Bible in one year

1. Muwulire kino, mmwe bakabona! era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka! musaliddwa omusango okubasinga mmwe; kubanga mwafuuka ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa n'ekitegebwa ku Taboli.
2. Era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza bonna.
3. Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa; kubanga kaakano, ayi Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiraeri ayonoonese.
4. Ebikolwa byabwe tebibaganya kukyukira Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama.
5. Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa mu maaso ge; Efulayimu alyesittala olw'omusango ggwe; Yuda alyesittalira wamu nabo.
6. Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama, naye tebalimulaba; kubanga abavuddeko.
7. Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana abatali babe; kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.
8. Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama, mulaye eŋŋoma e Besaveni; mukankane ayi Benyamini.
9. Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okuweerwako ekibonerezo; wakati mu bika bya Isiraeri nnangirira ebikakafu.
10. Abakungu ba Yuda baafuse ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo; kubo ndibayiwako obusungu bwange ng'amazzi.
11. Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okugoberera ebitaliimu.
12. Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda.
13. Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka omukulu, kyokka tayinza kubawonya, wadde okuvumula ekiwundu kyammwe.
14. Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento, eri ennyumba ya Yuda; nze, nze mwene, nditaagulataagula ne nvaawo; ndibatwalira ddala so tewaliba wa kubawonya.
15. Ndiddayo nate mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange, era mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya nga bagamba nti:
1. “Mujje tudde eri Mukama; kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya; ye yatufumita; era ye alitunyiga.
2. Oluvannyuma lwe nnaku bbiri alituzaamu obulamu, ku lunaku olwokusatu alitusitula, tulyoke tubeera balamu mu maaso ge.
3. Tusobozese okumanya, tusobozese okunyiikira okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkakakkalira ng'enkya; alijja gyetuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi bwefukirira ettaka.”
4. Naakukola ntya, ayi Efulayimu? Naakukola ntya ayi Yuda? Okwagala kwo kuliŋŋaanga ekire eky'enkya, ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali.
5. N'olwekyo mbatemyeteme nga nkozesa bannabbi, mbassiza ne bigambo eby'omu kamwa kange, era n'omusango gwange galiŋŋaanga ekitangaala.
6. Kubanga njagala okwagala okutuukiridde so si ssaddaaka; okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7. Naye bo, era nga Adamu basobezza endagaano: era bankuusizzakuusizza.
8. Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi.
9. Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe biteega omusajja, bw'ekityo n'ekibiina ekya bakabona bwe kyekuŋŋaanya awamu; batemulira abantu mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obutemu.
10. “ Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve; obwenzi bwa Efulayimu buli eyo, Isiraeri ayonoonese.
11. Era naawe, ayi Yuda, okukungula kutegekeddwa, bwe ndikomyawo emikisa gy'abantu bange.”
1. Ayi Mukama, wannoonya nze, wammanya.
2. Omanyi bwe ntuula, era ne bwe ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.
3. Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna.
4. Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, Ayi Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala.
5. Onzingizizza mu maaso n'emabega, Era ontaddeko omukono gwo.
6. Okumanya okuliŋŋaanga okwo kwa kitalo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako.
19. Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.
1. Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye Kristo, ng'azaaliddwa Katonda, na buli ayagala eyazaala ayagala n'oyo gwe yazaala.
2. Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola ebiragiro bye.
3. Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye, era ebiragiro bye tebizitowa.
4. Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe.
5. Era awangula ensi ye ani, wabula akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda?
6. Oyo ye yajja n'amazzi n'omusaayi, Yesu Kristo; si na mazzi gali gokka, naye n'amazzi gali n'omusaayi guli.
7. Era Omwoyo yategeeza, kubanga Omwoyo ge mazima.
8. Kubanga abategeeza bali basatu, Omwoyo n'amazzi n'omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu.
9. Bwe tukkiriza okutegeeza kw'abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kusinga obukulu, kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby'Omwana we.
10. Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng'amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw'ategeezezza eby'Omwana we.
11. Era okutegeeza kwe kuno nti, Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we.
12. Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
13. Ebyo mbiwandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda.
14. Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira.
15. Era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.
16. Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa; ekyo si kye njogerako okukisabiranga.
17. Buli ekitali kya butuukirivu kibi, era waliwo ekibi ekitali kya kufa.
18. Tumanyi nga buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi; naye eyazaalibwa Katonda amukuuma, omubi n'atamukwatako.
19. Tumanyi nga tuli ba Katonda, n'ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi.
20. Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo.
21. Abaana abato, mwekuumenga ebifaananyi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.