12. N'ateeka mu bibuga ebyo byonna engabo n'amafumu, n'abinywereza ddala. Bwatyo n'afuga Yuda ne Benyamini.
13. Awo Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bava yonna gye baali babeera, ne bajja eri Lekobowaamu.
14. Abaleevi baaleka amalundiro gaabwe ag'okubibuga byabwe, ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba, ne babagaana okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama:
16. Awo abantu bonna ab'omu bika byonna ebya Isiraeri abaalina omutima ogwagala okusinza Mukama Katonda wa Isiraeri ne bagoberera Abaleevi, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17. Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, okumala emyaka esatu nga baatambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
18. Awo Lekobowaamu n'awasa Makalasi muwala wa Yerimoosi, mutabani wa Dawudi, ne nnyina nga ye Abikayiri muwala wa Eriyaabu, mutabani wa Yese,
19. n'amuzaalira abaana ab'obulenzi: Yewusi, Semaliya ne Zakamu.
20. Oluvannyuma n'awasa Maaka, muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya, Attayi, Ziza ne Seromisi.
21. Lekobowaamu n'ayagala Maaka, muwala wa Abusaalomu, okukira abakyala be abalala bonna n'abazaana be bonna. Bonna awamu yawasa abakazi kkumi na munaana (18), n'abazaana nkaaga (60). N'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu munaana (28) n'ab'obuwala nkaaga (60).
22. Lekobowaamu n'alonda Abiya, mutabani wa Maaka, okukulira baganda be bonna, ng'agenderera okumufuula kabaka.
23. Yakozesa amagezi, n'ateeka batabani be bonna mu bitundu byonna ebya Yuda ne n'ebya Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko ebigo. Y'abawa ebintu bingi nnyo, n'abawasiza abakazi bangi.
1. Awo Lekobowaamu bwe yamala okunywezebwa ku bwakabaka, n'aba n'amaanyi, ye wamu n'Abaisiraeri bonna ne bava ku mateeka ga Mukama.
2. Awo mu mwaka ogw'okutaano ogw'obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w'e Misiri n'alumba Yerusaalemi, kubanga baali bavudde ku Mukama.
15. Ebikolwa bya Lekobowaamu, bye yakola okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi. Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu olutata.
16. Lekobowaamu naafa, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
19. Abungeesa eŋŋambo, takuuma byama, Kale tomwesemberezanga oyo ali bwatyo.
20. Akolimira kitaawe oba nnyina, Aliba ng'ettaala ezikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi.
21. Bw'ofuna by'otosoose kuteganira, Ku nkomerero tebiba na mukisa.
1. Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti, “ Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.”
2. Bwe waali empaka ennyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n'abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n'abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n'abakadde olw'empaka ezo.
3. Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna.
4. Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekkanisa n'abatume n'abakadde ne babasembeza, ne babuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo.
5. Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti, “ Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.”
6. Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo.
7. Bwe waali okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti, “Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'Enjiri ne bakkiriza.
8. Ne Katonda amanyi emitima n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ffe;