1. Abantu ne beemulugunyinyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako; Mukama n'abawulira, obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwaka mu bo ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira.
2. Abantu ne bakaabirira Musa; ne Musa n'asaba Mukama, omuliro ne guzikira
3. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera; kubanga omuliro gwa Mukama gwa yakira mu bo.
4. Awo ekibiina ky'abannamawanga ekyali mu bo ne batandika okwoya ennyo nga beegomba okulya ku nnyama; n'abaana ba Isiraeri nabo ne beemulugunya nga bagamba nti, “Ani anaatuwa ennyama okulya?
5. Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n'ensujju n'enva n'obutungulu ne katungulu ccumu.
7. Era emmaanu yaliŋŋanga obusigo obutono nga bweruyeru.
8. Abantu ne bagenda ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu ne bagiggyamu emigaati; n'okuwooma kwayo kwaliŋŋaanga okuwooma kw'emigaati egisiikiddwa mu mafuta.
9. Era omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro, n'emmaanu n'egwiranga wamu nagwo.
10. Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala.
11. Awo Musa n'agamba Mukama nti, “Kiki ekikunkozezza obubi bw'otyo, era lwaki tonsasiide, n'okussa n'onzisaako omugugu gw'abantu bano bonna.
15. Oba nga bw'oti bw'ogenda okunkola, nkwegayiridde, nsaasira, onzitire ddala mangu kaakano, nneme kulaba nnaku bwe nti.”
16. Mukama n'agamba Musa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde ba Isiraeri, b'omanyi nga bakulu era abakulembeze abassibwamu ekitiibwa; obaleete ku weema ey'okusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.
17. Nange nnakka ne njogerera naawe eyo; era n'atoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu awamu naawe, gulemenga kubeera ku ggwe wekka.”
18. Era gamba abantu nti, “Mwetukulize olunaku olw'enkya, era munaalya ennyama kubanga Mukama awulidde okukaaba kwammwe nga mwemulugunya nti ani anaatuwa ennyama okulya? Kubanga mugamba nti twali bulungi mu Misiri; Mukama ky'anaava abawa ennyama ne mulya.
19. Temugiriireko lunaku lumu, oba bbiri, oba ttaano, oba kkumi, wadde abiri;
20. naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa; kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwemulugunya nti, ‘twaviiraki e Misiri?’ ”
21. Musa n'agamba nti, “Abantu be ndi nabo, abasajja abatambuza ebigere bawera emitwalo nkaaga (600,000), naye ogambye nti ndibawa ennyama bagiriireko omwezi omulamba!
23. Mukama n'agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama guyimpawadde? Kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli oba nedda.”
24. Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama; n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema.
25. Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku Musa; n'aguteeka ku bakadde ensanvu (70) awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne balekera awo.
26. Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema, ne balagulira mu lusiisira.
27. Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa, n'agamba nti, “Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira.”
28. Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange Musa, bagaane.”
30. Musa n'abakadde ba Isiraeri ne baddayo mulusiisira.
31. Embuyaga n'eva eri Mukama, n'ereeta enkwale okuva mu nnyanja nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mikono ebiri okuva ku ttaka, n'ezisuula okwetooloola olusiisira, mu bbanga nga lya lugendo lwa lunaku olumu.
32. Abantu ne bagenda ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya n'olunaku olwaddirira nga bakuŋŋaanya enkwale. Eyakuŋŋaanya entono, yakuŋŋaanya Komeri kkumi; ne bazaanika wonna okwetooloola olusiisira.
33. Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'abasuulamu kawumpuli.
34. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kiberosukataava, kubanga we baaziika abantu abaaluvuwalira ennyama.
35. Abantu ne basitula e Kiberosukataava ne batambula ne bagenda e Kazerosi; ne basiisira eyo.
1. Awo Miryamu ne Alooni ne boogera bubi ku Musa kubanga yawasa omukazi Omukuusi.
2. Ne boogera nti, “Mazima ddala Mukama yayogerera mu Musa yekka? Tayogerera mu ffe?” Mukama n'abiwulira.
3. Naye omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.
4. Mukama n'ayogera mangu ago ne Musa ne Alooni ne Miryamu nti, “Mwensatule mufulume mujje ku Weema ey'okusisinkanirangamu.” Awo bonsatule ne bafuluma.
5. Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'eweema, n'ayita Alooni ne Miryamu; bombi ne basembera.
6. N'ayogera nti, “Muwulire nno ebigambo byange; mummwe bwe munaabangamu nnabbi, neeyolekanga gy'ali mu kwolesebwa oba nnaayongeranga naye mu kirooto.
7. Naye eri omuddu wange Musa si bwe kiri bwe kityo; oyo nnamukwasa ennyumba yange yonna.
8. Oyo njogera naye maaso n'amaaso, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'enfaanana yange agiraba. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muddu wange Musa?”
9. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bo; n'avaawo.
10. Ekire ne kiva waggulu ku weema; era laba, Miryamu ng'aliko ebigenge, ng'atukula ng'omuzira. Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, nga agengewadde!
11. Alooni n'agamba Musa nti, “Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era tukoze ekibi.
12. Nkwegayiridde ono tomuleka kuba ng'omwana azaalibwa ng'afudde, n'omubiri gwe nga guvunzeeko ekitundu.”