gye.
13. kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu.
14. n'ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; atuukiriza endagaano ye era akwatirwa ekisa abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna.
15. Otuukiriza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kye wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza olwaleero.
16. Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza ekyo kye wasuubiza omuddu, Dawudi kitange, bwe wamugamba nti, ‘tewaabulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri, abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwo gatambuliddemu mu maaso gange.’
17. Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, kye wagamba omuddu wo Dawudi.
18. Naye mazima ddala, Katonda oyinza okutuula n'abantu mu nsi? Laba, eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye oyinza otya ggwe okugiggyamu?
19. Naye ayi Mukama Katonda wange, wulira okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, kw'asaba mu maaso go:
20. amaaso go gatunuulirenga ennyumba eno emisana n'ekiro, ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo Erinnya lyo. Kale owulirenga okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'otunuulira ekifo kino.
21. Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino: wuliranga ggwe ng'osinzira ggulu, mu kifo kyo ky'obeeramu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.
22. Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne kimugwanira okulayira okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno:
23. kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaddu bo, n'obonereza asobeza, ne wejjeereza atalina musango.
24. Abantu bo Isiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe, kubanga bakwonoonye naye ne bakyuka nate ne beenenya, ne basaba ne beegayirira mu maaso go mu nnyumba eno:
25. kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.
26. Eggulu bwe linaggalwangawo, enkuba n'etetonnya, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, ng'omaze okubabonereza:
27. kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo, abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eggolokofu lye bateekwa okutambulirangamu, olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo, gye wawa abantu bo okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.
28. Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala, bukuku, enzige oba kawuka ku birime; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okw'engeri yonna;
29. bwe wanaabangawo okusaba oba okwegayirira kwonna okunaakolwanga omuntu yenna, oba okw'abantu bo bonna Isiraeri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze ng'atunuulidde ennyumba eno:
30. kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu n'osonyiwa, era n'osasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe, ggwe wekka omanyi emitima gy'abaana b'abantu;
31. balyoke bakutyenga era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32. Era mu ngeri y'emu munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asaba nga atunuulidde ennyumba eno;
33. owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo n'okolera munnaggwanga oyo byonna byakusabye, olwo amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, era bakutye ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye ya kukusinzizangamu.
34. Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe yonna gy'onobasindikanga, ne bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
35. kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe n'obalwanirira.
36. Bwe banaakwonoonanga, kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira, n'oleka abalabe baabwe okubawangula n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'ewala oba ey'okumpi;
37. naye bwe beennyamiriranga mu mitima gyabwe mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakyuka ne beenenya, ne bakwegayiririra mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona ne tukuvako ne tukola ebitasaana;’
38. bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna nga bali mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakusaba nga batunuulidde ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, n'ekibuga kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;
39. kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu n'obaddiramu, n'osonyiwa bantu bo abakwonoonye.
40. Kale, ayi Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go gatunuulenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino.
41. Kale nno, ayi Mukama Katonda, situka ojje oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ayi Mukama Katonda, bawe omukisa, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi.
42. Ayi Mukama Katonda, tolekanga oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okwagala kwo eri Dawudi omuddu wo.”
11. Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;
12. Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe Ekivume kye baakuvuma ggwe, Ayi Mukama.
13. Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo tunaakwebazanga ennaku zonna. Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.
13. Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Vvanga mu tulo, ofunenga emmere gy'olya.
14. “Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa,” bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugula n'alyoka yeewaana.
1. Mu kkanisa y'omu Antiyokiya yaliyo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo.
2. Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti, “ Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.”
3. Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma.
4. Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawunguka okulaga e Kupulo.
5. Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza.
6. Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa;
7. eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
8. Naye Eruma omulogo, kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa, n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza.
9. Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekaliriza amaaso,
10. n'agamba nti, “ Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu?
11. Kaakano, laba, omukono gwa Mukama waffe guli ku ggwe, onooba muzibe wa maaso nga tolaba njuba ebiro bingiko.” Amangwago ekifu ne kimugwako, n'enzikiza; n'awammanta n'anoonya abantu ab'okumukwata ku mukono.
12. Awo owessaza bwe yalaba bwe kibadde n'akkiriza nga yeewuunya nnyo okuyigiriza kwa Mukama waffe.
13. Awo Pawulo ne banne ne basaabala okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky'e Panfuliya: Yokaana n'abalekayo n'addayo e Yerusaalemi.
14. Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula.
15. Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti, “ Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.”
16. Pawulo n'ayimirira n'abawenya n'omukono n'agamba nti: “Abasajja Abaisiraeri, nammwe abatya Katonda, muwulire.
17. Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa.
18. N'abagumiikiriza mu ddungu emyaka ng'ana (40).
19. Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka bina mu ataano (450).
20. Oluvannyuma lw'egyo n'abawa abalamuzi okutuuka ku nnabbi Samwiri.
21. Oluvannyuma ne baagala kabaka; Katonda n'abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n'amala emyaka ana (40).
22. Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti, ‘Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna.’
23. Oyo mu zzadde lye nga Katonda bwe yasuubiza, aleetedde Isiraeri Omulokozi Yesu,
24. Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri.
25. Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja oluvannyuma lwange gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye.’ ”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.