4. Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako.
5. Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola.
6. Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe baakwatako, n'okuyinza ne batayinza kukwata Kuyitako ku lunaku olwo. Abantu abo ne bajja eri Musa ne Alooni
7. ne bamugamba nti, “Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe twakutteko; naye kiki ekitulobera okuwaayo ekiweebwayo kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?”
8. Musa n'abagamba nti, “Musooke muleke mmale okubuuza Mukama mpulire ky'anaalagira ku mmwe.”
9. Awo Mukama n'agamba Musa nti,
10. “Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omuntu yenna ku mmwe oba mu mirembe gyammwe, bw'anaabanga nga si mulongoofu olw'okukwata ku mulambo, oba bw'anaabanga atambudde olugendo olw'ewala, n'oyo naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama.
11. Mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, akawungeezi, kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukusiddwa n'enva ezikaawa.
13. Omuntu yenna omulongoofu, ate nga tali mu lugendo, ataakwatenga Kuyitako mu ntuuko zaakwo, era ataaweengayo kiweebwayo kya Mukama ekyalagirwa, anaabeerangako ekibi kye, era takkirizibwenga kukwata Kuyitako mu mwezi ogwokubiri.
14. Mu nnaggwanga ali mu mmwe bw'anaayagala okukwata okuyitako eri Mukama ng'etteeka ly'okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe kuli, anaakolanga bwatyo. Etteeka linaabanga limu eri munnaggwanga n'omuzaaliranwa.”
15. Awo ku lunaku Eweema kwe yasimbirwa, ekire ne kibikka ku Weema ey'obujulirwa; era akawungeezi ne kiba ku weema ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya.
17. Era buli ekire lwe kyaggibwanga ku Weema, abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula; ate mu kifo ekire we kyayimiriranga, abaana ba Isiraeri we baasiisiranga.
18. Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama; ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku Weema basigalanga mu lusiisira.
19. Era ekire bwe kyamalanga ennaku nnyingi ku Weema, abaana ba Isiraeri bakwatanga ekiragiro kya Mukama ne batatambula.
20. Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, olwo ng'abaana ba Isiraeri baasigala mu lusiisira ne batatambula. Ekire bwe kyaggibwanga ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne batambula.
21. Era oluusi ekire kyabangawo okuva akawungeezi okutuusa ku makya. Bwe kyaggyibwangawo ku makya, ne batambula. Oba bwe kyabangawo emisana n'ekiro, era kyamalanga kuggyibwawo ne balyoka batambula.
22. Ekire bwe kyabikkanga ku weema okumala ennaku bbiri, oba mwezi oba mwaka, abaana ba Isiraeri baasigalanga mu lusiisira nga tebatambula, naye bwe kyaggyibwangako olwo ne balyoka batambula.
23. Baasiisiranga era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yabakuutira, okuyita mu Musa.
1. Mukama n'agamba Musa nti,
2. “Weeweeseze amakkondeere abiri ga ffeeza; ganaabanga ga kuyita kibiina, era n'okutambuza olusiisira.
3. Era bwe banaagafuuwanga gombi, ekibiina kyonna kinaakuŋŋaaniranga gy'oli ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
5. Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ensiisira eziri ku ludda lw'ebuvanjuba banaatandikanga okutambula.
6. Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu omulundi ogwokubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiikaddyo zinaatambulanga. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu olw'okulagira abantu okutambula.
8. Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakkondeere; era ganaabanga gye muli etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
9. Era bwe munaatabaalanga omulabe abajooga mu nsi yammwe, munaafuuwanga amakkondeere nga mugasirisaamu; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, naye anaabalokolanga okuva eri balabe bammwe.
10. Ku lunaku olw'essanyu lyammwe ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, n'emyezi gyammwe we ginaatandikiranga, munaafuuwanga amakkondeere ago ku biweebwayo byammwe ebyokebwa ne ku ssaddaaka ez'ebyammwe ebiweebwayo olw'emirembe; era ganaabanga gye muli ekijjukizo mu maaso ga Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe.
11. “Awo olwatuuka mu mwaka ogwokubiri, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, ekire ne kiggibwa kungulu ku Weema ey'obujulirwa.
12. Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani.
19. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Simyoni yali Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
20. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Gaadi yali Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
21. Abakokasi ne beetikkanga ebintu ebitukuvu. We baatuukiranga, basanga nga Weema emaze okusimbibwa.
22. Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi.
23. Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
24. Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Benyamini yali Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
25. Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembangayo mu ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
26. Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Aseri yali Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
27. N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Nafutaali yali Akira mutabani wa Enani.
28. Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali nga batambula.”
29. Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu tugende ffenna tunakuyisanga bulungi; kubanga Mukama yasuubiza Isiraeri ebirungi.
30. N'amuddamu nti, “Sijja kugenda: naye kanzireyo mu nsi y'ewaffe eri baganda bange.”
31. N'amugamba nti, “Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tusiisira mu ddungu era ggwe maaso gaffe.
10. Kubanga obulamu bwange mbumaze mu buyinike. n'emyaka gyange ngiyiseemu mu kusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'obuyinike bwange, n'amagumba gange gakozze.
30. Ne bavaayo, ne bayita mu Ggaliraaya, n'atayagala muntu yenna kutegeera.
31. Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa be nga abagamba nti, “ Omwana w'omuntu aliweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.”
32. Naye tebaategeera kigambo ekyo, ne batya okumubuuza.
33. Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti, “Mubadde muwakana ki mu kkubo?”
34. Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti, “ani omukulu.”
35. N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti, “Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.”
36. N'addira omwana omuto, n'amuyimiriza wakati mu bo: awo n'amuwambaatira n'abagamba nti,
37. “Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.”
38. Awo Yokaana n'amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo ne tumugaana, kubanga yali tayita naffe.”
39. Naye Yesu n'agamba nti, “ temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangwago n'anvuma.
40. Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe.
41. Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.
42. Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja.
43. Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira;
44. envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
45. N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi;
46. envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
47. N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi;
48. envunyu yaabwe gye tefiira, so n'omuliro teguzikira.