Bible in one year

1. “Koowoola nno, ani anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira akuyambe?
2. Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru, N'obuggya butta atalina magezi.
3. Nnalaba omusirusiru nga ye nyweza, Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu.
4. Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, Era tewaba abawonya.
5. Abayala balya byakungula, Baggyayo ne biri eyo mu maggwa, Ab'omululu beegomba obugagga bwe.
6. Kubanga obuyinike tebuva mu nfuufu, Ne nnaku teva mu ttaka;
7. Naye abantu bazaalirwa kulaba obuyinike, Ng'ensasi bwe zimansukira mu bbanga.
8. Singa nze ggwe, nnandinoonyeza Katonda, Era oyo gwe nandyanjulidde ensonga yange:
9. Akola ebikulu ebitategeerekeka, N'eby'amagero ebitabalika:
10. Atonnyesa enkuba ku nsi, N'afukirira amazzi ku nnimiro:
11. Agulumiza abeetoowaza, N'abo abakungubaga n'abawa essanyu.
12. Affaffaganya enkwe ez'abakalabakalaba; Ne batayinza kutuukiriza bye bategeka.
13. Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe. Era akomya mangu okuteesa kwa b'enkwe.
14. Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro.
15. Katonda awonya abanaku okuttibwa, Alokola abali mu bwetaavu okuva mukunyigirizibwa ab'amaanyi.
16. Olwo abaavu ne baba n'essuubi, Ababi ne babunira.
17. Laba, aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kukangavvulwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna.
18. Kubanga ye alumya, era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze ze ziwonya.
19. Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, ku gw'omusanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako.
20. Mu njala anaakuwonyanga okufa. Ne mu ntalo anaakuwonyanga okuttibwa ekitala.
21. Anaakuwonyanga abakuwaayiriza. Era tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.
22. Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; Era tootyenga nsolo z'omu ttale.
23. Kubanga mu nnimiro yo temuubeenga mayinja; N'ensolo ez'omu nsiko teziikulumbenga.
24. Oneekakasanga nti mu nnyumba oli mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo nga tekuliiko ebuze.
25. Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo lya kwala. Lyeyongere ng'omuddo ogw'oku ttale.
26. Olituuka mu ntaana yo ng'owangadde emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kireetebwa okuwuulwa.
27. Ebyo twabyekenneenya, ne tulaba nga bya mazima. Biwulire, obimanye olyoke obeere bulungi.”
1. Yobu n'ayanukula n'agamba nti,
2. “Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku yange n'eteekebwa ku minzaani wamu,
3. Zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja, Ebigambo byange kye kyenvudde mbyanguyiriza.
4. Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna bunnyingidde mu mubiri. N'obusagwa bwabwo bumbunye. Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.
5. Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo?
6. Ekitaliimu nsa kiriika nga tokirunzeemu munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma?
7. Emmeeme yange teyagala ku biryako, Biriŋŋaanga eby'okulya eby'omuzizo gye ndi.
8. Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba!
9. Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo!
10. Ekyo kyandinkubagiza, Olwo nandijaganyizza, olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu.
11. Amaanyi ge nnina galuwa nnyongere okuba omulamu? Ye obulamu bungasa ki obutalina ssuubi?
12. Ndi mugumu nga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo?
13. Sikyalina maanyi mu nze. Sikyalina kye nsobola okukola.
14. Ali mu buzibu yeetaaga mikwano gye okumukola eby'ekisa, Ne bw'aba alese Omuyinza w'ebintu byonna.
15. Baganda bange mu nnimbye ng'akagga akateesigwa. Ng'obugga obukalirakalira.
16. Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka:
17. Buli lwe bubuguma, nga bukalira, Omusana olwakako, tobulabako.
18. Abatambuze bakyama nga babunoonya. Batambulatambula mu ddungu ne bazikirira.
19. Abatambuze b'e Tema baabutunuulira. N'abatambuze b'e Seeba baabulinamu essuubi.
20. Baaswala kubanga baabwesigira bwereere. Bwe baabutuukako ne basoberwa.
21. Nammwe bwe mutyo bwe munfukidde: Mulaba ndi mu buzibu, ne mutya.
22. Mbagambye nti mumpe ekirabo? Oba nti Mutoole ku byammwe muweeyo enguzi ku lwange?
23. Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi?
24. Kansirike, mumpabule; Muntegeeze kye nnasobya.
25. Ebigambo ebituufu bimatiza. Naye empaka zammwe zigasa ki?
26. Mulowooza bye njogera tebiriimu nsa, Era njogedde nga sirina ssuubi?
27. Mwandikubidde ne mulekwa akalulu okumufuula omuddu, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba.
28. Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe.
29. Muddemu mwerowooze temunsibako kibi. Mbeegayiridde mwerowooze nate, ensonga yange ntuufu.
30. Waliwo ekitali kituufu kye njogedde? Siyinza kwawula kirungi na kibi?”
1. Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:
2. Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro.
3. N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi (10), era n'amadinda: N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga.
4. Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.
5. Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama! Ebirowoozo byo nga bye buziba nnyo.
6. Omuntu eyasiruwala tamanya kino, So nga n'omusirusiru takitegeera:
7. nti ababi ne bwe baloka ng'omuddo, Era nga abakozi b'obubi bonna bwe babeera; bateegekeddwa okuzikirira emirembe gyonna:
16. Anyigiriza omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga, tebalirema kwavuwala.
22. Tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.
23. Era si bitonde byokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe.
24. Kubanga twalokoka lwa kusuubira, naye ekisuubirwa ekirabika si kusuubira, kubanga ani asuubira ky'alabako?
25. Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n'okugumiikiriza.
26. Era bwe kityo Omwoyo atubeera mu bunafu bwaffe; kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka;
27. naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala.
28. Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.
29. Kubanga abo bonna be yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi.
30. Era abo be yayawula edda, abo era yabayita, era be yayita, yabawa obutuukirivu, era be yawa obutuukirivu, ekitiibwa.
31. Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe y'ani?
32. Ataagaana Mwana we ye, naye n'amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?
33. Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu;
34. ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.
35. Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? Kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala?
36. Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.”
37. Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala.
38. Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi,
39. newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.