1. Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu owa Isiraeri, Abiya n'atandika okufuga Yuda.
2. N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.
3. Abiya n'agenda mu lutalo ng'alina eggye ery'abasajja abazira, emitwalo ana (400,000), ate ye Yerobowaamu najja n'abasajja ab'amaanyi, emitwalo kinaana (800,000) okumulwanyisa.
4. Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'agamba nti, “Gwe Yerobowaamu, nammwe aba Isiraeri mwenna mumpulirize.
5. Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Isiraeri emirembe gyonna olw'endagaano eterikyuka?
6. Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n'asituka n'ajeemera mukama we.
7. Awo abasajja abataliimu nsa, ne beegatta ku Yerobowaamu ne beewaggula ku Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu, eyali ng'akyali muto nga tannafuna bumanyirivu bwa kubaziyiza.
8. Kaakano mulowooza okulwanyisa obwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi, kubanga muli kibiina kinene, era era abalina n'ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe.
9. Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lw'Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, muyinza okumufuula kabona w'ebyo ebitali katonda.
10. Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lw'Alooni era bayambibwako Abaleevi.
11. Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu; ne bateeka n'emigaati egy'okulaga ku mmeeza ennongoofu, ne bakoleeza n'ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu, okwakanga buli kawungeezi. Ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira, naye mmwe mwamuvaako.
12. Laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be balina amakkondeere ge banafuuwa okulangirira olutalo okulwana nammwe. Kale mmwe abaana ba Isiraeri, temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”
13. Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abamu ku balwanyibe, okuteega eggye lya Yuda nga baliva emabega, ate nga abalala balirumba okuva mu maaso.
14. Awo Yuda bwe yaakebuka, ne balaba nga olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakkondeere.
15. Awo abasajja ba Yuda ne baleekaana nnyo: bwe beeyongera okuleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16. Abaana ba Isiraeri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Katonda n'abawaayo mu mukono gwabwe.
17. Abiya n'eggye lye n'ebatta bangi nnyo ku ba Isiraeri, abattibwa bali emitwalo ataano (500,000).
18. Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mulundi ogwo. Abaana ba Yuda basobola okuwangula, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
20. Yerobowaamu teyaddayo kuba wa maanyi mu mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa.
21. Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana (14) n'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu babiri (22) n'ab'obuwala kkumi na mukaaga (16).
22. Ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'empisa ze ne bye yayogera byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Iddo.
1. Abiya naafa n'aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'eba ne mirembe okumala emyaka kkumi (10).
2. Asa n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era ebituufu.
10. Awo Asa n'avaayo okumwolekera, buli omu n'asimba ennyiriri okulwana mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
11. Awo Asa n'akoowoola Mukama Katonda we ng'agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana ggwe mu kuyamba abanafu nga balumbiddwa ab'amaanyi, tuyambe, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga tukwesiga ggwe, ne mu linnya lyo mwe tuzze okulwanyisa eggye lino eddene. Ayi Mukama, ggwe Katonda waffe, toganya muntu yenna okukuwangula.”
12. Awo Mukama n'akubira Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.
13. Asa n'abantu be abaali naye ne babawondera okutuuka e Gerali: Abaesiyopya bangi ne battibwa, eggye lyabwe ne litasobola kuddamu kulwana, kubanga Mukama n'eggye lye baabawangulira ddala. Aba Yuda ne batwala omunyago mungi nnyo.
14. Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Mukama yabaliko. Ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi.
15. Era ne balumba ensiisira z'abamu ku basumba, ne banyaga ente, endiga n'eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.
1. Muyimbirenga waggulu eri Katonda amaanyi gaffe; Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo.
2. Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa, Ennanga ennungi era n'amadinda.
3. Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke, Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga.
4. Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri, Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo.
5. Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa, Bwe yabuna ensi y'e Misiri: Gye nnawulirira olulimi lwe ssaamanya.
23. Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi.
22. Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda:
23. ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti, “ Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga:
24. kubanga tuwulidde nti Abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga;