Bible in one year

1. Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama, bwe yamala okufa, Mukama n'agamba Yoswa, omwana wa Nuuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti,
2. “Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.
3. Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnasuubiza Musa.
4. Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba esalo yammwe.
5. Tewalibeera muntu yenna aliyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo; nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.
6. Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olisobozesa abantu bano okusikira ensi eno gye nnalayirira okuwa bajjajjaabwe.
7. Naye mala okuddamu amaanyi, n'okuguma ennyo omwoyo, weekuumenga okole ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange, ge yakulagira. Togaviirangako ddala n'akatono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.
8. Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoolezangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebikiwandiikiddwamu; kubanga bw'otyo bw'onooterezanga ekkubo lyo era bw'otyo bw'onooweebwanga omukisa.
9. Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.”
10. Yoswa n'alyoka alagira abakulembeze b'abantu nti,
11. “Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu nti, ‘Mwetegekere emmere; kubanga mu nnaku ssatu mugenda kusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okubeeramu.’ ”
12. Yoswa n'agamba ab'ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase nti
13. “Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabagamba, ng'ayogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky'okuwummula, era alibawa ensi eno.’
14. Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balisigala mu nsi eno Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye abasajja bonna abazira, abalwanyi, balisomoka nga bakutte eby'okulwanyisa byabwe nga bakulembeddemu baganda baabwe;
15. okutuusa Mukama lw'alimala okuwa baganda bammwe ekiwummulo, awamu nammwe, olwo n'abo baatwale ensi Mukama, Katonda wammwe gy'abawa bo. Olwo ne mulyoka muddayo mu butaka bwammwe bwe mwafuna ebuvanjuba bw'Omugga Yoludaani, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.”
16. Ne bamuddamu Yoswa nti, “Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga.
17. Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo; kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa.
18. Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga; naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
1. Yoswa omwana wa Nuuni n'atuma abantu babiri mu nkiso okuva mu Sittimu, ng'ayogera nti, “Mugende, mukette ensi naddala Yeriko.” Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.
2. Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti, “Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi.”
3. Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti, “Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo; kubanga bazze okuketta ensi yonna.”
4. Naye omukazi n'abatwala bombi, n'abakweka; n'ayogera nti, “Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nnabadde simanyi gye bavudde;
5. awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda; abantu gye bazze simanyi, mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.”
6. Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako obuti obw'obugoogwa, bwe yali ateeseteese obulungi ku kasolya.
7. Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko, abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.
8. Bo nga tebanneebaka, n'alinnya gyebali ku kasolya;
9. n'agamba abantu nti, “Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna batekemuse ku lwammwe.
10. Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi, be mwazikiririza ddala.
11. Naffe bwe twakiwulira, emitima gyaffe ne giryoka gitekemuka, so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna, ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.
12. Kale kaakano, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi, nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero akankakasa ekyo,
13. era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa.”
14. Abantu ne bamugamba nti, “Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe! bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino, awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.”
15. Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwataganye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeeranga ku bbugwe.
16. N'abagamba nti, “Mugende ku lusozi, ababagoberedde baleme okubasanga; era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa ababagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.”
17. Abantu ne bamugamba nti, “Tetulimenya kirayiro kyo kino ky'otulayizizza.
18. Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu; era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.
19. Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango; era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango, era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna.
20. Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino, tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.”
21. N'ayogera nti, “Ng'ebigambo byammwe bwe biri, kibeere bw'ekityo.” N'abasindika, ne bagenda, n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa.
22. Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo, kubanga, abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba.
23. Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako.
24. Ne bamugamba Yoswa nti, “Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna batekemukira ddala mu maaso gaffe.”
1. Wa mukisa oyo alumirwa abaavu; Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi.
2. Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi. Taweebwengayo eri abalabe be okumukola bye baagala.
3. Mukama anaamujjanjabanga ng'ali ku kitanda alwadde. Anaawonyezebwanga obulumi bwe bwonna.
4. N'agamba nti, “Ayi Mukama, onsaasire, Omponye, kubanga nnyonoonye ggwe.
5. Abalabe bange banjogerako obubi nti, ‘Alifa ddi, erinnya lye ne libula?’
6. Abajja okundaba, boogera ebitaliimu. Banoonya ebibi eby'okunjogerako, Bwe bava wendi, nebabyogera buli wantu.
7. Bonna abankyawa bangeyera wamu: Ebisinga obubi bye bandowoozaako.
8. Boogera nti, ‘Endwadde embi emukutte, Kaakano nga bw'agalamidde, tagenda kuwona.’
9. Era ne munnange, mukwano gwange, nze gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, Anefuulidde.
10. Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, omponye, Ndyoke mbawoolere eggwanga.
11. Ntegedde nga onjagala, Kubanga omulabe wange tampangudde.
12. Onywezeza olw'obutuukirivu bwange, Ontadde mu maaso go ennaku zonna.
13. Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.”
15. Obutegeevu buleetera omuntu okuganja; Naye ekkubo lya b'enkwe, libaleetera okuzikirira.
16. Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya; Naye omusirusiru ayolesa obutamanya bwe.
26. Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagoba ku nsi y'Abagerasene etunuulidde e Ggaliraaya.
27. Awo bwe yava mu lyato n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni. Omusajja oyo yali amaze ennaku nnyingi nga tayambala lugoye, era nga ne mu nnyumba tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana.
28. Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “ Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza.”
29. Kubanga Yesu yali alagidde dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga yali amaze ebbanga ddene nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu.
30. Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'agamba nti, “ Liigyoni;” Kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu.
31. Badayimooni ne bamwegayirira aleme okubalagira okumuvaako okugenda mu bunnya.
32. Awo waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga zirya ku lusozi, badayimooni ne bamwegayirira abalagire baziyingiremu. N'abalagira.
33. Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi; eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku lusozi, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
34. Awo abasumba bwe baalaba ebibaddewo ne badduka ne babyogera mu kibuga ne mu byalo.
35. Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya.
36. N'abo abaalaba ne babuulira abalala bwe yakoleddwa oyo eyali akwatiddwa badayimooni.
37. N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gyebali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo.
38. Naye omuntu eyavaako badayimooni n'amwegayirira abeere naye; naye Yesu n'amusiibula ng'agamba nti,
39. “Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu.” N'agenda ng'abuulira ekibuga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera.
40. Awo Yesu bwe yakomawo, ekibiina ne kimwaniriza n'essanyu; kubanga bonna baali nga bamulindiridde.
41. Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye:
42. kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga wa myaka ekkumi n'ebiri (12), oyo yali ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza.
43. N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12), ng'awadde abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna,
44. oyo n'ajja emabega wa Yesu, n'akoma ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangwago ekikulukuto kye ne kikalira.
45. Yesu n'abuuza nti, “ Ani ankomyeko?” Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti, “ Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza.” Era ogamba nti, “Ani ankomyeko?”
46. Naye Yesu n'agamba nti, “Omuntu ankomyeko: kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvuddemu.”
47. Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'afukamira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, era ne bw'awonye amangwago.
48. Yesu n'amugamba nti, “ Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.”
49. Awo Yesu yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'agamba omukulu oyo nti, “Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza.”
50. Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti, “ Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu.”
51. Awo bwe yatuuka ku nnyumba n'ataganya muntu mulala kuyingira naye wabula Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne kitaawe w'omuwala ne nnyina.
52. Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; Yesu n'abagamba nti, “ Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo.”
53. Ne bamusekerera nnyo, kubanga baamanya ng'afudde.
54. Yesu n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “ Omuwala, golokoka.”
55. Omwoyo gwe ne gukomawo n'ayimirira amangwago. N'alagira okumuwa eky'okulya.
56. Abazadde be ne bawuniikira; naye ye n'abakuutira baleme kubuulirako muntu yenna ebibaddewo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.