1. Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka.
2. Oluvannyuma lwe nnaku ssatu abakulembeze ne bayita wakati mu lusiisira;
3. ne balagira abantu, nga boogera nti, “Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera.
10. Yoswa n'ayogera nti, “Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.
12. Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri (12) mu bika bya Isiraeri, buli kika omu.
13. Awo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gayimirizibwa okukulukuta, amazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.”
14. Awo, abantu bwe baava mu weema zaabwe, okusomoka Yoludaani, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano nga bakulembedde abantu;
15. era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula),
16. amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne getuuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani; n'ago agakka ku nnyanja ey'e Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.
17. Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.
2. “Mwerondere abasajja kkumi na babiri (12), mu buli kika omu,
3. era mubalagire, balonde amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, mu kifo kye nnyini bakabona we baayimiridde mugatwale mugateeke mu kifo kye munaasulamu ekiro kino.”
4. Awo Yoswa n'ayita abasajja kkumi na babiri (12), be yateekateeka mu baana ba Isiraeri, mu buli kika omu;
5. Yoswa n'abagamba nti, “Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, buli muntu mu mmwe asitule ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli.
6. Ako kabeere akabonero mu mmwe, abaana bammwe bwe banaabuuzanga mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti, ‘Amayinja gano amakulu gaago ki? ’ ”
7. “Kubanga amazzi ga Yoludaani gaavaawo ne gasegulira essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yayita mu Yoludaani; era amayinja gano galibeera ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.”
8. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira, ne balonda amayinja kkumi n'abiri (12) wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagateeka mu kifo mwe baasula.
9. Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira; era weegali ne kaakano.
10. Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa; abantu ne banguwa okusomoka.
11. Awo, abantu bonna bwe baamala okusomoka bakabona abaali n'Essanduuko ya Mukama nabo ne balyoka basomoka, ne batambula ne bakulemberamu abantu.
12. Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri nga bakutte eby'okulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba;
13. abantu ng'emitwalo ena (40,000) abeeteeseteese okulwana olutalo ne bayita mu maaso ga Mukama mu lusenyi olw'e Yeriko.
14. Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso g'Abaisiraeri bonna; ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa, ennaku zonna ez'obulamu bwe.
15. Mukama n'agamba Yoswa ng'ayogera nti,
16. “Lagira bakabona abasitula essanduuko ey'obujulirwa bambuke okuva mu Yoludaani.”
2. Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, omulamu. Ndijja ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda?
3. Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, So nga abantu baŋŋamba obudde okuziba nti, “Katonda wo ali luda wa?”
4. Bino mbijjukira, ne nzijjayo ebiri mu mmeeme yange, Engeri gye nnagenda n'ekibiina ky'abantu, ne mbakulemberamu okugenda mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza ekyekuuma ebijjaguzo.
5. Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange,
12. Awo enjuba yali egolooba; abo ekkumi n'ababiri (12) ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Siibula ekibiina bagende mu mbuga ne mu byalo eby'okumpi bafune aw'okusula, banoonye n'eby'okulya; kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”