Bible in one year

1. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja e Yerusaalemi amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu, yajja n'abaddu bangi nnyo, n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka ewa Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe.
2. Awo Sulemaani n'amuddamu byonna bye yamubuuza: tewali kintu na kimu ekyakaluubirirwa Sulemaani okumunnyonnyola.
3. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
4. n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe yalinnyangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira.
5. N'agamba kabaka nti, “Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange ku bikolwa byo n'amagezi go, kyali kituufu.
6. Nange sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'amaaso gange. Byenawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'amagezi go, osinga ettutumo lye nnawulira.
7. Abasajja bo nga balina omukisa, abaddu bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera.
8. Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyakusiima naakuteeka ku ntebe okuba kabaka ofuge mu linnya lye, kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri, abantu be, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okuume amateeka n'amazima.”
9. Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri (120), n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: era tewaabaawo bya kaloosa eby'enkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Sebba bye yatonera kabaka Sulemaani.
10. Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleeta zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta embaawo ez'emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi.
11. Kabaka n'akozesa embaawo ez'emitoogo okuzimba amadaala g'ennyumba ya Mukama, n'ennyumba ya kabaka, era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Waali tewalabikanga bintu biringa ebyo mu Yuda.
12. Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba kyonna, nga tobaliddeeko ebyo ye bye yamuwa olw'ebirabo naye bye yali amutonedde. Awo kabaka omukazi n'abaddu be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.
13. Zaabu Sulemaani gwe yafunanga mu mwaka ogumu yawezanga obuzito talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
14. nga tobaliddeeko oyo abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa gwe baaleetanga. Bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abafuzi b'ebitundu bya Isiraeri, nabo ne baleeteranga Sulemaani zaabu n'effeeza.
15. Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) mu zaabu, nga buli emu ya zaabu aweza sekeri lukaaga (600).
16. Era n'aweesa engabo entono bisatu (300) mu zaabu, nga buli ngabo ya zaabu wa sekeri bisatu (300). Kabaka zonna n'aziteeka kisenge ekiyitibwa, Ekibira kya Lebanooni.
17. Kabaka era n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agibikkako zaabu omulungi ennyo.
18. Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe, ekirinnyibwako ebigere kyali kya zaabu, era nga kisibiddwa ku yo. Entebe era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi, era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, ku mabbali waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde.
19. N'ebifaananyi by'empologoma eziyimiridde ebirala kkumi na bbiri, byali biteekeddwa eruuyi n'eruuyi ku buli nkomerero ya madaala ago omukaaga. Waali tewabangawo ntebe yonna ya kabaka efaanana ng'eno.
20. Ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Sulemaani, ffeeza teyatwalibwanga nga ekintu eky'omuwendo.
21. Kabaka yalina empingu y'amaato eyaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; empingu yakomangawo mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereese zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne zimuzinge.
22. Bwatyo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi.
23. Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Sulemaani, okuwulira amagezi ge Katonda ge yali amuwadde.
24. Buli muntu eyajjanga gyali buli mwaka ng'amuleetera ekirabo: ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, ebyambalo n'eby'okulwanyisa, n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu.
25. Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya (4,000) eby'embalaasi n'amagaali gaazo, abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), be yateeka mu bibuga eby'amagaali, abamu kubo nga babeera naye mu Yerusaalemi.
26. Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo eya Misiri.
27. Mu biseera bye Kabaka y'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule olw'obungi bwagyo n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu bya Yuda.
28. Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna.
29. Ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu byalangibwa Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi era kwali kukwata ne ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati.
30. Sulemaani yafugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka ana. (40)
1. Awo Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka.
2. Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyali adduse Sulemaani n'agenda e Misiri bwe yakiwulira n'ava mu Misiri n'akomawo.
3. Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isiraeri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti,
4. “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe bwonowewula ku buzito obwo, n'otukendereza ku kikoligo ekyo kye yatuteekako, naffe tunaakuweerezanga.”
5. Lekobowaamu n'abaddamu nti, “Mumpeeyo ennaku ssatu ndowooze ku nsonga eyo, mulyoke mukomewo gye ndi nate.” Abantu ne bagenda.
6. Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaawanga Sulemaani kitaawe amagezi ng'akyali mulamu, n'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okubaddamu abantu bano?”
7. Ne bamuddamu nti, “ Bw'onoobera ow'ekisa eri abantu bano, n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, nabo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.”
8. Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'agenda ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye, era abaali bamuweereza.
9. N'ababuuza nti, “Mumpa magezi ki mmwe okuddamu abantu abaŋŋambye nti, ‘Wewula ku ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
10. Awo abavubuka abakula naye, ne bamugamba nti, “Gamba abantu abo abakugambye nti,‘Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe tukikenderezeko,’ nti, ‘Nnasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11. Kale nno oba kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze nnaakyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.’ ”
12. Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olwokusatu, nga kabaka bwe yali abalagidde okudda gy'ali ku lunaku olwokusatu.
13. Awo kabaka Lekobowaamu n'abaddamu n'ebboggo, n'aleka amagezi abakadde ge baamuwa,
14. n'agoberera amagezi abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti, “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nnaakyongerangako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.”
15. Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu: kubanga ekyo Katonda kye yayagala, alyoke atuukirize ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ng'ayita mu Akiya Omusiiro.
16. Awo Abaisiraeri bonna bwe baalaba nga kabaka tabawuliririza, ne bagamba nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? Era mutabani wa Yese agenda kutuwa ki? Kale mmwe Abaisiraeri, buli muntu addeyo ewaabwe. Mwe ennyumba ya Dawudi mwerabirire.” Awo Abaisiraeri bonna ne baddayo ewaabwe.
17. Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18. Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze eri Abaisiraeri, abaana ba Isiraeri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya eggaali lye, n'addukira e Yerusaalemi.
19. Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero.
7. Tukomyewo gy'oli, Ayi Katonda ow'eggye; Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
8. Waggya omuzabbibu mu Misiri, Wagobamu amawanga, n'ogusimba.
9. Wasaawa mu maaso gaagwo, Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi.
10. Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo, N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda.
11. Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga.
12. Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?
13. Embizzi ez'omu kibira zigwonoona, N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako.
16. Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.
17. Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu.
18. Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era lwananga olutalo ng'okulemberwa amagezi.
1. Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani.
2. Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.
3. Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.
4. Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume.
5. Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,
6. bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo:
7. ne babeera eyo nga babuulira Enjiri.
8. Mu Lusitula yaliyo omuntu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono.
9. Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka,
10. n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “ Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.”
11. Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti, “ Bakatonda basse gyetuli nga bafaanana abantu.”
12. Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera.
13. Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina.
14. Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu
15. nga bagamba nti, “ Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu:
16. mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago:
17. naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n'ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.”
18. Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka.
19. Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
20. Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olwokubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube.
21. Bwe baamala okubuulira Enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,
22. nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
23. Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.
24. Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya.
25. Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya;
26. ne bavaayo ne bawunguka ne batuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.
27. Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.
28. Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.