Bible in one year

1. Ka Nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey'emizabbibu. Omwagalwa wange yalina ennimiro ey'emizabbibu ku lusozi olugimu ennyo.
2. Yalulima n'alusigulamu amayinja gaamu, n'alusimbamu emizabbibu emirungi ennyo, n'aluzimbamu wakati omunaala ogw'okukuumiramu, era n'alusimamu essogolero: n'asuubira nti lunamubalira ezabbibu ennungi naye ne lumubalira ezabbibu ez'omu nsiko.
3. Kale nno, mmwe abatuuze b'omu Yerusaalemi nammwe ab'omu Yuda, mutusalire omusango, mbeegayiridde, nze n'olusuku lwange olw'emizabbibu.
4. Kiki nate kye nandikoledde ennimiro yange eyo ey'emizabbibu kye ssaagikolera? Lwaki bwe nnasuubira ebale ezabbibu ennungi, yabala ezabbibu ez'omu nsiko?
5. Kale nno kaakano kambategeeze kye nnaakolera ennimiro yange eyo: nja ku giggyako olukomera lwayo, mmenyewo ekigo ekigikuuma ebisolo biriiremu era bigirinnyirire.
6. Nja kugizisa, terimwenga era tesalirwenga. Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa, era ndiragira ebire obutagitonnyesangako nkuba.
7. Ennimiro ey'emizabbibu eya Mukama ow'eggye ye nnyumba ye Isiraeri, n'abasajja ba Yuda kye kisimbe kye ekimusanyusa: yasuubiramu bwenkanya, naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye alaba kujooga na kukaabya bantu.
8. Zibasanze mmwe abagula ennyumba ne muzongera ku ezo ze mulina, era abongera ennimiro ku ezo ze mulina, okutuusa lwe munaamalawo buli kafo, ensi mugibeeremu mwekka.
9. Mukama ow'eggye alayidde nga mpulira nti, “ Mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukwa. Ezo ennene era ennungi, teziribeeramu azibeeramu.
10. Ennimiro y'emizabbibu eya yiika ekkumi (10), eneevangamu ekibbo kimu, ne kisero ky'ensigo kinaavangamu akabbo kamu kokka.”
11. Zibasanze abo abakeera enkya ku makya okunoonya ekitamiiza; abalwawo nga banywa okutuusa ettumbi omwenge ne gubalalusa.
12. Ennanga n'entongooli, ebitaasa n'endere, n'omwenge bibeera ku mbaga zaabwe. Naye tebalowooza ku ebyo Mukama by'akola wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13. Kale abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse kubanga babulwa okutegeera. Abantu baabwe ab'ekitiibwa balifa enjala, n'abantu baabwe bonna ennyonta eribatta.
14. Amagombe kye galiva gagaziya okwegomba kwago, ne gaasamya akamwa kaago okubamira. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n'abantu baabwe bangi ababadde bakola effujjo n'okukuba embeekuulo.
15. Buli muntu aliswazibwa, n'abamalala balitoowazibwa.
16. Naye Mukama ow'eggye aligulumizibwa olw'obwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw'ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17. Endiga ento ziryoke zirye ng'eziri mu malundiro gaazo, n'embuzi ento ziriire mu bifo ebyalekebwa awo.
18. Zibasanze abo abawalula ebibi byabwe, ng'abakulula ekigaali kye basibyemu omuguwa.
19. Aboogera nti, “Mukama ayanguyeeko, by'akola tubirabe. Enteekateeka z'Omutukuvu wa Isiraeri nazo zijje, zituuke tuzimanye.”
20. Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, n'ekirungi ekibi; abateeka ekizikiza mu kifo ky'omusana, n'omusana mu kifo ky'ekizikiza; abateeka ekikaawa mu kifo ky'ekiwoomerera, n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa!
21. Zibasanze abo abeemanyi bwe bali abagezi, era abakalabakalaba mu kulaba kwabwe bo!
22. Zibasanze abo abalina amaanyi okunywa omwenge, era abazira okutabula ekitamiiza:
23. abateeka obutuukirivu ku babi olw'enguzi, era abaggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe!
24. Kale ng'omuliro bwe gwokya ekisambu n'essubi ekkalu, bwe kityo ekikolo kyabwe bwe kirivunda, n'ekimuli kyabwe kirifuumuuka ng'enfuufu: kubanga baagaananga amateeka ga Mukama ow'eggye, era baanyoomanga ekigambo eky'Omutukuvu wa Isiraeri.
25. N'olwekyo obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuukira ku bantu be, era agolodde omukono gwe okubabonereza. Ensozi zijja kukankana, n'emirambo gyabwe gisigale ng'ebisasiro wakati mu nguudo. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, naye obusungu bwe tebunnaba kuggibwawo, n'omukono gwe gukyagoloddwa.
26. Aliwenya amawanga agali ewala, alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi, era balyanguwa mangu okujja.
27. Tewaliba mu bo akoowa newakubadde alyesittala okugwa; tewaliba abongoota newakubadde eyeebaka. Enkoba zaabwe ze b'esiba tezirisumulukuka, wadde obukoba bw'engatto zaabwe okukutuka.
28. Obusaale bwabwe bwa bwogi, n'emitego gyabwe gyonna mireege; ebinuulo by'embalaasi zaabwe bigumu ng'amayinja ag'embaalebaale, ne nnamuziga z'amagaali gaabwe zidduka nga mbuyaga.
29. Okuwuluguma kwabwe kuliba ng'empologoma, ekutte omuyiggo gwayo, ne gutwalira ddala awatali addukirira.
30. Olunaku olwo bwe lulituuka baliwuumira ku Isiraeri, ng'ennyanja bwewuuma. Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo, aliraba kizikiza na buyinike, n'ebire biriziyiza omusana okwaka.
1. Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nnalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu era engulumivu, n'ekirenge ky'ekyambalo kye nga kijjuzizza Yeekaalu.
2. Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri nga bibisse ku maaso ge, n'ebibiri nga bibisse ku bigere bye, n'ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka.
3. Omu n'ayogerera waggulu n'agamba munne nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow'eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
4. Eddoboozi ly'Oyo eyayogerera waggulu ne likankanya emisingi gy'emiryango, Yeekaalu n'ejjula omukka.
5. Ne ndyoka njogera nti, “Zinsanze! nfudde nze, kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno kaakano amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.”
6. Awo omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo;
7. n'alikomya ku mimwa gyange n'agamba nti, “Laba, lino likomye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.”
8. Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, ng'agamba nti, “Naatuma ani, Ani anaagenda ku lwaffe?” Nze ne nziramu nti, “Nze, nzuuno: tuma nze.”
9. N'aŋŋamba nti, “Genda obuulire abantu abo nti, ‘Okuwulira muwulira naye temutegeera; okulaba mulaba, naye temwetegereza.
10. Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, okukyuka, okuwonyezebwa.’ ”
11. Nze ne ndyoka mbuuza nti, “Mukama wange, ekyo kirituusa ddi okuba bwe kityo?” N'addamu nti, “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse amatongo, nga tewali babibeeramu, n'amayumba nga tegakyalimu bantu, n'ensi ng'ezikidde ddala.
12. Nze Mukama ndisengula abantu ne mbatwala ewala, ebifulukwa ne biba bingi mu nsi eyo.
13. Naye ekimu eky'ekkumi eky'abantu abo kiriba nga kikyasigaddewo. Newakubadde nga kiryokebwa, naye kiriba ng'omumyuliru oba ng'omuvule ogutemebwa, ne gusigazaawo ekikolo, ate ekyo ne kiba ensigo kwe gusibukira.”
23. Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri; Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu.
24. N'ayongera nnyo abantu be, N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe.
25. N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be, Okukuusakuusa abaddu be.
26. N'atuma Musa omuddu we, Ne Alooni gwe yalonda.
28. Tolumirizanga munno awatali nsonga: Era toyogeranga bya bulimba.
29. Toyogeranga nti, “Ndimukola nga ye bw'ankoze, Ndisasula omusajja oyo nga bw'ankoze”
29. Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? Oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo?
30. Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera?
31. Ab'oluganda, mpakanya, okwenyumiriza kwe nnina mu mwe, ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe, nange nfa buli lunaku.
32. Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa,“ tulye tunywe, kubanga tufa enkya.”
33. Temulimbibwanga, “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”
34. Muddemu amagezi, temuddamu kwonoona, kubanga abalala tebamanyi Katonda, njogedde kubakwasa nsonyi.
35. Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “ Abafu bazuukizibwa batya? Era mubiri ki gwe bajja nagwo?”
36. Musirusiru ggwe, ensigo gy'osiga temeruka nga tefudde,
37. ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala;
38. naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka.
39. Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja.
40. Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi, naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala.
41. Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala, kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa.
42. Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda:
43. gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi,
44. gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo.
45. Era bwe kityo kyawandiikibwa nti, “Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu.” Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.
46. Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo.
47. Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka, omuntu ow'okubiri yava mu ggulu.
48. Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bali bwe batyo, era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali, era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo.
49. Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu.
50. Naye kino kye ŋŋamba, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda; so okuvunda tekusikira butavunda.
51. Laba, kambabuulire ekyama: Ffenna tetulifa, naye fenna tulifuusibwa,
52. mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.
53. Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa.
54. Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti, “Okufa kumiriddwa mu kuwangula.
55. Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa?”
56. Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka:
57. naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58. Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.