1. Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona bwe baamenya ekiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; kubanga Akani, mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera, ow'omukika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyali eby'okuzikirizibwa; obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku baana ba Isiraeri.
2. Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda okuketta ekibuga Ayi, ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba bwa Beseri, n'abagamba nti, “Mugende mukette ekitundu ekyo.” Abantu ne bagenda ne baketta Ayi.
3. Awo ne bakomawo eri Yoswa, ne bamugamba nti, “Abantu bonna tekibeetaagisa kugendayo, wabula abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu (2,000 oba 3,000), bagende bakirumbe bakikube. Toteganya bantu bonna kugendayo, kubanga abaayo batono.”
4. Awo abalwanyi ng'enkumi ssatu (3,000), ne bagenda ne balumba Ayi, naye ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi.
5. Abasajja ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'asatu mu mukaaga (36), ne babagoba okubaggya ku wankaaki w'ekibuga okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa, emitima gy'Abaisiraeri ne giterebuka, ne giba ng'amazzi.
6. Awo Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olw'eggulo, ye n'abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe.
15. Awo olunaatuuka omuntu anaalondebwa mu nnyumba eyo n'asangibwa ng'akwese ekyo Mukama kye yalagira okuzikiriza, anaayokebwa omuliro ne by'alina byonna; kubanga anaaba amenye endagaano ya Mukama, era ng'akoze eky'obusirusiru mu Isiraeri.
16. Awo Yoswa n'agolokoka enkya ku makya, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; ekika kya Yuda ne kirondebwamu;
17. Mu kika kya Yuda ne mulondebwamu Enda ya Bazera; n'esembezebwa buli muntu kinnoomu; Zabudi n'alondebwamu.
18. Ennyumba ya Zabudi n'esembezebwa buli muntu kinnoomu. Ne Akani Mutabani wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera mu kika kya Yuda n'alondebwamu.
19. Yoswa n'agamba Akani nti, “Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri, omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.”
20. Akani n'addamu Yoswa n'ayogera nti, “Mazima nnyonoonye eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, era kino kye nnakola,
21. bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza bibiri (200), n'ekitole ekya zaabu ekigero kyakyo sekeri ataano (50), ne mbiyaayaanira ne mbitwala ne mbikweka mu ttaka wakati mu weema yange; ng'effeeza eri wansi wabyo.”
22. Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani; ne basanga ng'ebintu ebyo bikwekeddwa mu weema ye, ng'effeeza y'eri wansi.
23. Nabo ne babiggya yo wakati mu weema, ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
24. Awo Yoswa, n'Abaisiraeri bonna, ne batwala Akani, muzzukulu wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'ekitole kya zaabu, n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze, n'endiga ze, n'eweema ye, ne byonna bye yalina; ne babatwala mu kiwonvu Akoli.
5. Nze n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga; awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka okuva mu maaso gaabwe;
6. Bajja kutuwondera okutuusa nga tumaze okubasendasenda beesuule nnyo ekibuga. Bajja kulowooza nti tubadduse nga bwe twakola olwasooka;
7. nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne muwamba ekibuga; kubanga Mukama Katonda wammwe anaakibawa ne mukiwangula.
8. Awo, bwe munaamala okuwamba ekibuga, ne mu kyokya omuliro nga Mukama bwe yabagamba. Nze mbalagidde.”
9. Yoswa n'abasindika; ne bagenda we banaateegera, ne babeera wakati wa Neseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'e Ayi; naye ekiro ekyo, Yoswa n'asula n'abantu mu lusiisira.
10. Yoswa n'akeera enkya n'akuŋŋaanya abantu wamu n'abakadde ba Isiraeri, n'abakulembera ne bagenda e Ayi.
11. Abalwanyi bonna abaali naye, ne basembera mu maaso g'ekibuga ne basiisira ku luyi olw'obukiikakkono obwa Ayi; nga waliwo ekiwonvu wakati waabwe ne Ayi.
12. N'atwala abantu ng'enkumi ttaano (5,000), n'abateekateeka ne bategeera wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi lw'ekibuga olw'ebugwanjuba.
13. Bwe batyo bwe baateekateeka abalwanyi, eggye eddene lyali mu bukiikakkono obw'ekibuga, ate n'abateezi baabwe nga baali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa ye, n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu.
14. Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yalaba abalwanyi ba Yoswa, ye n'abantu be bonna ab'omukibuga ne bayanguwa ku makya okugenda okulwana ne Yoswa n'abalwanyi be abaali mu kiwonvu Alaba. Naye Kabaka teyamanya nti waaliwo abaali bamuteeze emabega w'ekibuga.
15. Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne beefuula ng'ababatidde ne baddukira mu kkubo ery'eddungu.
16. N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubawondera. Ne bagoba Yoswa; naye ne yeyongerayo okutuusa lwe beesuulira ddala ekibuga.
17. Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, ataagenda kugoba Isiraeri; ekibuga ne kisigala nga kiggule.
18. Mukama n'agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga nnaakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.”
19. Yoswa bwe yamala okugalula omuwunda, abateezi ne bafubutuka okuva we baali bateegedde, ne bayingira ekibuga, ne bakimenya mangu ne bakyokya omuliro.
20. Ab'e Ayi, abaali bagoba Yoswa, bwe baatunula emabega waabwe, ne balaba omukka oguva mu kibuga nga gunyookera mu bbanga ne baggwamu amaanyi nga tebalina wakuddukira. Awo Abaisiraeri be baali bagoba ne babakyukira okubalumba.
21. Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi baabwe bamenye ekibuga, nga n'omukka gunyooka mu kibuga awo nabo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi.
22. Abaisiraeri abaali mu kibuga ne bavaayo okubalumba; Abe Ayi ne babeera wakati mu ba Isiraeri eruuyi n'eruuyi; ne babakuba, obutaganya muntu n'omu okusigalawo newakubadde okudduka.
23. Kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa.
24. Awo, Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala ab'e Ayi abaali babawondedde mu ddungu ne baggweerawo ddala, ne balyoka bakomawo mu kibuga ne batta bonna abaali basigaddewo.
25. Abantu bonna abaali mu Ayi, abasajja n'abakazi abattibwa ku lunaku olwo, baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000).
27. Wabula ente n'ebintu ebirala byonna Abaisiraeri bye baggya mu kibuga, ne babyetwalira okuba omunyago ng'ekigambo kya Mukama kye yalagira Yoswa bwe kyali.
28. Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akireka nga matongo, ne kaakano.
29. Yoswa n'awanika kabaka we Ayi ku muti, okutuusa enjuba bwe yagwa. Awo n'alagira omulambo gwe okuggyibwa ku muti, ne bagusuula ku wankaaki w'ekibuga ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano.
30. Awo Yoswa n'alyoka azimbira Mukama, Katonda wa Isiraeri ekyoto ku lusozi Ebali.
31. N'akizimba ng'agoberera ebiragiro bya Musa omuweereza wa Mukama, bye yawa abaana ba Isiraeri, era nga bwe byawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka ga Musa nti, “Ekyoto kinaazimbibwanga n'amayinja amalamba agatayasibbwangako na kyuma kyonna.” Awo ne balyoka bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, n'ebiweebwayo eby'emirembe.
32. Awo Yoswa n'awandiika ku mayinja ago amateeka ga Musa ng'abaana ba Isiraeri balaba.
33. Awo abaana ba Isiraeri bonna, enzaalwa ne bannamawanga ababeera mu bo, n'abakadde baabwe, n'abaami, n'abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi lw'Essanduuko, nga batunuulidde bakabona Abaleevi, abasitudde Essanduuko eyo ey'Endagaano ya Mukama. Ekitundu kyabwe ekimu eky'okubiri, baayimirira nga batunuulidde olusozi Gerizimu, n'ekitundu ekirala nga batunuulidde olusozi Ebali. Bw'atyo Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira okusookanga okukola, nga bagenda okusabira abantu ba Isiraeri omukisa.
34. Oluvannyuma Yoswa n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimirwa, nga byonna bwe byawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka.
35. Tewaali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasomera kibiina ky'abaana ba Isiraeri, omwali abakazi, abaana, ne bannamawanga abaatambuliranga mu bo.
1. Onsalire omusango, Ayi Katonda, era ompolereze eri abantu abatatya Katonda; Ondokole eri omuntu omulimba atali mutuukirivu!
2. Kubanga ggwe oli Katonda mwe nneekweka; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki ngenda nga nkaaba olw'okunyigirizibwa kw'abalabe bange?
3. Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye, Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.
4. Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, Ayi Katonda, Katonda wange.
5. Kiki ekikunyikaziza gwe, emmeeme yange? Era kiki ekikweraliikiriza? Suubira mu Katonda; kubanga ndiddamu ne mutendereza, omuyambi wange era Katonda wange.
43. Bonna ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonna bwe baali nga beewuunya byonna bye yakola, n'agamba abayigirizwa be nti,
44. “Ebigambo bino mubiwulirize n'obwegendereza: kubanga Omwana w'omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'abantu.”
45. Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, kubanga kyali kibakwekeddwa baleme okukitegeera: ate ne batya okumubuuza ekigambo ekyo bwe kiri.
46. Awo ne wabaawo okuwakana mu bo nga beebuuza ani asinga obukulu mu bo.
47. Naye Yesu bwe yalaba okuwakana mu mitima gyabwe, n'atwala omwana omuto, n'amussa ku lusegere lwe,
48. n'abagamba nti, “ Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.”
49. Yokaana n'addamu n'agamba nti, “ Mukama waffe, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo, ne tumugaana, kubanga tayita naffe.”
50. Naye Yesu n'amugamba nti, “ Temumugaana; kubanga atali mulabe wammwe, ali ku lwammwe.”
51. Awo olwatuuka ennaku ze ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali zinaatera okutuuka, n'asimbira ddala amaaso ge okugenda e Yerusaalemi,
52. n'atuma ababaka bamukulemberemu; ne bagenda ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera.
53. Ne batamusembeza kubanga amaaso ge gaali galaze kugenda Yerusaalemi.
54. Abayigirizwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti, “ Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize, nga Eriya bwe yakola?”